Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

ESSUULA EY’OKUSATU

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Ekigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu kye kiruwa?

Katonda asoomoozeddwa atya?

Obulamu ku nsi bulibeera butya mu biseera eby’omu maaso?

1. Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa?

EKIGENDERERWA kya Katonda eri ensi mazima ddala kirungi nnyo. Yakuwa ayagala ensi ejjule abantu abasanyufu era abalamu obulungi. Baibuli egamba nti “Katonda [y]asimba olusuku mu Adeni” era “n’ameza . . . buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya.” Oluvannyuma lw’okutonda omusajja n’omukazi abaasooka, Adamu ne Kaawa, Katonda yabateeka mu lusuku olulungi era n’abagamba nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28; 2:8, 9, 15) N’olwekyo, kyali kigendererwa kya Katonda abantu okuzaala abaana, bagaziye olusuku olwo okubuna ensi yonna, era balabirire ebisolo.

2. (a) Tumanya tutya nti ekigendererwa kya Katonda eri ensi kijja kutuukirira? (b) Ssuubi ki Baibuli ly’ewa abantu?

2 Olowooza ekigendererwa kya Yakuwa Katonda eky’abantu okubeera mu lusuku lwe ku nsi kirituukirira? Katonda yagamba nti: “N’okutuukiriza ndikituukiriza.” (Isaaya 46:9-11; 55:11) Yee, Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa Kye! Agamba nti ‘teyatonda nsi kuba ddungu, wabula yagibumba okutuulwamu.’ (Isaaya 45:18) Bantu ba ngeri ki Katonda be yali ayagala okubeera ku nsi? Era yayagala babeereko kumala bbanga ki? Baibuli eddamu: ‘Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.’​Zabbuli 37:29; Okubikkulirwa 21:3, 4.

3. Mbeera ki ezennyamiza eziriwo mu nsi leero, era kino kireetawo bibuuzo ki?

3 Kyo kituufu nti kino tekinnaba kutuukirira. Abantu balwala era bafa; balwana era ne battiŋŋana. Waliwo ekyasoba. Mazima ddala, Katonda teyakigenderera ensi efaanane nga bwe tugiraba leero! Kiki ekyasoba? Lwaki ekigendererwa kya Katonda tekinnatuukirizibwa? Tewali kitabo ekiwandiikiddwa omuntu ekisobola kutuddamu, kubanga ekizibu kyatandikira mu ggulu.

ENGERI OMULABE GYE YAJJAWO

4, 5. (a) Ani eyayogera ne Kaawa okuyitira mu musota? (b) Omuntu omulungi era omwesigwa ayinza atya okufuuka omubbi?

4 Ekitabo ekisookera ddala mu Baibuli kyogera ku oyo aziyiza Katonda eyali mu lusuku Edeni. Ayitibwa “omusota,” naye teyali musota gwennyini. Ekitabo ekisembayo mu Baibuli kimuyita ‘Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna.’ Era ayitibwa ‘omusota ogw’edda.’ (Olubereberye 3:1; Okubikkulirwa 12:9) Malayika ono ow’amaanyi oba ekitonde eky’omwoyo ekitalabika, yakozesa omusota okwogera ne Kaawa, nga n’omuntu omukugu bwayinza okukozesa akagologoosi ne kalabika ng’akogera. Awatali kubuusabuusa omuntu oyo ow’omwoyo ateekwa okuba nga yaliwo nga Katonda ateekerateekera abantu ensi.​—Yobu 38:4, 7.

5 Okuva bwe kiri nti ebitonde bya Yakuwa byonna byali bituukiridde, olwo ani yatonda “Omulyolyomi” era “Setaani”? Tuyinza okugamba nti, omu ku baana ba Katonda ab’omwoyo era ab’amaanyi ye yeefuula Omulyolyomi. Kino kyasoboka kitya? Tukimanyi nti omuntu omulungi era omwesigwa ayinza okufuuka omubbi. Ekyo kisoboka kitya? Omuntu ayinza okuleka okwegomba okubi ne kukula mu mutima gwe. Bw’akuleka ne kweyongera okukula, kuyinza okufuuka okw’amaanyi ennyo. Bwafuna akakisa, ayinza okutwalirizibwa okwegomba okwo okubi n’akola ekibi.​—Yakobo 1:13-15.

