Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Kristo y’Ani?

Yesu Kristo y’Ani?

ESSUULA EY’OKUNA

Yesu Kristo y’Ani?

Yesu alina kifo ki ekikulu?

Yava wa?

Yali muntu wa ngeri ki?

1, 2. (a) Lwaki okumanya erinnya ly’omuntu omwatiikirivu tekitegeeza nti omumanyi bulungi? (b) Ndowooza ki ez’enjawulo abantu ze balina ku Yesu?

WALIWO abantu bangi abaatiikirivu mu nsi. Abamu bamanyiddwa nnyo mu bitundu byabwe, abalala mu bibuga byabwe oba mu nsi yaabwe. Ate abalala bamanyiddwa mu nsi yonna. Kyokka, okumanya obumanya erinnya ly’omuntu omwatiikirivu tekitegeeza nti omumanyi bulungi. Era tekitegeeza nti omanyi kalonda yenna amukwatako awamu n’engeri ze.

2 Abantu bangi okwetooloola ensi balina kye bamanyi ku Yesu Kristo, wadde nga yaliwo ku nsi emyaka nga 2,000 egiyise. Kyokka bangi tebategeera bulungi Yesu kye yali. Abamu bagamba nti yali bubeezi muntu mulungi. Ate abalala nti yali nnabbi. Kyokka, abalala bakkiriza nti Yesu ye Katonda era nti asaanidde okusinzibwa. Ddala asaanidde okusinzibwa?

3. Lwaki kikulu ggwe okutegeera amazima agakwata ku Yesu?

3 Kikulu nnyo gwe okutegeera amazima agakwata ku Yesu. Lwaki? Kubanga Baibuli egamba nti: ‘Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.’ (Yokaana 17:3) Yee, okutegeera amazima agakwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, kijja kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yokaana 14:6) Ate era, Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe n’engeri ey’okuyisaamu abalala. (Yokaana 13:34, 35) Mu ssuula esooka ey’akatabo kano, twayiga amazima agakwata ku Katonda. Kati ka twetegereze Baibuli ky’eyigiriza ku Yesu Kristo.

MASIYA EYASUUBIZIBWA

4. Ebitiibwa “Masiya” ne “Kristo” bitegeeza ki?

4 Emyaka mingi emabega nga Yesu tannazaalibwa, Baibuli yali yalagula ku kujja kwa Masiya oba Kristo. Ekitiibwa “Masiya” (ekiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya) ne “Kristo” (ekiva mu ky’Oluyonaani) bitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” Eyasuubizibwa Ono yandifukiddwako amafuta, kwe kugamba, Katonda yandimulonze okuba mu kifo eky’enjawulo. Mu ssuula z’akatabo kano ezinaddako, tujja kuyiga ebisingawo ku kifo ekikulu Masiya kyalina mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. Era tujja kuyiga ku mikisa Yesu gy’atusobozesa okufuna ne mu kiseera kino. Kyokka, nga Yesu tannazaalibwa, bangi beebuuzanga, ‘Ani aliba Masiya?’

5. Ku bikwata ku Yesu, abayigirizwa be baali bakakafu ku ki?

5 Mu kyasa ekyasooka C.E., abayigirizwa ba Yesu ow’e Nazaaleesi baali bakakafu ddala nti ye yali Masiya eyalagulwako. (Yokaana 1:41) Omu ku bayigirizwa abo, ayitibwa Simooni Peetero, yagamba Yesu nti: “Ggwe Kristo.” (Matayo 16:16) Kati olwo, abayigirizwa abo bandisobodde batya okuba abakakafu nti ddala Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa? Ate ffe, tuyinza tutya okuba abakakafu nti ddala Yesu ye Masiya eyasuubizibwa?

6. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gyayambyemu abantu abeesigwa okutegeera Masiya.

6 Bannabbi ba Katonda abaaliwo nga Yesu tannabaawo, baayogera ebintu bingi ebikwata ku Masiya. Ebintu ebyo byali bya kuyamba abalala okutegeera Masiya. Okuwaayo ekyokulabirako: Ka tugambe nti ogambiddwa okugenda awasimba bbaasi oba eggaali z’omukka oba ku kisaawe ky’ennyonyi okukima omuntu gw’otomanyi. Tekyandikuyambye singa bakubuulira ebimu ku bintu ebikwata ku muntu oyo? Mu ngeri y’emu, okuyitira mu bannabbi aboogerwako mu Baibuli, Yakuwa yayogera ebintu bingi ebikwata ku ebyo Masiya bye yandikoze ne bye yandiyiseemu. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno kwandiyambye abantu abeesigwa okumutegeera obulungi.

