Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okutunuulira Obulamu nga Katonda bw’Abutunuulira

Okutunuulira Obulamu nga Katonda bw’Abutunuulira

Essuula ey’Ekkumi n’Essatu

Okutunuulira Obulamu nga Katonda bw’Abutunuulira

Katonda atunuulira atya obulamu?

Katonda atunuulira atya ekikolwa eky’okuggyamu embuto?

Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu bulamu?

1. Ani yatonda ebintu byonna ebiramu?

‘YAKUWA ye Katonda ow’amazima, era ye Katonda omulamu,’ bw’atyo Yeremiya bwe yagamba. (Yeremiya 10:10) Ate era, Yakuwa Katonda ye Mutonzi w’ebintu byonna ebiramu. Ebitonde eby’omu ggulu byamugamba nti: “Gwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo era byatondebwa.” (Okubikkulirwa 4:11) Bwe yali ayimba ng’atendereza Katonda, Kabaka Dawudi yagamba: ‘Ggwe nsibuko y’obulamu.’ (Zabbuli 36:9, NW) N’olwekyo, obulamu kirabo ekiva eri Katonda.

2. Kiki Katonda ky’akoze okusobola okubeesaawo obulamu bwaffe?

2 Ate era, Yakuwa y’abeesaawo obulamu bwaffe. (Ebikolwa 17:28) Ye yatuwa ensi kwe tuli, era y’atuwa emmere gye tulya, amazzi ge tunywa, n’empewo gye tussa. (Ebikolwa 14:15-17) Bino byonna Yakuwa yabikola tusobole okunyumirwa obulamu. Naye, okusobola okunyumirwa obulamu mu bujjuvu, kitwetaagisa okuyiga amateeka ga Katonda era ne tugagondera.​—Isaaya 48:17, 18.

OKUSSA EKITIIBWA MU BULAMU

3. Katonda yatunuulira atya okuttibwa kwa Abeeri?

3 Katonda ayagala tusse ekitiibwa mu bulamu bwaffe era n’obw’abalala. Ng’ekyokulabirako, mu biseera bya Adamu ne Kaawa, mutabani waabwe Kayini yasunguwalira nnyo muganda we Abeeri. Yakuwa yalabula Kayini nti obusungu bwe obwo bwandimuviiriddeko okukola ekibi eky’amaanyi. Kayini teyafaayo ku kulabula okwo. ‘Yakuba muganda we Abeeri n’amutta.’ (Olubereberye 4:3-8) Yakuwa yabonereza Kayini olw’okutta muganda we.​—Olubereberye 4:9-11.

4. Mu Mateeka ga Musa, Katonda yalaga atya engeri obulamu gye bulina okutwalibwamu?

4 Nga wayiseewo emyaka nga 2,400, Yakuwa yawa Abaisiraeri amateeka agandibasobozesezza okumuweereza mu ngeri gy’asiima. Olw’okuba amateeka ago gaaweebwa okuyitira mu Musa, ebiseera ebimu gayitibwa Amateeka ga Musa. Erimu ku Mateeka ga Musa lyali ligamba: “Tottanga.” (Ekyamateeka 5:17) Etteeka eryo lyalaga Abaisiraeri nti Katonda atwala obulamu bw’omuntu nga bwa muwendo, era nti n’abantu balina okutwala obulamu bwa bannaabwe nga bwa muwendo.

5. Tusaanidde kutwala tutya ekikolwa eky’okuggyamu embuto?

5 Ate bwo obulamu bw’omwana atannazaalibwa? Okusinziira ku Mateeka ga Musa, kyali kikyamu okutta omwana akyali mu lubuto lwa nnyina. N’olwekyo, n’obulamu bw’omwana atannazaalibwa, Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. (Okuva 21:22, 23; Zabbuli 127:3) Kino kitegeeza nti kibi okuggyamu embuto.

6. Lwaki tetusaanidde kukyawa bantu bannaffe?

6 Okussa ekitiibwa mu bulamu kizingiramu okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku bantu bannaffe. Baibuli egamba: “Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye.” (1 Yokaana 3:15) Bwe tuba twagala obulamu obutaggwaawo, tetulina kukyawa bantu bannaffe, kubanga obukyayi bwe buviirako ebikolwa eby’obukambwe ebisinga obungi. (1 Yokaana 3:11, 12) N’olwekyo, kikulu nnyo okwagalana.