6. Omwana wa Katonda ow’omwoyo era ow’amaanyi yafuuka atya Setaani Omulyolyomi?

6 Kino kye kyabaawo ne ku Setaani Omulyolyomi. Ateekwa okuba nga yawulira Katonda ng’agamba Adamu ne Kaawa okuzaala abaana baale era bajjuze ensi. (Olubereberye 1:27, 28) Kirabika Setaani yayagala ‘abantu bano basinze ye mu kifo ky’okusinza Katonda!’ Bwe kutyo okwegomba okubi kwakula mu mutima gwe. N’ekyavaamu, yategeeza Kaawa eby’obulimba ku Katonda. (Olubereberye 3:1-5) Bwatyo, n’afuuka “Omulyolyomi,” ekitegeeza “Ayogera eby’obulimba ku muntu omulala.” Era n’afuuka “Setaani” ekitegeeza “Omuziyiza.”

7. (a) Lwaki Adamu ne Kaawa baafa? (b) Lwaki abaana ba Adamu bonna bakaddiwa era ne bafa?

7 Ng’akozesa obulimba n’obukujjukujju, Setaani Omulyolyomi yasendasenda Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda. (Olubereberye 2:17; 3:6) N’ekyavaamu, baafa nga Katonda bwe yali abagambye. (Olubereberye 3:17-19) Okuva Adamu bwe yafuuka omuntu atatuukiridde oluvannyuma lw’okwonoona, abaana be bonna baasikira ekibi kye. (Abaruumi 5:12) Kino kiyinza okufaananyizibwako akatiba akakola emigaati. Singa akatiba ako kabaako akamogo, kiki ekituuka ku buli mugaati gwe bakafumbiddemu? Buli mugaati gubaako akamogo. Mu ngeri y’emu, buli muntu yasikira “akamogo” ak’obutali butuukirivu okuva ku Adamu. Eyo ye nsonga lwaki abantu bonna bakaddiwa era ne bafa.​—Abaruumi 3:23.

8, 9. (a) Setaani yavumirira atya Yakuwa? (b) Lwaki Katonda teyazikiririzaawo abajeemu abo?

8 Setaani bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda, mu butuufu yatandikawo obujeemu. Yavumirira obufuzi bwa Yakuwa. Mu kukola bwatyo, Setaani yali ng’agamba nti: ‘Katonda mufuzi mubi. Byayogera bya bulimba era baafuga abamma ebintu ebirungi. Abantu tebeetaaga Katonda kubafuga. Basobola okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Era bajja kuba bulungi wansi w’obufuzi bwange.’ Katonda yandigonjodde atya ekizibu ekyo ekyajjawo? Abamu balowooza nti Katonda yandibadde atta bussi abajeemu abo. Naye ekyo kyandigonjodde ekizibu Setaani kye yaleetawo? Ekyo kyandikakasizza nti Katonda afuga bulungi?

9 Olw’okuba Yakuwa mwenkanya yali tasobola kuzikiririzaawo bajeemu abo. Yakiraba nti kyali kyetaagisa ekiseera okuyitawo okusobola okugonjoola ekizibu ekyali kizzeewo n’okulaga nti Omulyolyomi mulimba. N’olwekyo, Katonda yaleka abantu okwefuga bokka okumala akaseera wansi w’obuyinza bwa Setaani. Ensonga lwaki Yakuwa yakola bwatyo era lwaki alese ekiseera kiwanvu okuyitawo nga tannagonjoola nsonga zino, ejja kwogerwako mu Ssuula 11 ey’akatabo kano. N’olwekyo, tusaanidde okulowooza ku kino: Ddala Adamu ne Kaawa baali batuufu okukkiriza ebyo Setaani bye yayogera, wadde nga yali tabakolerangako kirungi kyonna? Kyali kituufu okukkiriza nti Yakuwa eyali abawadde buli kimu, yali mulimba? Ggwe wandikoze ki?

10. Oyinza otya okuwagira Yakuwa mu kulaga nti Setaani bye yayogera bya bulimba?

10 Kiba kirungi okulowooza ku bibuuzo bino kubanga buli omu ku ffe akwatibwako ensonga ezo. Yee, olina akakisa okuwagira Yakuwa. Osobola okukkiriza obufuzi bwa Yakuwa era n’okiraga nti Setaani mulimba. (Zabbuli 73:28; Engero 27:11) Eky’ennaku, abantu batono nnyo ku buwumbi n’obuwumbi obw’abantu abali ku nsi abakkirizza obufuzi bwa Yakuwa. Kino kireetawo ekibuuzo ekikulu, Ddala Baibuli eyigiriza nti Setaani yafuga ensi eno?