7. Bunnabbi ki obw’emirundi ebiri obwatuukirizibwa ku Yesu?

7 Ka twetegerezeeyo obunnabbi bwa mirundi ebiri. Obusooka; ng’ekyabulayo emyaka 700, nnabbi Mikka yalagula nti oyo eyasuubizibwa yandizaaliddwa mu Besirekemu, akabuga akatono akaali mu Yuda. (Mikka 5:2) Yesu yazaalibwa wa? Mu kabuga ako kennyini! (Matayo 2:1, 3-9) Obw’okubiri; ng’ekyabulayo ebyasa bingi, obunnabbi obuli mu Danyeri 9:25 bwasongera ddala ku mwaka gwennyini Masiya mwe yandirabikidde, nga gwe mwaka ogwa 29 C.E. * Okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno awamu n’obulala, bukakafu obulaga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa.

8, 9. Bukakafu ki obulaga nti Yesu ye yali Masiya, obweyoleka obulungi ku kubatizibwa kwe?

8 Obujulizi obulala obukakasa nti Yesu ye yali Masiya bweyoleka bulungi ng’omwaka 29 C.E. guli kumpi okuggwako. Ogwo gwe mwaka Yesu we yagendera eri Yokaana Omubatiza okubatizibwa mu Mugga Yoludaani. Yakuwa yali asuubizza okuwa Yokaana akabonero akandimuyambye okutegeera Masiya. Yokaana yalaba akabonero ako Yesu ng’abatizibwa. Baibuli eyogera ku ekyo ekyaliwo ng’egamba nti: ‘Bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi; laba, eggulu ne limubikkukira, n’alaba omwoyo gwa Katonda nga gukka ng’ejjiba ku ye. Laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.’ (Matayo 3:16, 17) Oluvannyuma lw’okuwulira eddoboozi n’okulaba ebyaliwo, Yokaana yali mukakafu ddala nti Yesu yatumibwa Katonda. (Yokaana 1:32-34) Mu kiseera ekyo, omwoyo gwa Katonda bwe gwakka ku Yesu, yafuuka Masiya oba Kristo, eyalondebwa okuba Kabaka.​—Isaaya 55:4.

9 Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli n’ebigambo Yakuwa Katonda bye yayogera, biraga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. Naye, Baibuli eddamu ebibuuzo ebirala ebikulu bibiri ebikwata ku Yesu Kristo: Yava wa era yali muntu wa ngeri ki?

YESU YAVA WA?

10. Baibuli eyigiriza ki ku Yesu?

10 Baibuli eyigiriza nti Yesu yali abeera mu ggulu nga tannajja ku nsi. Mikka yalagula nti Masiya yandizaaliddwa mu Besirekemu era yagamba nti Yaliwo “dda na dda.” (Mikka 5:2) Emirundi mingi, Yesu kennyini yeeyogerangako nti yali mu ggulu nga tannazaalibwa ng’omuntu. (Yokaana 3:13; 6:38, 62; 17:4, 5) Ng’ali mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo, Yesu yalina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa.

11. Baibuli ekiraga etya nti Yesu ye Mwana wa Yakuwa asingayo okuba ow’omuwendo?

11 Yesu ye Mwana wa Yakuwa asinga okuba ow’omuwendo era waliwo ensonga lwaki y’asinga okuba ow’omuwendo. Ayitibwa “omubereberye ow’ebitonde byonna,” kubanga Katonda gwe yasooka okutonda. * (Abakkolosaayi 1:15) Waliwo n’ekintu ekirala ekifuula Omwana ono okuba ow’enjawulo. Ye Mwana “eyazaalibwa omu yekka.” (Yokaana 3:16) Kino kitegeeza nti Yesu ye yekka Katonda gwe yeetondera kennyini. Era ye yekka Katonda gwe yakozesa ng’atonda ebintu ebirala byonna. (Abakkolosaayi 1:16) Ate era, Yesu ayitibwa “Kigambo.” (Yokaana 1:14) Kino kitegeeza nti Katonda gwe yakozesa okutegeeza obubaka Bwe n’ebiragiro bye eri abaana Be, ab’omwoyo n’ab’omubiri.

12. Tumanya tutya nti Omwana omubereberye teyenkanankana na Katonda?

12 Omwana omubereberye yenkanankana ne Katonda ng’abamu bwe bakkiriza? Baibuli si bw’etyo bw’eyigiriza. Nga bwe tulabye mu katundu akavuddeko, Omwana yatondebwa. N’olwekyo, yalina entandikwa ate nga Yakuwa Katonda talina ntandikwa wadde enkomerero. (Zabbuli 90:2) Omwana eyazaalibwa omu yekka, talowoozaangako nti yali yenkanankana ne Kitaawe. Baibuli ekiraga kaati nti Taata asinga Omwana obukulu. (Yokaana 14:28; 1 Abakkolinso 11:3) Yakuwa yekka ye, “Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Olubereberye 17:1) N’olwekyo, teri amwenkana. *

