Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri y’Okufuulamu Amaka Gammwe Amasanyufu

Engeri y’Okufuulamu Amaka Gammwe Amasanyufu

Essuula ey’Ekkumi n’Ennya

Engeri y’Okufuulamu Amaka Gammwe Amasanyufu

Kiki ekyetaagisa okusobola okubeera omwami omulungi?

Omukyala asobola atya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe?

Kiki ekizingirwa mu kubeera omuzadde omulungi?

Abaana bayinza batya okuleetera amaka okuba amasanyufu?

1. Kiki ekisobozesa amaka okubeera amasanyufu?

YAKUWA KATONDA ayagala mubeere n’essanyu mu maka gammwe. Ekigambo kye, Baibuli, kiraga obuvunaanyizibwa buli omu mu maka bw’alina okutuukiriza. Singa buli omu mu maka atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’agoberera obulagirizi bwa Katonda, ebivaamu biba birungi nnyo. Yesu yagamba: “Balina omukisa [“ba ssanyu,” NW] abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.”​—Lukka 11:28.

2. Amaka okusobola okubeera amasanyufu, galina kutegeera ki?

2 Amaka gasobola okubeera amasanyufu singa abagalimu bakitegeera nti, Yakuwa, Yesu gwe yayita “Kitaffe,” ye yateekawo enteekateeka y’amaka. (Matayo 6:9) Amaka gonna ku nsi weegali olw’okuba Kitaffe ow’omu ggulu ye yatandikawo enteekateeka y’amaka era amanyi bulungi ekiyinza okuleeta essanyu mu maka. (Abeefeso 3:14, 15) Kati olwo, kiki Baibuli ky’eyigiriza ku buvunaanyizibwa bwa buli omu mu maka?

KATONDA YE YATANDIKAWO AMAKA

3. Baibuli eyogera etya ku ngeri amaka gye gaatandikamu, era tumanya tutya nti ky’egamba kituufu?

3 Yakuwa yatonda abantu abaasooka Adamu ne Kaawa, n’abagatta wamu mu bufumbo ng’omwami n’omukyala. Yabassa mu lusuku Adeni olwali lulabika obulungi era n’abagamba okuzaala abaana. Bw’ati bwe yabagamba: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:26-28; 2:18, 21-24) Luno si lugero bugero oba lufumo bufumo, kubanga Yesu yalaga nti ebyo ebiri mu kitabo ky’Olubereberye ebiraga engeri amaka gye gaatandikamu, bituufu. (Matayo 19:4, 5) Wadde nga twolekaganye n’ebizibu bingi era ng’obulamu tebuli nga Katonda bwe yali ayagala bubeere, ka tulabe ensonga lwaki amaka gasobola okubeera amasanyufu.

4. (a) Mu ngeri ki buli omu mu maka gy’ayinza okwongera ku ssanyu mu maka? (b) Lwaki kikulu nnyo okuyiga ebikwata ku bulamu bwa Yesu bwe tuba ab’okufuna essanyu mu maka?

4 Buli omu mu maka asobola okubaako ky’akola okuleetera amaka okuba amasanyufu ng’akoppa Katonda mu kulaga okwagala. (Abeefeso 5:1, 2) Naye, tusobola tutya okukoppa Katonda ng’ate tetusobola kumulaba? Tusobola okumukoppa nga tulabira ku Mwana we omubereberye gwe yatuma ku nsi. (Yokaana 1:14, 18) Bwe yali ku nsi, Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yayoleka bulungi nnyo engeri za Kitaawe ne kiba nti omuntu okumulaba oba okumuwuliriza, kyalinga okulaba era okuwuliriza Yakuwa kennyini. (Yokaana 14:9) N’olwekyo, bwe tuyiga engeri Yesu gye yayolekamu okwagala era ne tukoppa ekyokulabirako kye, buli omu ku ffe aba asobola okubaako ky’akolawo okwongera essanyu mu maka.