7. Ebimu ku bintu ebiraga nti omuntu tassa kitiibwa mu bulamu bye biruwa?

7 Ate bwo obulamu bwaffe twandibututte tutya? Okutwalira awamu, abantu tebaagala kufa, naye abamu bateeka obulamu bwabwe mu kabi olw’okwagala okwesanyusaamu. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi banywa taaba, balya amayirungi, oba bakozesa enjaga olw’okwagala okwesanyusaamu obwesanyusa. Ebintu ng’ebyo byonoona omubiri era biyinza okuviirako abo ababikozesa okufa. Omuntu akozesa ebintu ng’ebyo, obulamu bwe aba tabutwala nga butukuvu. Ebintu ebyo si biyonjo mu maaso ga Katonda. (Abaruumi 6:19; 12:1; 2 Abakkolinso 7:1) Bwe tuba ab’okuweereza Katonda mu ngeri gy’asiima, tulina okulekera awo okukozesa ebintu ng’ebyo. Wadde ng’ekyo kiyinza obutaba kyangu, Yakuwa asobola okutuyamba ne tulekera awo okubikozesa. Era atusiima bwe tufuba okweyisa mu ngeri eraga nti obulamu bwaffe tubutwala ng’ekirabo eky’omuwendo.

8. Lwaki tulina okwekuuma ebintu ebiyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi?

8 Singa tussa ekitiibwa mu bulamu, tujja kwekuuma ebintu ebiyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi. Tetujja kuba balagajjavu era tujja kwewala eby’okwesanyusaamu ebiteeka obulamu bwaffe mu kabi. Tetujja kuvuga bidduka na kimama oba okwenyigira mu mizannyo egy’akabi eri obulamu bwaffe. (Zabbuli 11:5) Katonda yawa Abaisiraeri etteeka eryali ligamba nti: ‘Bw’ozimbanga ennyumba empya ng’eriko akasolya akaseeteevu, onoogiteekangako omuziziko omuntu yenna aleme kuwamattukayo n’agwa, n’oleetera omusaayi ku nnyumba yo.’ (Ekyamateeka 22:8, NW) Ng’osinziira ku musingi oguli mu tteeka eryo, kakasa nti ebintu byonna ebiri mu nnyumba yo biri mu mbeera nnungi, bireme okuviirako omuntu yenna okufuna akabenje. Bw’oba olina emmotoka, kakasa nti eri mu mbeera nnungi. Kakasa nti buli kintu kyonna ekiri mu maka go nga mw’otwalidde n’emmotoka yo si kya kabi eri obulamu bwo oba obw’abalala.

9. Singa tussa ekitiibwa mu bulamu tunaayisa tutya ensolo?

9 Naye ate kiri kitya ku bulamu bw’ensolo? Nabwo Omutonzi abutwala nga butukuvu. Katonda atukkiriza okutta ensolo bwe tuba nga twagala okufuna eky’okulya, eky’okwambala, oba bwe ziba nga za bulabe eri abantu. (Olubereberye 3:21; 9:3; Okuva 21:28) Kyokka, kibi okuyisa obubi ensolo oba okuzitta olw’okwesanyusaamu obwesanyusa era ekyo kiraga obutassa kitiibwa mu bulamu.​—Engero 12:10.

OKUSSA EKITIIBWA MU MUSAAYI

10. Katonda akiraze atya nti waliwo akakwate wakati w’obulamu n’omusaayi?

10 Nga Kayini amaze okutta muganda we Abeeri, Yakuwa yamugamba: “Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo linkabirira.” (Olubereberye 4:10) Katonda bwe yayogera ku musaayi gwa Abeeri, yali ategeeza obulamu bwa Abeeri. Kayini yali asse Abeeri era yalina okubonerezebwa. Omusaayi gwa Abeeri oba obulamu bwe, bwali ng’obukaabirira Yakuwa awoolere eggwanga. Akakwate akaliwo wakati w’obulamu n’omusaayi kaddamu okulagibwa oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa. Ng’Amataba tegannabaawo, abantu balyanga bibala, enva endiirwa, n’emmere ey’ensigo. Oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yagamba Nuuwa ne batabani be nti: “Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng’omuddo ogumera byonna mbibawadde.” Kyokka, Katonda yabawa n’etteeka lino: “Naye ennyama awamu n’obulamu bwayo, gwe musaayi gwayo, temugiryanga.” (Olubereberye 1:29; 9:3, 4) Kya lwatu, Yakuwa akwataganya obulamu bw’ensolo n’omusaayi gwayo.

