Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abafu Bali Ludda Wa?

Abafu Bali Ludda Wa?

Essuula ey’Omukaaga

Abafu Bali Ludda Wa?

Kiki ekitutuukako bwe tufa?

Lwaki tufa?

Kiyinza okutubudaabuda bwe tumanya ekituufu ekibaawo ng’omuntu afudde?

1-3. Bibuuzo ki ebikwata ku bafu abantu bye beebuuza, era amadiini gabiddamu gatya?

EBYO bye bibuuzo abantu bye babadde beebuuza okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Ebibuuzo ebyo bikulu nnyo. Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bikwata ku buli omu ku ffe.

2 Mu ssuula evuddeko, twalabye engeri ekinunulo kya Yesu Kristo gye kyaggulawo ekkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Era twalabye nti Baibuli eyogera ku kiseera ‘okufa lwe kutalibaawo.’ (Okubikkulirwa 21:4) Kyokka, mu kiseera kino ffenna tufa. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba: “Abalamu bamanyi nga balifa.” (Omubuulizi 9:5) Tewali n’omu ayagala kufa. Wadde kiri kityo, twebuuza ekinaatutuukako nga tufudde.

3 Abaagalwa baffe bwe bafa, tunakuwala. Era tuyinza okwebuuza: ‘Kiki ekibatuuseeko? Babonaabona? Batufaako? Tusobola okubayamba? Tuliddamu okubalaba?’ Amadiini gawa eby’okuddamu eby’enjawulo mu bibuuzo ebyo. Agamu gayigiriza nti singa omuntu yeeyisa bulungi ajja kugenda mu ggulu naye bwe yeeyisa obubi, ajja kwokebwa mu muliro ogutazikira. Amalala gayigiriza nti abantu bwe bafa, bagenda mu twale ery’emyoyo ne babeera wamu ne bajjajja baabwe abaafa. Ate go amalala gayigiriza nti abantu bwe bafa basalirwa omusango, oluvannyuma ne babbulukukira mu bulamu obulala.

4. Njigiriza ki amadiini agasinga obungi gye gafaananya ku bikwata ku kufa?

4 Enjigiriza z’amadiini ezo zonna ziyigiriza nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde. Kumpi buli ddiini​—ezo eziriwo kati n’ezo ezaaliwo mu biseera eby’emabega ziyigiriza nti, tweyongera okubeerawo nga tusobola okulaba, okuwulira n’okulowooza. Naye ddala ekyo kisoboka? Obusobozi obw’okulaba, okuwulira n’okulowooza, bwesigamye ku bwongo. Ate ng’omuntu bw’afa, obwongo bwe bulekera awo okukola. N’olwekyo, omuntu aba takyayinza kulaba, kulowooza oba okuwulira.

KIKI DDALA EKITUTUUKAKO BWE TUFA?

5, 6. Baibuli eyigiriza ki ku mbeera y’abafu?

5 Yakuwa, eyatonda obwongo, amanyi bulungi ekitutuukako bwe tufa. Amanyi ekituufu, era mu Kigambo kye Baibuli, annyonnyola embeera abafu gye balimu. Ekigambo kye kigamba nti: Omuntu bw’afa, aba takyaliwo. Okufa bwe butaba na bulamu. Abafu tebalaba, tebawulira wadde okulowooza. Tewali kiwonawo ng’omuntu afudde. Tetulina mwoyo ogutafa. *

6 Oluvannyuma lwa Sulemaani okukitegeera nti abalamu bamanyi nga balifa, yawandiika: ‘Abafu tebaliiko kye bamanyi.’ Awo n’akyoleka kaati nti abafu tebasobola kulaga kwagala wadde obukyayi kubanga “tewali mulimu, newakubadde okuteesa, newakubadde okumanya, newakubadde amagezi mu magombe.” (Omubuulizi 9:5, 6, 10) Mu ngeri y’emu, Zabbuli 146:4 lugamba nti omuntu bw’afa, “ebirowoozo bye bibula.” Ng’abantu, bwe tufa tewabaawo kiwonawo. Obulamu bwaffe busobola okugeraageranyizibwa ku kaliro akaaka ku musubbaawa. Bwe kazikira, tekabaako we kalaga. Kaba kazikidde nga tekakyaliwo.