ANI AFUGA ENSI ENO?

11, 12. (a) Okukemebwa kwa Yesu kwalaga kutya nti Setaani ye mufuzi w’ensi eno? (b) Kiki ekirala ekikakasa nti Setaani ye mufuzi w’ensi eno?

11 Yesu teyabuusabuusa nti Setaani ye mufuzi w’ensi eno. Mu ngeri ey’ekyamagero, Setaani yalaga Yesu “ensi za bakabaka bonna abali mu nsi n’ekitiibwa kyazo.” Oluvannyuma n’amusuubiza: “Ebyo byonna naabikuwa bw’onoovuunama okunsinza.” (Matayo 4:8, 9; Lukka 4:5, 6) Kirowoozeko ekyo. Ekyo kye yasuubiza Yesu kyandibadde kikemo singa Setaani teyali mufuzi w’obwakabaka obwo bonna? Yesu teyawakana nti Setaani ye mufuzi w’obwakabaka obwo bonna. Mu butuufu ekyo Yesu kye yandikoze singa Setaani si ye yali omufuzi w’obwakabaka obwo.

12 Kya lwatu, Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna era Omutonzi w’ebintu byonna. (Okubikkulirwa 4:11) Kyokka, Yesu yayogera ku Setaani nga ‘omufuzi w’ensi eno.’ (Yokaana 12:31; 14:30; 16:11) Baibuli era eyogera ku Setaani Omulyolyomi nga “katonda ow’emirembe gino.” (2 Abakkolinso 4:3, 4) Omutume Yokaana yawandiika bw’ati ku muziyiza ono, oba Setaani: ‘Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’​—1 Yokaana 5:19.

ENGERI ENSI YA SETAANI GY’EJJA OKUZIKIRIZIBWAMU

13. Lwaki twetaaga ensi empya?

13 Buli lukya, ensi yeeyongera kuba mbi. Erimu entalo, abafuzi abatali beesigwa, abakulembeze b’amaddiini bannanfuusi, era n’abamenyi b’amateeka. Tekisoboka n’akamu kutereeza ensi. Baibuli eraga nti ekiseera kiri kumpi okutuuka Katonda azikirize ensi eno embi ku Kalumagedoni. Oluvannyuma lw’ekyo wajja kuddawo ensi empya ey’emirembe.​—Okubikkulirwa 16:14-16.

14. Katonda alonze ani okuba Omufuzi mu Bwakabaka bwe, era kino kyalagulwa kitya?

14 Yakuwa Katonda yalonda Yesu Kristo okubeera Omufuzi mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu, oba gavumenti ye. Emyaka mingi emabega, Baibuli yalagula: “Omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe; n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye, n’erinnya lye liriyitibwa nti . . . Omukulu ow’emirembe. Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga.” (Isaaya 9:6, 7) Ku bikwata ku gavumenti eno, Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Nga bwe tunaalaba mu maaso eyo mu katabo kano, mangu ddala Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’ensi zonna, ate bwo budde mu kifo kyazo. (Danyeri 2:44) Oluvannyuma bujja kussaawo olusuku lwa Katonda ku nsi.

ENSI EMPYA ERI KUMPI!

15. “Ensi empya” kye ki?

15 Baibuli etukakasa nti: “Nga [Katonda] bwe yasuubiza, tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:13; Isaaya 65:17) Emirundi egimu Baibuli bw’eyogera ku “nsi” eba etegeeza abantu abagibeerako. (Olubereberye 11:1) N’olwekyo, “ensi empya” ey’obutuukirivu be bantu abasiimibwa Katonda.

16. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo Katonda ky’aliwa abo b’asiima, era kiki kye tulina okukola okusobola okukifuna?

16 Yesu yasuubiza nti mu nsi empya abo abasiimibwa Katonda bajja kufuna ekirabo ‘eky’obulamu obutaggwaawo.’ (Makko 10:30) Osabibwa okubikkula Baibuli yo osome Yokaana 3:16 ne 17:3, olabe Yesu kye yagamba kye tuteekwa okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Laba okuva mu Baibuli emikisa abo abasiimibwa Katonda gye balifuna mu lusuku lwe ku nsi.

17, 18. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti wajja kubaawo emirembe n’obukuumi ku ensi?

