Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?

Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?

Essuula Esooka

Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?

Ddala Katonda akufaako?

Katonda muntu wa ngeri ki? Alina erinnya?

Kisoboka okusemberera Katonda?

1, 2. Lwaki kirungi okubuuza ebibuuzo?

WALI weetegerezza engeri abaana gye babuuzaamu ebibuuzo? Bangi batandika okubibuuza amangu ddala nga baakayiga okwogera. Bakutunuulira ne bakubuuza ebibuuzo nga bino: Lwaki eggulu lya bbululu? Emmunyeenye zaakolebwa mu ki? Ani yayigiriza ebinyonyi okuyimba? Oyinza okugezaako okubiddamu, naye tekiba kyangu. Ne bw’ofuba okubaddamu obulungi bayinza okwongera okubuuza: Lwaki kiri bwe kityo?

2 Abaana si be bokka ababuuza ebibuuzo. Bwe tugenda tukula, tweyongera okubuuza ebibuuzo. Tubuuza ebibuuzo nga twagala okumanya ekkubo ery’okugoberera, engeri y’okwewalamu emitawaana, oba okumanya ebisingawo. Naye, abantu bangi tebabuuza bibuuzo ebisinga obukulu era tebagezaako kufuna bya kuddamu.

3. Lwaki bangi tebanoonya byakuddamu mu bibuuzo ebisinga obukulu?

3 Lowooza ku kibuuzo ekiri ku ddiba ly’akatabo kano, ebyo ebiri mu nnyanjula, n’ebyo ebiri ku ntandikwa y’essuula eno. Bino bye bimu ku bibuuzo ebisingayo obukulu by’osobola okubuuza. Kyokka, abantu bangi tebanoonya byakuddamu mu bibuuzo ebyo. Lwaki? Baibuli eddamu ebibuuzo ebyo? Abamu balowooza nti eby’okuddamu by’ewa tebitegeerekeka. Abalala batya nti bajja kuswala bwe banaabuuza ebibuuzo. Ate abamu balowooza nti ebibuuzo ng’ebyo biyinza kuddibwamu bakulembeze b’amadiini n’abasomesa eddiini. Ggwe olowooza otya?

4, 5. Ebimu ku bibuuzo ebisinga obukulu bye tuyinza okwebuuza bye biruwa, era lwaki twandifubye okufuna eby’okuddamu?

4 Oyinza okuba ng’oyagala okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ebikwata ku bulamu. Era oyinza okuba ng’oluusi weebuuza: ‘Obulamu bulina kigendererwa ki? Ekigendererwa ky’obulamu kwe kuzaala n’okaddiwa era n’ofa? Katonda muntu wa ngeri ki?’ Kya magezi okwebuuza ebibuuzo nga bino era n’ofuba okufuna eby’okuddamu ebimatiza era ebyesigika. Omuyigiriza omwatiikirivu Yesu Kristo yagamba: “Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo.”​—Matayo 7:7.

5 Bw’ofuba ‘okunoonya’ eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo ebikulu ennyo, ojja kuganyulwa. (Engero 2:1-5) Abantu abalala ka babe nga bakugambye ki, mu Baibuli mulimu eby’okuddamu, era osobola okubifuna. Eby’okuddamu ebyo bitegeerekeka bulungi. N’ekisinga obulungi, biwa essuubi era bireeta essanyu. Ate era bisobola okukuyamba okuba n’obulamu obumatiza kati. Ka tusooke twetegereze ekibuuzo ekitawaanyizza abantu bangi.

KATONDA TAFAAYO ERA TALUMIRIRWA BALALA?

6. Lwaki abantu bangi balowooza nti Katonda tafaayo ku kubonaabona kw’omuntu?

6 Abantu bangi balowooza nti bw’atyo bw’ali. Bagamba nti, ‘Singa afaayo, ensi yandibadde nga bw’eri kati?’ Ensi ejjudde entalo, obukyayi, n’okubonaabona. Tulwala, tubonaabona, era tufiirwa abaagalwa baffe. N’olwekyo, bangi beebuuza nti, ‘Singa Katonda atufaako, teyandiziyizza bintu ebyo?’