EKYOKULABIRAKO ERI ABAAMI

5, 6. (a) Yesu ateerawo atya abaami ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gy’ayisaamu ekibiina? (b) Kiki omuntu ky’ateekwa okukola okusobola okusonyiyibwa ebibi?

5 Baibuli egamba nti abaami basaanidde okuyisa bakyala baabwe mu ngeri Yesu gye yayisaamu abayigirizwa be. Weetegereze Baibuli ky’egamba wano: ‘Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo. Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini yeeyagala yekka. Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini naye aguliisa agujjanjaba era nga Kristo bw’ajjanjaba ekkanisa.’​Abeefeso 5:23, 25-29.

6 Engeri Yesu gy’ayagalamu ekibiina ky’abayigirizwa be kyakulabirako kirungi nnyo eri abaami. Yesu ‘yabaagala okutuusiza ddala ku nkomerero,’ ng’awaayo obulamu bwe ku lwabwe wadde nga baali tebatuukiridde. (Yokaana 13:1; 15:13) Mu ngeri y’emu, abaami bakubirizibwa bwe bati: ‘Mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.’ (Abakkolosaayi 3:19) Kiki ekiyinza okuyamba omusajja okussa mu nkola okubuulirirwa okwo, naddala nga mukyala we teyeeyisizza mu ngeri ey’amagezi? Alina okujjukira nti naye akola ensobi era alina n’okujjukira ky’alina okukola okusobola okusonyiyibwa Katonda. Kiki ky’alina okukola? Alina okusonyiwa abo abamukola ekibi, era nga mu abo mwe muli ne mukyala we. Kya lwatu, n’omukyala alina okukola kye kimu. (Matayo 6:12, 14, 15) Olaba ensonga lwaki abamu bagamba nti obufumbo obulungi bwebwo obubaamu abantu ababiri abasonyiwagana?

7. Kiki Yesu kye yali amanyi, era kyakulabirako ki kye yateerawo abasajja?

7 Era abaami basaanidde okukijjukira nti Yesu yafangayo ku bayigirizwa be. Yali amanyi obusobozi bwabwe we bukoma era ng’afaayo ne ku byetaago byabwe eby’omubiri. Ng’ekyokulabirako, lumu, bwe baali nga bakooye, yabagamba abayigirizwa be nti: “Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” (Makko 6:30-32) Abakyala nabo beetaaga okufiibwako. Baibuli eboogerako nga “ekibya ekinafu” era nti abaami basaanidde ‘okubawa ekitiibwa.’ Lwaki? Lwa kuba abaami n’abakyala balina enkizo y’emu ‘ey’okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (1 Peetero 3:7) Abaami basaanidde okukijjukira nti obwesigwa bwe buleetera omuntu okusiimibwa mu maaso ga Katonda k’abe musajja oba mukazi.​—Zabbuli 101:6.

8. (a) Lwaki kigambibwa nti omwami ‘ayagala mukazi we aba yeeyagala kennyini’? (b) Kitegeeza ki omwami n’omukyala okuba “omubiri gumu”?

8 Baibuli egamba nti omusajja “ayagala mukyala we aba yeeyagala kennyini.” Ekyo kiri bwe kityo kubanga omusajja n’omukazi baba tebakyali ‘babiri nate, naye omubiri gumu,’ nga Yesu bwe yagamba. (Matayo 19:6) N’olwekyo, balina okwewalira ddala obwenzi. (Engero 5:15-21; Abebbulaniya 13:4) Kino basobola okukituukiriza singa buli omu afaayo nnyo ku munne. (1 Abakkolinso 7:3-5) Jjukira ensonga eno: ‘Tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe, naye aguliisa era agujjanjaba.’ Abaami balina okwagala bakyala baabwe nga bwe beeyagala bo bennyini, nga bajjukira nti bavunaanyizibwa eri Yesu Kristo omutwe gwabwe.​—Abeefeso 5:29; 1 Abakkolinso 11:3.