13. Baibuli eba etegeeza ki bw’eyita Omwana “[e]kifaananyi kya Katonda atalabika”?

13 Yakuwa n’Omwana we omubereberye baali wamu okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka ng’eggulu n’ensi tebinnatondebwa. Nga bateekwa okuba nga baali baagalana nnyo! (Yokaana 3:35; 14:31) Omwana ono omwagalwa yali afaananira ddala Kitaawe. Eyo ye nsonga lwaki Baibuli emuyita “[e]kifaananyi kya Katonda atalabika.” (Abakkolosaayi 1:15) Yee, ng’omwana bwayinza okufaanana kitaawe mu ngeri nnyingi, n’Omwana ono ow’omu ggulu yayoleka engeri za Kitaawe.

14. Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka yatuuka atya okuzaalibwa ng’omuntu?

14 Kyeyagalire Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka yava mu ggulu najja ku nsi ng’omuntu. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Kyasoboka kitya ekitonde eky’omwoyo okuzaalibwa ng’omuntu?’ Kino okusobola okubaawo, Yakuwa yakola ekyamagero. Obulamu bw’Omwana we omubereberye eyali mu ggulu, yabuteeka mu lubuto lw’Omuyudaaya embeerera ayitibwa Malyamu. Malyamu teyeegatta na musajja yenna okusobola okufuna olubuto. N’olwekyo, Malyamu yazaala omwana atuukiridde era n’amutuuma erinnya Yesu.​—Lukka 1:30-35.

YESU YALI MUNTU WA NGERI KI?

15. Lwaki tugamba nti okuyitira mu Yesu tusobola okutegeera obulungi Yakuwa?

15 Yesu bye yayogera ne bye yakola ng’akyali ku nsi bituyamba okumutegeera obulungi. N’ekirala, okuyitira mu Yesu tusobola okutegeera obulungi Yakuwa. Lwaki kiri bwe kityo? Kijjukire nti Omwana ono ayolekera ddala engeri za Kitaawe. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba omu ku bayigirizwa be nti: “Alabye ku nze ng’alabye ku Kitange.” (Yokaana 14:9) Enjiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana zitubuulira bingi ebikwata ku bulamu bwa Yesu Kristo, bye yakola era n’engeri ze.

16. Okusingira ddala Yesu yayigiriza ki era bye yayigiriza byali by’ani?

16 Yesu yali amanyiddwa nga “Omuyigiriza.” (Yokaana 1:38; 13:13) Kiki kye yayigiriza? Okusingira ddala, yayigiriza “amawulire amalungi agakwata ku bwakabaka”​—nti Obwakabaka bwa Katonda, ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuga ensi yonna era ereetere abantu abawulize emikisa egy’olubeerera. (Matayo 4:23) Bye yayigiriza byali by’ani? Yesu kennyini yagamba: ‘Bye njigiriza si byange, wabula by’oyo eyantuma,’ Yakuwa. (Yokaana 7:16) Yesu yali akimanyi nti Kitaawe ayagala abantu bawulire amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Mu Ssuula 8, tujja kuyiga ebisingawo ku Bwakabaka bwa Katonda era ne kye bunaakola.

17. Yesu yayigiririzanga mu bifo ki, era lwaki yali munyiikivu nnyo mu kuyigiriza abalala?

17 Yesu yayigiririzanga mu bifo ki? Wonna we yasanganga abantu​—mu bibuga, mu byalo, mu butale, ne mu maka g’abantu. Yesu teyalindanga bantu kujja gyali. Ye yagendanga gye bali. (Makko 6:56; Lukka 19:5, 6) Lwaki Yesu yali munyiikivu nnyo, ng’amala ebiseera bingi mu kubuulira n’okuyigiriza? Kubanga ekyo Katonda kye yali ayagala akole. Bulijjo Yesu yakolanga Kitaawe by’ayagala. (Yokaana 8:28, 29) Naye waliwo ensonga endala lwaki yabuuliranga. Yasaasiranga ebibiina by’abantu abajjanga okumulaba. (Matayo 9:35, 36) Abakulembeze baabwe ab’amadiini baali tebabafaako, ate nga be bandibadde babayigiriza amazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye. Yesu yali amanyi nti abantu beetaaga nnyo okuwulira obubaka bw’Obwakabaka.

18. Ngeri ki eza Yesu ezisinga okukusikiriza?

18 Yesu yali musajja alina okwagala era afaayo ku balala. Bwe kityo, yali atuukirikika era nga wa kisa. N’abaana baayagalanga nnyo okubeera naye. (Makko 10:13-16) Yesu yali tasosola. Yakyawa obulyi bw’enguzi n’obutali bwenkanya. (Matayo 21:12, 13) Ekiseera abakazi we baayisibwangamu amaaso, ye yabawanga ekitiibwa. (Yokaana 4:9, 27) Yesu yali muwombeefu. Lumu, yanaaza ebigere by’abatume be, ekintu ekyakolebwanga abaddu.