7. (a) Bannaddiini baleetedde batya abantu bangi okulowooza nti Katonda talumirirwa balala? (b) Kiki ddala Baibuli ky’eyigiriza ku bigezo bye tuyinza okwolekagana nabyo?

7 Eky’ennaku, bannaddiini emirundi egimu be baleetera abantu okulowooza nti Katonda talumirirwa balala. Mu ngeri ki? Akatyabaga bwe kagwawo, bagamba nti Katonda bw’atyo bw’ayagadde. Bwe kityo, bannaddiini bano banenya Katonda olw’obutyabaga obugwawo. Ddala Katonda bw’atyo bw’aba ayagadde? Kiki ddala Baibuli ky’eyigiriza? Yakobo 1:13 lugamba: “Omuntu yenna [bw’agezesebwa], tayogeranga nti Katonda ye [angezesa], kubanga Katonda [tagezesa] na bubi, era ye yennyini [tagezesa] muntu yenna.” N’olwekyo, Katonda si ye nsibuko y’obubi bw’olaba mu nsi. (Yobu 34:10-12) Kyo kituufu, alese ebintu ebibi okubaawo. Naye, waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’okuleka ekintu okubaawo n’okukireeta.

8, 9. (a) Kyakulabirako ki ky’oyinza okuwa okulaga enjawulo eriwo wakati w’okuleka ebintu ebibi okubaawo n’okubireeta? (b) Lwaki tekyandibadde kya bwenkanya okuvumirira Katonda olw’okuleka abantu okukwata ekkubo ekyamu?

8 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku taata ow’amagezi era ow’okwagala alina mutabani we akuze. Omwana oyo bw’ajeema n’asalawo okuva awaka, taata we tamuziyiza. Mutabani we akwata ekkubo ebbi era afuna ebizibu. Taata y’aba aleetedde mutabani we ebizibu? Nedda. (Lukka 15:11-13) Mu ngeri y’emu, Katonda taziyiza bantu bwe basalawo okugoberera ekkubo ebbi, naye si y’aleeta ebizibu ebiva mu kuligoberera. Mu butuufu, si kya bwenkanya okunenya Katonda olw’ebizibu abantu bye bafuna.

9 Katonda alina ensonga ennungi kw’asinziira okuleka abantu okugoberera ekkubo ekyamu. Ng’Omutonzi ow’amagezi era ow’amaanyi, tekimwetaagisa na kutunnyonnyola nsonga ezo. Naye, olw’okwagala kwe, azitunnyonnyola. Ojja kuyiga ebikwata ku nsonga ezo mu Ssuula 11. Naye, beera mukakafu nti Katonda si yavunaanyizibwa olw’ebizibu bye tufuna. Kyokka, atubuulira engeri gye bigenda okugonjoolwamu!​—Isaaya 33:2.

10. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna?

10 Ate era, Katonda mutukuvu. (Isaaya 6:3) Kino kitegeeza nti mulongoofu era muyonjo. Mu ye temuli butali bulongoofu bwonna. N’olwekyo, tusobola okumwesigira ddala. Tetusobola kwesiga bantu mu ngeri eyo, olw’okuba oluusi tebaba beesigwa. N’ab’obuyinza abasingayo okuba abeesigwa, tebasobola kuzzaawo ebyo ababi bye boonoonye. Katonda y’asingayo okuba ow’amaanyi. Asobola era ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna ebiriwo. Ekiseera kye bwe kinaatuuka, Katonda ajja kumalirawo ddala ebintu ebibi byonna.​—Zabbuli 37:9-11.

KATONDA AWULIRA ATYA BWE TUYISIBWA MU NGERI ETALI YA BWENKANYA?