17 Tewajja kubaawo bubi, ntalo, bumenyi bw’amateeka, n’ettemu. “N’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi.” (Zabbuli 37:10, 11) Wajja kubaawo emirembe kubanga ‘Katonda ajja kuggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.’ (Zabbuli 46:9; Isaaya 2:4) Olwo nno, “abatuukirivu banaalabanga omukisa, era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo”​—ekyo kitegeeza nti emirembe gijja kuba gya lubeerera.​—Zabbuli 72:7.

18 Abaweereza ba Yakuwa bajja kuba n’obukuumi. Abaisiraeri abaaliwo mu biseera bya Baibuli baabeeranga n’obukuumi kasita baagonderanga Katonda. (Eby’Abaleevi 25:18, 19) Nga kijja kuba kirungi nnyo okuba n’obukuumi ng’obwo mu Lusuku lwa Katonda!​—Isaaya 32:18; Mikka 4:4.

19. Tumanya tutya nti emmere ejja kuba nnyingi mu nsi ya Katonda empya?

19 Tewalibaawo njala. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” (Zabbuli 72:16) Yakuwa Katonda ajja kuwa emikisa abatuukirivu, era ‘ensi ejja kuleeta ekyengera kyayo.’​—Zabbuli 67:6.

20. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ensi yonna ejja kufuuka olusuku lwa Katonda?

20 Ensi yonna ejja kufuuka lusuku lwa Katonda. Amaka amalungi n’ebifo ebirabika obulungi ennyo bye bijja okudda mu kifo ekyali kyonooneddwa abantu. (Isaaya 65:21-24; Okubikkulirwa 11:18) Ekiseera bwe kirigenda kiyitawo, ebitundu eby’ensi ebiribeeramu abantu bijja kugaziyizibwa okutuusa ensi yonna bw’erirabika obulungi era n’ereeta ekyengera kyayo nga bwe kyali mu lusuku Adeni. Era Katonda ajja ‘kwanjuluza engalo ze awe buli kiramu bye kyetaaga.’​—Zabbuli 145:16.

21. Kiki ekiraga nti wajja kubaawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo?

21 Wajja kubaawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo. Ensolo ez’omu nsiko n’eza waka zijja kuliiranga wamu. N’omwana omuto tajja kutya nsolo nkambwe mu kiseera ekyo.​—Isaaya 11:6-9; 65:25.

22. Kiki ekirituuka ku bulwadde?

22 Wajja kuba tewakyaliwo bulwadde. Ng’Omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, Yesu ajja kuwonya abantu ku kigero ekisinga ku ekyo ng’akyali ku nsi. (Matayo 9:35; Makko 1:40-42; Yokaana 5:5-9) “N’oyo atuulamu talyogera nti: Ndi mulwadde.”​—Isaaya 33:24; 35:5, 6.

23. Lwaki okuzuukira kujja kutuleetera essanyu?

23 Abaagalwa abaafa bajja kukomezebwawo mu bulamu nga balina essuubi ery’obutaddamu kufa nate. Abo bonna abeebase emagombe nga bakyajjukirwa Katonda bajja kuzuukizibwa. Mu butuufu, “walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”​—Ebikolwa 24:15; Yokaana 5:28, 29.

24. Owulira otya bw’olowooza ku kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?

24 Abo abayiga ku Mutonzi waffe ow’Ekitalo Yakuwa Katonda era ne bamuweereza, balina essuubi ery’ekitalo mu biseera eby’omu maaso. Yesu bwe yasuubiza omumenyi w’amateeka eyali okumpi naye nti “onooba nange mu lusuku lwa Katonda,” yali ayogera ku Lusuku olunaabaawo mu biseera eby’omu maaso ku nsi. (Lukka 23:43) Kikulu nnyo okuyiga ebisingawo ku Yesu Kristo ajja okutusobozesa okufuna emikisa gino gyonna.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Ekigendererwa kya Katonda eky’okufuula ensi olusuku lwe kijja kutuukirizibwa.​—Isaaya 45:18; 55:11.

▪ Setaani y’afuga ensi eno.​—Yokaana 12:31; 1 Yokaana 5:19.

▪ Mu nsi empya, Katonda ajja kuwa abantu emikisa mingi.​—Zabbuli 37:10, 11, 29.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Setaani yandisobodde atya okuwa Yesu obwakabaka bwonna obw’ensi singa tebwali bubwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 35]