YESU KYE YAYOGERA KU BAFU

7. Yesu okufa yakugeraageranya ku ki?

7 Yesu Kristo yayogera ku mbeera abafu gye babaamu. Lumu yakitegeera nti Lazaalo, omusajja gwe yali amanyi obulungi yali afudde. Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase.” Abayigirizwa baalowooza nti Yesu yali ategeeza nti Lazaalo yeebase ng’awumuddemu olw’obulwadde. Naye, ekyo Yesu si kye yali ategeeza. Oluvannyuma yabagamba: “Lazaalo afudde.” (Yokaana 11:11-14) Weetegereze nti Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka. Lazaalo teyali mu ggulu, oba mu muliro ogutazikira. Teyali na bamalayika oba bajjajja abaafa. Era Lazaalo teyabbulukukira mu bulamu bulala. Bwe yafa yali awumudde, ng’alinga omuntu ali mu tulo otungi ennyo. Waliwo n’ebyawandiikibwa ebirala ebigeraageranya okufa ku kwebaka. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Suteefano bwe yakubibwa amayinja n’afa, Baibuli egamba nti “yeebaka.” (Ebikolwa 7:60) Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo yayogera ku bantu abamu ab’omu kiseera kye abaali “beebaka” mu kufa.​—1 Abakkolinso 15:6.

8. Tumanya tutya nti tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okufa?

8 Kyali kigendererwa kya Katonda abantu okufa? Nedda! Yakuwa yatonda abantu babeere ku nsi emirembe gyonna. Nga bwe twayigako mu katabo kano, Katonda yateeka abafumbo abaasooka mu lusuku olulungi. Yabawa obulamu obutuukiridde. Yakuwa yali abaagaliza birungi byereere. Waliwo omuzadde omwagazi eyandyagadde abaana be okukaddiwa n’okufa? Nedda! Yakuwa yali ayagala abaana be, era kyali kigendererwa kye babeere ku nsi emirembe gyonna nga basanyufu. Baibuli eyogera bw’eti ku bantu: ‘Yakuwa yateeka mu mitima gyabwe okwagala okubaawo emirembe gyonna.’ (Omubuulizi 3:11) Katonda yatutonda nga twagala okubaawo emirembe gyonna. Era akoze enteekateeka ekyo kisobole okutuukirizibwa.

ENSONGA LWAKI ABANTU BAFA

9. Tteeka ki Yakuwa lye yawa Adamu, era lwaki tekyali kizibu okuligondera?

9 Kati olwo, lwaki abantu bafa? Okusobola okufuna eky’okuddamu, tulina okutegeera ekyo ekyaliwo nga ku nsi kuliko omusajja omu n’omukazi omu. Baibuli egamba: “Mukama Katonda n’ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya.” (Olubereberye 2:9) Naye, yabawa etteeka limu. Yakuwa yagamba Adamu: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Tekyali kizibu okugondera etteeka eryo. Waaliwo emiti emirala mingi nnyo Adamu ne Kaawa gye baali basobola okulyako. Naye etteeka lino lyali libawa akakisa okulaga nti basiima Oyo eyali abawadde buli kimu nga mw’otwalidde n’obulamu obutuukiridde. Ate era, bwe bandibadde abawulize kyandiraze nti bawagira obufuzi bwa Kitaabwe ow’omu ggulu era nti basiima obulagirizi bwe.

10, 11. (a) Abafumbo abaasooka baajeemera batya Katonda? (b) Lwaki Adamu ne Kaawa baali tebayinza kusonyiyibwa olw’obujeemu bwabwe?

10 Eky’ennaku, abafumbo abo abaasooka baasalawo okujeemera Yakuwa. Ng’ayitira mu musota, Setaani yabuuza Kaawa: “[Ddala] bwatyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna ogw’omu lusuku?” Kaawa yamuddamu nti: “Ebibala by’emiti egy’omu lusuku tulya; wabula ebibala by’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa.”​—Olubereberye 3:1-3.

