Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 47

Tumanya Tutya Nti Kalumagedoni Ali Kumpi?

Tumanya Tutya Nti Kalumagedoni Ali Kumpi?

OMANYI akabonero, si bwe kiri?— Mu Ssuula 46 twasoma ku kabonero Katonda ke yawa okulaga nti taliddamu kuzikiriza nsi ng’akozesa amataba. Era abatume baasaba Yesu ababuulire akabonero kwe banditegeeredde nti akomyewo era akandiraze nti enkomerero y’ensi, oba ey’enteekateeka y’ebintu eno eri kumpi.​—Matayo 24:3.

Okuva bwe kiri nti Yesu yandibadde mu ggulu nga tewali asobola kumulaba, abantu baali beetaaga akabonero kwe banditegeeredde nti atandise okufuga. N’olwekyo, Yesu yategeeza abayigirizwa be ebintu ebyandibaddewo ku nsi, ebyandiraze nti akomyewo era nti atandise okufugira mu ggulu nga Kabaka.

Okusobola okuyigiriza abayigirizwa be obukulu bw’okubeera obulindaala, Yesu yabagamba nti: “Mutunuulire omutiini n’emiti emirala gyonna: Bwe gitojjera mumanya nti ekiseera ky’omusana [oba, ekiseera ky’amakungula] kinaatera okutuuka.” Waliwo ebintu by’osobola okulaba n’omanya nti amakungula ganaatera okutuuka. Mu ngeri y’emu, osobola okumanya nti Kalumagedoni ali kumpi bw’olaba ebintu Yesu bye yayogerako nga bigenda bibaawo.​—Lukka 21:29, 30.

Kiki Yesu kye yali ayigiriza bwe yayogera ku mutiini?

Ku lupapula luno n’oluddako, kuliko ebifaananyi ebiraga ebintu Yesu bye yagamba nti bye byandiraze nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. Ebintu ebyo byonna nga bimaze okubaawo, Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Kristo, bujja kuzikiriza gavumenti zonna, nga bwe twasoma mu Ssuula 46.

N’olwekyo, weetegereze ebifaananyi ebiri ku njuyi zombi ez’olupapula oluvuddeko, era tujja kubyogerako. Osobola okusoma ku ebyo by’olaba mu bifaananyi ebyo mu Matayo 24:6-14 ne Lukka 21:9-11. Era weetegereze ennamba eziri ku buli kimu ku bifaananyi ebyo. Ennamba ezo era ze ziri ku ntandikwa ya buli katundu akoogera ku kifaananyi ekyo. Kati ka tulabe obanga ebintu ebiri mu kabonero Yesu ke yawa bituukirizibwa leero.

(1) Yesu yagamba nti: “Muliwulira entalo mu bifo ebitali bimu, . . . eggwanga lirirumba eggwanga eddala, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala.” Owulira abantu nga boogera ku ntalo?— Ssematalo eyasooka yaliwo okuva mu 1914 okutuuka mu 1918, ate Ssematalo ow’okubiri yaliwo okuva ku 1939 okutuuka 1945. Waali tewabangawo ntalo ng’ezo! Naye kati waliwo entalo mu nsi yonna. Kumpi buli lunaku tulaba entalo ku ttivi, tuziwulira ku leediyo, era tuzisomako ne mu mpapula z’amawulire.

(2) Yesu era yagamba nti: “Walibaawo enjala . . . mu bifo ebitali bimu.” Oyinza okuba okimanyi nti abantu bonna tebalina mmere emala. Buli lunaku enkumi n’enkumi z’abantu bafa olw’obutaba na mmere emala.

(3) Era Yesu yagattako nti: ‘Walibaawo kawumpuli mu bifo ebitali bimu.’ Kawumpuli omumanyi?— Buba bulwadde obutta abantu abangi. Kawumpuli ow’amaanyi eyali ayitibwa sseseeba yatta abantu obukadde nga 20 mu mwaka nga gumu gwokka. Oboolyawo mu kiseera kyaffe abantu abasukka mu muwendo ogwo bajja kufa obulwadde bwa mukenenya. Ate era waliwo n’obulwadde bwa kookolo, obulwadde bw’omutima, n’obulala obutta enkumi n’enkumi z’abantu buli mwaka.