19. Kyakulabirako ki ekiraga nti Yesu yali afaayo ku byetaago by’abalala?

19 Yesu yafangayo nnyo ku byetaago by’abalala. Kino kyeyoleka bulungi bwe yakozesa omwoyo gwa Katonda okuwonya abantu mu ngeri ey’ekyamagero. (Matayo 14:14) Ng’ekyokulabirako, omusajja omugenge yajja eri Yesu n’amugamba nti: ‘Bw’oba oyagala, oyinza okunnongoosa.’ Yesu kennyini yakwatibwako nnyo olw’okuba omusajja ono yali mu bulumi era ng’abonaabona. Yamusaasira era n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti: “Njagala. Longooka.” Omusajja omugenge n’awonyezebwa. (Makko 1:40-42) Oyinza okuteebereza engeri omusajja oyo gye yeewuliramu?

YALI MWESIGWA OKUTUUKA KU NKOMERERO

20, 21. Yesu yateekawo kyakulabirako ki eky’obuwulize eri Katonda?

20 Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’obuwulize eri Katonda. Yasigala nga mwesigwa eri Kitaawe mu mbeera zonna era ne bwe yali ng’aziyizibwa oba ng’abonaabona. Yesu teyekkiriranya bwe yakemebwa Setaani. (Matayo 4:1-11) Abamu ku b’eŋŋanda za Yesu tebamukkiririzaamu, ne batuuka n’okugamba nti “Alaluse.” (Makko 3:21) Naye Yesu teyabakkiriza kumulemesa; yeeyongera kukola mulimu gwa Katonda. Wadde baamuvumanga, Yesu yeefuganga era teyagezaako kukola kabi abo abamuziyiza.​—1 Peetero 2:21-23.

21 Yesu yasigala nga mwesigwa okutuusiza ddala abalabe be lwe bamutta. (Abafiripi 2:8) Weetegereze bye yagumiikiriza ku lunaku lwe olwasembayo ku nsi. Yakwatibwa, n’avunaanibwa eby’obulimba era abalamuzi abataali benkanya ne bamusingisa omusango, ebibiina by’abantu ne bimusekerera, era n’atulugunyizibwa abaserikale. Yakomererwa ku muti era ng’anaatera okufa yagamba nti: “Kiwedde!” (Yokaana 19:30) Kyokka, nga wayiseewo ennaku ssatu oluvannyuma lw’okufa kwe, Kitaawe ow’omu ggulu yamuzuukiza mu bulamu obw’omwoyo. (1 Peetero 3:18) Nga wayiseewo wiiki ntono nnyo, yaddayo mu ggulu era “[n]’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda” ng’alindirira okuweebwa obuyinza obw’obwakabaka.​—Abebbulaniya 10:12, 13.

22. Yesu yatuukiriza ki bwe yasigala nga mwesigwa okutuusa okufa?

22 Yesu yatuukiriza ki bwe yasigala nga mwesigwa okutuusa okufa? Okufa kwa Yesu kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa katonda ku nsi, nga kino kikwatagana n’ekigendererwa kya Yakuwa ekyasooka. Essuula eddako ejja kwogera ku ngeri okufa kwa Yesu gye kusobozesaamu kino okubaawo.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 7 Okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi bwa Danyeri obwatuukirizibwa ku Yesu, laba empapula 197-9.

^ lup. 11 Yakuwa ayitibwa Taata kubanga ye Mutonzi. (Isaaya 64:8) Olw’okuba Yesu yatondebwa Katonda, ayitibwa Mwana wa Katonda. Olw’ensonga y’emu, ebitonde ebirala eby’omwoyo nga kw’otadde ne Adamu biyitibwa baana ba Katonda.​—Yobu 1:6; Lukka 3:38.

^ lup. 12 Okufuna obujulizi obulala obulaga nti Omwana omubereberye teyenkanankana na Katonda, laba ebiri ku mpapula 201-4.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Obunnabbi obutuukiriziddwa n’ebyo Katonda bye yayogera bikakasa nti Yesu ye Masiya, oba Kristo.​—Matayo 16:16.

▪ Yesu yabeeranga mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo nga tannajja ku nsi.​—Yokaana 3:13.

▪ Yesu yali muyigiriza, yalina okwagala, era kyakulabirako kirungi eky’obuwulize eri Katonda.​—Matayo 9:35, 36.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 38]

Ku kubatizibwa kwe, Yesu yafuuka Masiya, oba Kristo

[Ebifaananyi ebiri ku empapula 44, 45]

Yesu yabuulira wonna we yasanganga abantu