11 Setaani yagamba: “Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” (Olubereberye 3:4, 5) Setaani yali ayagala Kaawa alowooze nti yandiganyuddwa bwe yandiridde ekibala Katonda kye yali abagaanye. Okusinziira ku Setaani, Kaawa yandisobodde okwesalira- wo ekituufu n’ekikyamu; ng’alina eddembe okukola ky’ayagala. Era Setaani yagamba nti Yakuwa yalimba ku ebyo ebyandivuddemu nga balidde ekibala. Kaawa yakkiriza ebigambo bya Setaani. Bwe kityo, yanoga ekibala n’alya. Oluvannyuma yatwalira bbaawe naye n’alya. Ekibala baakirya mu bugenderevu. Baali bakimanyidde ddala nti bakola ekintu Katonda kye yabagaana. Bwe baalya ku kibala, mu bugenderevu baamenya etteeka eritaali kkakali. Baalaga nti Kitaabwe ow’omu ggulu tebamusizzaamu kitiibwa era ne banyooma n’obuyinza bwe. Baali tebayinza kusonyiyibwa olw’okujeemera Omutonzi waabwe.

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gye yawuliramu nga Adamu ne Kaawa bamujeemedde?

12 Okuwaayo ekyokulabirako: Wandiwulidde otya singa omwana gwe wakuza era n’omulabirira oluvannyuma akujeemera? Awatali kubuusabuusa ekyo kyandikunakuwazizza nnyo. Kati lowooza ku bulumi Yakuwa bwe yayitamu nga Adamu ne Kaawa bamujeemedde.

13. Kiki Yakuwa kye yagamba ekyandituuse ku Adamu ng’amaze okufa, era ekyo kyali kitegeeza ki?

13 Yakuwa yali tasobola kuleka Adamu ne Kaawa abajeemu okubeerawo emirembe gyonna. Baafa nga bwe yali agambye. Adamu ne Kaawa baali tebakyaliwo. Tebaagenda mu ttwale ery’emyoyo. Kino tukitegeerera ku bigambo Yakuwa bye yategeeza Adamu ng’amaze okumujeemera. Yamugamba: ‘Olidda mu ttaka, kubanga omwo mwe waggibwa. Kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.’ (Olubereberye 3:19) Katonda yali atonze Adamu okuva mu nfuufu. (Olubereberye 2:7) Bwe yali nga tannamutonda, Adamu yali taliiwo. N’olwekyo, Yakuwa bwe yagamba nti Adamu yandizze mu nfuufu, yali ategeeza nti Adamu teyandizzeemu kubaawo. Ng’enfuufu bwe talina bulamu, ne Adamu bwatyo bwe yandibadde.

14. Lwaki tufa?

14 Adamu ne Kaawa bandibaddewo nga balamu leero, naye baafa olw’okuba baajeemera Katonda. Ate ffe tufa olw’okuba bazzukulu ba Adamu bonna baasikira ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:12) Ekibi ekyo kiringa obulwadde obw’amaanyi omuntu bwe yafuna okuva ku bazadde be. Obulwadde obwo buviirako omuntu okufa. Okufa kikolimo era mulabe. (1 Abakkolinso 15:26) Nga kya ssanyu nnyo okuba nti Yakuwa yatukolera enteekateeka y’ekinunulo okusobola okutuwonya omulabe ono!

OKUMANYA EKITUUFU EKIBAAWO NG’OMUNTU AFUDDE KYA MUGANYULO

15. Lwaki okumanya ekituufu ekibaawo ng’omuntu afudde kibudaabuda?

15 Ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku mbeera abafu gye balimu kibudaabuda. Nga bwe tulabye, abafu tebabonaabona. Era, tewali nsonga yonna yandituleetedde kubatya kubanga tebasobola kutulumya. Tebeetaaga buyambi bwaffe, era nabo tebasobola kutuyamba. Tetusobola kwogera nabo, era nabo tebasobola kwogera naffe. Abakulembeze b’amadiini bangi balimbalimba abantu nti basobola okuyamba abafu, era abantu ababakkiririzaamu babawa ssente. Naye okumanya ekituufu ekibaawo ng’omuntu afudde kituyamba obutalimbibwa abo abayigiriza eby’obulimba.