(4) Yesu yayogera ku kintu ekirala ekiri mu kabonero. Yagamba nti: “Walibaawo . . . musisi mu bifo ebitali bimu.” Musisi kye ki?— Musisi aleetera ettaka okukankana, asuula amayumba, era atera n’okutta abantu. Okuva mu 1914, buli mwaka wabaddewo musisi mungi. Wali owulidde ku musisi?—

(5) Yesu yagamba nti ekintu ekirala ekyandibadde mu kabonero kwe ‘okweyongera kw’obujeemu.’ Eyo ye nsonga lwaki waliwo obubbi bungi n’ebikolwa eby’obukambwe. Mu buli kitundu abantu beeraliikirira nti wayinza okubaawo omubbi abayingirira. Tewabangawo bumenyi bw’amateeka n’ebikolwa eby’obukambwe okwetooloola ensi yonna nga bwe kiri leero.

(6) Yesu yayogera ku kintu ekikulu ennyo ekiri mu kabonero bwe yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Bw’oba ng’osiima “amawulire gano amalungi,” ojja kugabuulirako abalala. Mu ngeri eyo, naawe ojja kuba otuukiriza ekimu ku ebyo ebiri mu kabonero.

Abantu abamu bayinza okugamba nti ebintu Yesu bye yayogerako bibaddewo okuva edda n’edda. Naye ebintu ebyo byonna byali tebibangawo mu kiseera kye kimu okwetooloola ensi yonna. Kati otegeera amakulu g’akabonero ako?— Akabonero ako kategeeza nti bwe tulaba ebintu ebyo byonna nga bibaawo, ensi eno embi eba eri kumpi okuzikirizibwa waddewo ensi ya Katonda empya.

Yesu bwe yawa akabonero kano, era yayogera ne ku kiseera ekirala eky’enjawulo ekibaawo mu mwaka. Yagamba nti: “Musabenga ekiseera kye muliddukiramu kireme kubaawo mu biseera bya butiti.” (Matayo 24:20) Olowooza yali ategeeza ki?—

Omuntu bw’aba ow’okudduka akatyabaga mu kiseera ky’obutiti, kiyinza okumubeerera ekizibu ennyo oba eky’akabi olw’embeera y’obudde. Olowooza kiki ekiyinza okubaawo?— Singa aba asobodde okudduka, ekyo aba akikoze mu buzibu obw’amaanyi. Tekiba kya nnaku nnyo omuntu okufiira mu butiti olw’okuba yali yeemalidde ku bintu ebirala n’atasobola kudduka nga bukyali?—

Kiki Yesu kye yali ayigiriza bwe yayogera ku ky’okuddukira mu kiseera eky’obutiti?

Otegeera ensonga enkulu Yesu gye yali ayogerako bwe yagamba nti tetulina kulinda kiseera kya butiti kutuuka tulyoke tudduke?— Yali atugamba nti okuva bwe tukimanyi nti Kalumagedoni ali kumpi, tulina okubaako kye tukolawo mu bwangu okulaga nti twagala Katonda nga tumuweereza. Singa tulwawo, Kalumagedoni ayinza okutuuka nga tetunnaba kutandika kuweereza Katonda. N’olwekyo tuyinza okuba ng’abo abaaliwo mu kiseera ky’Amataba abaawulira okulabula kwa Nuuwa naye ne batayingira mu lyato.

Kati ka twogere ku mbeera eribaawo ku nsi ng’olutalo olukulu olwa Kalumagedoni luwedde. Era tujja kuyiga ku ebyo Katonda by’ategekedde abo abamwagala era abamuweereza mu kiseera kino.

Ebyawandiikibwa bino wammanga nabyo biraga nti Kalumagedoni ali kumpi: 2 Timoseewo 3:1-5 ne 2 Peetero 3:3, 4.