11. (a) Katonda atunuulira atya obutali bwenkanya? (b) Katonda awulira atya bw’alaba ng’obonaabona?

11 Nga tannakola ekyo, Katonda atunuulira atya ebiriwo mu nsi n’ebyo ebikutuukako mu bulamu? Okusooka, Baibuli eyigiriza nti Katonda ‘ayagala obwenkanya.’ (Zabbuli 37:28, NW) N’olwekyo, afaayo nnyo ku kituufu n’ekikyamu. Akyayira ddala obutali bwenkanya. Baibuli egamba nti Katonda ‘yanakuwala mu mutima gwe’ obubi bwe bwabuna ensi yonna mu biseera eby’edda. (Olubereberye 6:5, 6) Katonda takyukanga. (Malaki 3:6) Tasanyukira kubonaabona okuliwo mu nsi. Era tayagalira ddala kulaba bantu nga babonaabona. Baibuli egamba nti: ‘Akufaako.’​—1 Peetero 5:7.

12, 13. (a) Lwaki tulina engeri ennungi gamba ng’okwagala, era okwagala kukwata kutya ku ndowooza gye tulina eri ensi? (b) Lwaki osobola okuba omukakafu nti Katonda alina ky’ajja okukolawo ku bizibu ebiri mu nsi?

12 Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Katonda tayagala kulaba bantu nga babonaabona? Buno bwe bukakafu obulala bwe tulina. Baibuli eyigiriza nti abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Olubereberye 1:26) N’olwekyo tulina engeri ennungi olw’okuba Katonda naye azirina. Ng’ekyokulabirako, oyisibwa bubi bw’olaba abantu abatalina musango nga babonaabona? Bw’oba ng’oyisibwa bubi olw’obutali bwenkanya ng’obwo, beera mukakafu nti Katonda y’akusinga okuyisibwa obubi.

13 Emu ku ngeri esingayo obulungi abantu gye balina kwe kwagala. Ekyo kiraga nti ne Katonda alina okwagala. Baibuli eyigiriza nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Twagala abalala kubanga Katonda atwagala. Okwagala kwandikuleetedde okukomya okubonaabona n’obutali bwenkanya bw’olaba mu nsi? Singa walina obuyinza okubikomya, wandibikomezza? Awatali kubuusabuusa kye wandikoze! N’olwekyo, beera mukakafu nti Katonda ajja kukomya okubonaabona n’obutali bwenkanya ebiriwo. Ebisuubizo ebyogerwako mu nnyanjula y’akatabo kano si birooto bulooto. Mazima ddala bijja kutuukirira! Kyokka, okusobola okuba omukakafu ku ekyo, weetaaga okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda abisuubizza.

KATONDA AYAGALA OMUMANYE

14. Erinnya lya Katonda lye liruwa, era lwaki tusaanidde okulikozesa?

14 Bw’oba oyagala omuntu akumanye, kiki ky’oyinza okukola? Omuntu oyo tewandimubuulidde linnya lyo? Katonda alina erinnya? Amadiini mangi gagamba nti erinnya lye ye “Katonda” oba “Mukama,” naye ago si mannya. Ebyo bitiibwa butiibwa, nga “kabaka” ne “pulezidenti.” Baibuli eyigiriza nti Katonda alina ebitiibwa bingi. “Katonda” ne “Mukama” bye bimu ku byo. Kyokka, Baibuli etulaga nti Katonda alina erinnya erirye ku bubwe era ng’erinnya lye ye Yakuwa. Zabbuli 83:18 lugamba nti: “Ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” Enkyusa ya Baibuli gy’okozesa bw’eba nga teriimu linnya eryo, osobola okukebera ku mpapula 195-7 ez’akatabo kano omanye ensonga lwaki kiri bwe kityo. Ekituufu kiri nti erinnya lya Katonda lisangibwa mu biwandiiko bya Baibuli eby’edda emirundi nkumi na nkumi. N’olwekyo, Yakuwa ayagala omanye erinnya lye era olikozese. Akozesa Baibuli okukutegeeza ebimufaako.