16. Ani akubiriza enjigiriza z’amadiini agasinga obungi, era akikola atya?

16 Eddiini yo eyigiriza ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku bafu? Amadiini mangi tegayigiriza Baibuli ky’eyigiriza ku bafu. Lwaki? Olw’okuba Setaani yakubiriza enjigiriza zaago. Yeeyambisa eddiini ez’obulimba okukkirizisa abantu nti oluvannyuma lw’okufa, bajja kweyongera okuba abalamu mu ttwale ery’emyoyo. Buno bwe bumu ku bulimba Setaani bw’akozesa okuggya abantu ku Yakuwa Katonda. Kino akikola atya?

17. Lwaki enjigiriza ey’okubonyaabonya abantu mu muliro teweesa Yakuwa kitiibwa?

17 Nga bwe twalabye emabega, amadiini agamu gayigiriza nti omuntu bwe yeeyisa obubi, bw’afa ayokebwa mu muliro ogutazikira emirembe gyonna. Enjigiriza eno teweesa Katonda kitiibwa. Yakuwa, Katonda alina okwagala era tasobola kubonyaabonya bantu mu ngeri ng’eyo. (1 Yokaana 4:8) Wanditutte otya omusajja abonereza omwana we amujeemedde ng’ateeka emikono gye ku muliro? Omusajja ng’oyo wandimuwadde ekitiibwa? Ye abaffe, wandyagadde afuuke mukwano gwo? Kya lwatu nedda! Awatali kubuusabuusa ojja kumutwala ng’omuntu omutemu. Kyokka, Setaani ayagala tukkirize nti Yakuwa abonyaabonya obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu mu muliro emirembe gyonna!

18. Okusinza abafu kwesigamiziddwa ku njigiriza ki ey’obulimba?

18 Ate era Setaani akozesa amadiini agamu okuyigiriza nti oluvannyuma lw’okufa abantu bafuuka emyoyo era ng’abantu balina okugiwa ekitiibwa. Okusinziira ku njigiriza eno, emyoyo gy’abafu gisobola okuba mikwano gyaffe egy’oku lusegere oba abalabe ab’akabi ennyo. Abantu bangi bakkiriza obulimba obwo. Batya abafu, babawa ekitiibwa era babasinza. Okwawukana ku njigiriza eyo, Baibuli eyigiriza nti abafu beebase era nti tulina kusinza Yakuwa, Katonda omu ow’amazima, era Omutonzi waffe.​—Okubikkulirwa 4:11.

19. Bwe tumanya ekituufu ekibaawo ng’omuntu afudde, kituyamba kutegeera njigiriza ki endala eya Baibuli?

19 Bw’omanya ekituufu ekibaawo ng’omuntu afudde tojja kutwalirizibwa njigiriza z’amadiini ag’obulimba. Ate era kijja kukuyamba okutegeera enjigiriza za Baibuli endala. Ng’ekyokulabirako, bw’omala okutegeera nti abafu tebagenda mu twale ery’emyoyo, otegeera bulungi ekisuubizo ky’okufuna obulamu obutaggwaawo wano ku nsi.

20. Kibuuzo ki kye tujja okwekenneenya mu ssuula eddako?

20 Edda ennyo, omusajja omutuukirivu Yobu yabuuza: “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate?” (Yobu 14:14) Omuntu afudde asobola okuddamu okuba omulamu? Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eno kibudaabuda nnyo, ng’essuula eddako bw’egenda okutulaga.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 5 Okumanya amakulu g’ekigambo “omwoyo” laba empapula 208-11.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Abafu tebalaba, tebawulira era tebalowooza.​—Omubuulizi 9:5.

▪ Abafu beebase; tebabonaabona. ​—Yokaana 11:11.

▪ Tufa olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu.​—Abaruumi 5:12.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 59]

Akaliro akazikidde kalaze wa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 60]

Yakuwa yatonda abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 62]

Adamu yava mu nfuufu era yadda mu nfuufu