11. Okuviira ddala mu biseera bya Nuuwa, ngeri ki ey’okukozesaamu omusaayi Katonda gye yagaana?

11 Tulaga nti tussa ekitiibwa mu musaayi bwe tutagulya. Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Abaisiraeri, yagamba: “Omuntu yenna . . . anaakwatanga ensolo yonna oba [e]nnyonyi yonna eriika ng’ayigga anaayiwanga omusaayi gwayo, n’agubikkako n’enfuufu. . . . Kyenva ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna.” (Eby’Abaleevi 17:13, 14) Etteeka ery’obutalya musaayi gwa nsolo Katonda lye yali awadde Nuuwa emyaka nga 800 emabega, lyali likyakola. Yakuwa kye yagamba kyali kitegeerekeka bulungi: Abaweereza be baali basobola okulya ennyama naye si musaayi. Omusaayi baalinga ba kuguyiwa ku ttaka, mu ngeri eyo ne kiba nga abaali bazzizzaayo obulamu bw’ensolo eri Katonda.

12. Kiragiro ki ekikwata ku kwewala omusaayi ekyaweebwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu mu kyasa ekyasooka era ekikyakola leero?

12 Abakristaayo nabo balina okugoberera ekiragiro ekyo. Abatume n’abakadde abaali batwala obukulembeze mu bagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka, baakuŋŋaana wamu okusalawo amateeka agaalina okugobererwa bonna abaali mu kibiina Ekikristaayo. Bwe bati bwe baasalawo: “Omwoyo omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana, okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n’omusaayi, n’ebitugiddwa [okuleka omusaayi mu nnyama], n’obwenzi.” (Ebikolwa 15:28, 29; 21:25) N’olwekyo, tuteekwa ‘okwewalanga omusaayi.’ Mu maaso ga Katonda, okwewala omusaayi kikulu nnyo ng’okwewala okusinza ebifaananyi n’obwenzi.

13. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti etteeka ery’okwewala omusaayi lizingiramu obutagukuteekamu nga baguyisa mu misuwa.

13 Ekiragiro eky’okwewala omusaayi kizingiramu n’obutateekebwamu musaayi? Yee. Okuwaayo ekyokulabirako: Omusawo ayinza okukugamba okwewala omwenge. Ekyo kyandibadde kitegeeza nti tosaanidde kunywa mwenge naye nti guyinza okukuyingizibwamu nga bakukuba empiso mu misuwa? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, okwewala omusaayi kitegeeza butaguyingiza mu mubiri gwaffe mu ngeri yonna. N’olwekyo, etteeka ery’okwewala omusaayi lizingiramu obutakkiriza muntu yenna kugututeekamu ng’aguyisa mu misuwa.

14, 15. Singa abasawo bagamba nti Omukristaayo alina okuweebwa omusaayi, kiki kye yandikoze, era lwaki?

14 Kiba kitya singa Omukristaayo afuna akabenje ak’amaanyi oba nga yeetaaga okulongoosebwa okw’amaanyi? Abasawo bayinza okumugamba nti bw’atateekebwamu musaayi ajja kufa. Kya lwatu, Omukristaayo teyandyagadde kufa. Olw’okuba ayagala okutaakiriza ekirabo eky’obulamu Katonda kye yamuwa, ayinza okukkiriza obujjanjabi obulala obuteetaagisa kuteekebwamu musaayi.

15 Omukristaayo yandimenye etteeka lya Katonda asobole okweyongera okubeera omulamu mu nteekateeka y’ebintu eno okumala akaseera? Yesu yagamba: “Buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.” (Matayo 16:25) Tetwagala kufa. Naye singa tumenya etteeka lya Katonda nga tugezaako okuwonyawo obulamu bwaffe, tuyinza okufiirwa obulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, kiba kya magezi okugondera etteeka lya Katonda, nga tuli bakakafu nti singa tufa, Omutonzi waffe ajja kutujjukira addemu okutuwa obulamu okuyitira mu kuzuukira.​—Yokaana 5:28, 29; Abebbulaniya 11:6.

16. Abaweereza ba Katonda bamalirivu kukola ki ku bikwata ku musaayi?

16 Leero, abaweereza ba Katonda abeesigwa bamalirivu okugoberera etteeka lye erikwata ku kwewala omusaayi. Tebayinza kugulya mu ngeri yonna. Era tebakkiriza kugubateekamu nga bajjanjabibwa. * Bakakafu nti Katonda eyatonda omusaayi amanyi ekisinga okubaganyula. Ekyo gwe okikkiriza?