15. Erinnya Yakuwa litegeeza ki?

15 Katonda yeewa erinnya eririna amakulu. Erinnya lye, Yakuwa, litegeeza nti asobola okutuukiriza kyonna ky’asuubiza era n’ebigendererwa bye byonna. * Erinnya lya Katonda lya njawulo nnyo. Teri mulala alirina. Ate era, Yakuwa kennyini wa njawulo mu ngeri nnyingi. Mu ngeri ki?

16, 17. Ebitiibwa bino bitutegeeza ki ku Yakuwa: (a) “Omuyinza w’ebintu byonna”? (b) “Kabaka ow’emirembe n’emirembe”? (c) “Omutonzi”?

16 Zabbuli 83:18 lwogera bwe luti ku Yakuwa: ‘Ggwe wekka Ali waggulu ennyo.’ Era, Yakuwa yekka y’ayogerwako nga “Omuyinza w’ebintu byonna.” Okubikkulirwa 15:3 lugamba: “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna. Ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” Ekitiibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna” kitulaga nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi. Amaanyi ge tegageraageranyizika; ge gasingirayo ddala. Ate era, ekitiibwa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe” kitujjukiza nti Yakuwa wa njawulo mu ngeri endala. Ye yekka abaddewo emirembe n’emirembe. Zabbuli 90:2 lugamba: “Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna ggwe Katonda.” Ebigambo ebyo tebituwuniikiriza?

17 Yakuwa era wa njawulo mu ngeri nti ye yekka ayogerwako nga Omutonzi. Okubikkulirwa 4:11 lugamba nti: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwa ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Ekintu kyonna ky’oyinza okulowoozaako​—ka bibe ebitonde ebitalabika ebiri mu ggulu, emmunyeenye z’olengera mu bwengula, ebibala ebiri ku miti, ebyennyanja ebiri mu gayanja aganene n’emigga​—byonna byatondebwa Yakuwa!

KISOBOKA OKUSEMBERERA YAKUWA?

18. Lwaki abantu abamu balowooza nti tebasobola kusemberera Katonda, naye yo Baibuli eyigiriza ki?

18 Abantu abamu batya bwe basoma ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo. Balowooza nti Katonda abasukkulumyeko, ne kiba nti tebasobola kumusemberera oba okubeera ab’omugaso n’akamu gy’ali. Naye endowooza eno ntuufu? Nedda, Baibuli tegamba bw’etyo. Eyogera bw’eti ku Yakuwa: “Tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Baibuli era etukubiriza nti: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.”​—Yakobo 4:8.

19. (a) Tuyinza tutya okusemberera Katonda, era tuganyulwa tutya bwe tumusemberera? (b) Ngeri ki eza Katonda ezisinga okukusikiriza?

19 Oyinza otya okusemberera Katonda? Okusookera ddala, weeyongere okukola ekyo ky’okola kati​—okuyiga ebimukwatako. Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Yee, Baibuli eyigiriza nti okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne Yesu kituusa mu “bulamu obutaggwaawo”! Nga bwe twalabye, “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:16) Ate era, Yakuwa alina engeri endala ennungi era ezisikiriza. Ng’ekyokulabirako, Baibuli egamba nti Yakuwa “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Okuva 34:6, 1 Yokaana 4:8, 16) ‘Mulungi era mwetegefu okusonyiwa.’ (Zabbuli 86:5) Katonda mugumiikiriza. (2 Peetero 3:9) Era mwesigwa. (Okubikkulirwa 15:4, NW) Bwe weeyongera okusoma Baibuli, ojja kulaba engeri Yakuwa gy’ayolesaamu engeri ezo awamu n’endala nnyingi ezisikiriza.