ENGERI YOKKA ENTUUFU EY’OKUKOZESAAMU OMUSAAYI

17. Mu Isiraeri ey’edda, engeri emu yokka Yakuwa Katonda gye yakkiriza omusaayi okukozesebwamu y’eruwa?

17 Amateeka ga Musa galaga bulungi engeri emu yokka entuufu ey’okukozesaamu omusaayi. Ng’ayogera ku ngeri gye yali ayagala Abaisiraeri okumusinzaamu, Yakuwa yagamba: “Obulamu bw’ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw’obulamu.” (Eby’Abaleevi 17:11) Abaisiraeri bwe baayonoonanga, baali basobola okufuna ekisonyiwo nga bawaayo ensolo era ng’ogumu ku musaayi gwayo baguteeka ku kyoto ekyabanga mu lusiisira ate oluvannyuma nga yeekaalu emaze okuzimbibwa, baaguteekanga ku kyoto ekyalimu. Eyo ye ngeri yokka entuufu omusaayi gye gwalina okukozesebwamu.

18. Miganyulo ki gye tusobola okufuna okuyitira mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa?

18 Olw’okuba Abakristaayo ab’amazima tebali wansi w’Amateeka ga Musa, tebawaayo biweebwayo bya nsolo era tebassa musaayi gwazo ku kyoto. (Abebbulaniya 10:1) Kyokka, okukozesa omusaayi ku kyoto mu Isiraeri ey’edda kyali kisonga ku ssaddaaka ey’omuwendo ennyo, ey’Omwana wa Katonda, Yesu Kristo. Nga bwe twayiga mu Ssuula 5 ey’akatabo kano, Yesu yawaayo obulamu bwe ku lwaffe ng’akkiriza omusaayi gwe okuweebwayo nga ssaddaaka. Oluvannyuma, yalinnya mu ggulu era n’awaayo omuwendo gw’omusaayi gwe eri Katonda. (Abebbulaniya 9:11, 12) Ekyo kye kyasinziirwako ebibi byaffe okusonyiyibwa era n’ekituggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16) Nga kibadde kya muganyulo nnyo okukozesa omusaayi mu ngeri eyo! (1 Peetero 1:18, 19) Bwe tukkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, tusobola okufuna obulokozi.

19. Kiki kye tuteekwa okukola ‘obutavunaanibwa musaayi gwa muntu yenna’?

19 Nga tusiima nnyo Yakuwa Katonda olw’okutuwa ekirabo eky’obulamu! Ekyo tekyanditukubirizza okubuulira abalala nti nabo basobola okufuna obulamu obutaggwaawo singa bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu? Bwe tufaayo ku bulamu bw’abantu, tujja kunyiikira okubabuulira ku ssuubi eryo. (Ezeekyeri 3:17-21) Singa tufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, tujja kusobola okwogera nga Pawulo nti: ‘Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna, kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna.’ (Ebikolwa 20:26, 27) Okubuulira abantu ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye, ngeri nnungi mwe tulagira nti tussa ekitiibwa mu bulamu.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 16 Okumanya ebisingawo ku bujjanjabi obulala obuteetaagisa kuteekebwamu musaayi, laba empapula 13-17 mu brocuwa How Can Blood Save Your Life? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Obulamu kirabo okuva eri Katonda.​—Zabbuli 36:9; Okubikkulirwa 4:11.

▪ Kikyamu okugyamu embuto, okuva obulamu bw’omwana atannazaalibwa bwe buli obw’omuwendo mu maaso ga Katonda.​—Okuva 21:22, 23; Zabbuli 127:3.

▪ Tulaga nti tussa ekitiibwa mu bulamu nga twewala ebintu ebiyinza okubuteeka mu kabi era nga tetulya musaayi.​—Ekyamateeka 5:17; Ebikolwa 15:28, 29.

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku empapula 126]

TULAGA NTI TUSSA EKITIIBWA MU BULAMU

▪ nga tetutta mwana atannazaalibwa

▪ nga tetukyawa muntu yenna

▪ nga twewala ebikolwa ebitali biyonjo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 131]

Singa omusawo wo akugamba okwewala omwenge, wandiguyisizza mu misuwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 132]

Osobola otya okussa ekitiibwa mu bulamu n’omusaayi?