20-22. (a) Eky’okuba nti tetusobola kulaba Katonda kiyinza okutulemesa okukola omukwano naye? Nnyonnyola. (b) Abantu abamu abalabika nga beesimbu bayinza kukulemesa kukola ki, naye kiki ky’osaanidde okukola?

20 Kyo kituufu nti, tosobola kulaba Katonda kubanga mwoyo ogutalabika. (Yokaana 1:18; 4:24; 1 Timoseewo 1:17) Bw’oyiga ebimukwatako okuyitira mu Baibuli, osobola okumutegeera. Ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba, osobola ‘okulaba obulungi bwa Yakuwa.’ (Zabbuli 27:4; Abaruumi 1:20) Gy’onookoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gy’ajja okukoma okubeera owa ddala gy’oli era gy’ojja okukoma okumwagala n’okuwulira ng’oli kumpi naye.

21 Mpolampola ojja kutegeera ensonga lwaki Baibuli etuyigiriza okutwala Yakuwa nga Kitaffe. (Matayo 6:9) Ng’oggyeko okuba nti obulamu bwe tulina buva gy’ali era atwagaliza obulamu obusingayo obulungi​—nga taata omwagazi bwe yandiyagalizza abaana be ebirungi. (Zabbuli 36:9) Baibuli era eyigiriza nti abantu basobola okufuuka mikwano gya Yakuwa. (Yakobo 2:23) Kiteeberezemu​—okufuuka mukwano gw’oyo eyatonda ebintu byonna!

22 Nga weeyongera okuyiga Baibuli, abantu abalabika nga abeesimbu bayinza okukulemesa okuyiga. Bayinza okutya nti ojja kukyusa enzikiriza yo. Naye tokkiriza muntu yenna kukulemesa kukola mukwano ogusingirayo ddala obulungi.

23, 24. (a) Lwaki wandyeyongedde okubuuza ebibuuzo ebikwata ku ebyo by’oyiga? (b) Kiki ekinaayogerwako mu ssuula eddako?

23 Kyo kituufu nti waliwo ebintu by’otojja kutegeera mu kusooka. Kiyinza okwetaagisa obwetoowaze okusaba obuyambi, kyokka totya kubusaba ng’olowooza nti ojja kuswala. Yesu yagamba nti kirungi okubeera omwetoowaze ng’omwana omuto. (Matayo 18:2-4) Ate era nga bwe tumanyi, abaana baba n’ebibuuzo bingi. Katonda ayagala ofune eby’okuddamu. Baibuli eyogera bulungi ku bantu abaali baagala ennyo okuyiga ku Katonda. Beekenneenyanga ebyawandiikibwa okukakasa nti bye bayiga ge mazima.​—Ebikolwa 17:11.

24 Engeri esingayo obulungi ey’okuyiga ebikwata ku Yakuwa, kwe kwekenneenya Baibuli. Baibuli ya njawulo ku bitabo ebirala byonna. Mu ngeri ki? Essuula eddako ejja kwogera ku nsonga eyo.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 15 Osobola okumanya ebisingawo ku makulu g’erinnya lya Katonda n’enjatula yaalyo ku mpapula 195-7.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Katonda atufaako kinnoomu.​—1 Peetero 5:7.

▪ Erinnya lya Katonda ye Yakuwa.​—Zabbuli 83:18.

▪ Yakuwa ayagala omusemberere.​—Yakobo 4:8.

▪ Yakuwa wa kwagala, wa kisa, era musaasizi.​—Okuva 34:6; 1 Yokaana 4:8, 16.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Bw’oba oyagala omuntu okukumanya, tomubuulira linnya lyo? Katonda atubuulira erinnya lye mu Baibuli

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Baibuli eyigiriza nti Yakuwa ye Katonda ow’okwagala eyatonda ebintu byonna

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Okwagala taata omulungi kw’alaga abaana be, kwoleka okwagala okungi ennyo Kitaffe ow’omu ggulu kw’atulaga