9. Ngeri ki Yesu gy’alina eyogerwako mu Abafiripi 1:8, era lwaki abasajja basaanidde okwoleka engeri eyo eri bakyala baabwe?

9 Omutume Pawulo yayogera ku ‘kisa Kristo kye yalaga.’ (Abafiripi 1:8) Ekisa Yesu kye yalaga kyazzaamu abalala amaanyi era kyaviirako abayigirizwa be abakazi okumwagala ennyo. (Yokaana 20:1, 11-13, 16) Era n’abakyala baagala nnyo abaami baabwe okubalaga ekisa.

EKYOKULABIRAKO ERI ABAKYALA

10. Kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abakyala?

10 Amaka galinga ekibiina, era ekibiina ekyo okusobola okutambula obulungi, kirina okuba n’omutwe. Ne Yesu alina gw’atwala ng’Omutwe gwe. “Omutwe gwa Kristo ye Katonda,” nga ‘n’omusajja bw’ali omutwe gw’omukazi.’ (1 Abakkolinso 11:3) Okuba nti Yesu agondera Katonda, kyakulabirako kirungi gye tuli okuva buli omu ku ffe bw’alina gw’ateekwa okugondera.

11. Omukyala asaanidde kutwala atya bba, era kiki ekiyinza okuvaamu singa yeeyisa bulungi?

11 Okuva bwe kiri nti abantu tebatuukiridde, abasajja bakola ensobi era emirundi mingi tebatuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwabwe ng’emitwe gy’amaka. Kati olwo, omukyala aba alina kukola ki mu mbeera ng’eyo? Talina kunyooma ebyo mwami we by’akola oba okugezaako okutwala obukulembeze bwe. Omukyala asaanidde okujjukira nti obuwombeefu kintu kya muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. (1 Peetero 3:4) Omukyala bw’abeera omuwombeefu, kijja kumubeerera kyangu okugondera bba, wadde ne mu mbeera enzibu. Ate era, Baibuli egamba nti: ‘Omukazi assengamu bba ekitiibwa.’ (Abeefeso 5:33) Naye ate, kiba kitya singa omwami aba tatwala Kristo ng’Omutwe gwe? Baibuli ekubiriza bw’eti abakyala: ‘Abakazi mugonderenga babbammwe bennyini era nga bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu n’engeri gye mussaamu abalala ekitiibwa.’​1 Peetero 3:1, 2.

12. Lwaki si kikyamu omukyala okuwa endowooza ye mu ngeri ennungi?

12 Ka kibe nti bba mukkiriza oba nedda, omukyala bw’awa endowooza eyawukana ku y’omwami we, kiba tekitegeeza nti amunyooma. Endowooza ye eyinza okuba entuufu, era ng’amaka gonna gayinza okuganyulwa singa omwami awuliriza mukyala we. Wadde nga Ibulayimu yali takkiriza ebyo mukyala we, Saala, bye yali amugamba okusobola okugonjoola ekizibu ekyali kizzeewo mu maka gaabwe, Katonda yagamba Ibulayimu nti: ‘Wuliriza ky’agamba.’ (Olubereberye 21:9-12) Kya lwatu, singa omusajja aba asazeewo ekintu ekitakontana na mateeka ga Katonda, kyandibadde kirungi omukyala okumuwagira.​—Ebikolwa 5:29; Abeefeso 5:24.

13. (a) Kiki Tito 2:4, 5 kye wakubiriza abakazi abafumbo okukola? (b) Kiki Baibuli ky’eyogera ku kwawukana n’okugattululwa?

13 Waliwo ebintu bingi omukyala by’ayinza okukola okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eraga nti abakazi balina “okwagalanga babbaabwe, okwagalanga abaana baabwe, okwegenderezanga, okuba n’obulongoofu, okukolanga emirimu mu nnyumba zaabwe, okuba n’ekisa, [n’]okugonderanga babbaabwe.” (Tito 2:4, 5) Omukyala era maama akola bw’atyo aweebwa ekitiibwa era ayagalibwa ab’omu maka ge. (Engero 31:10, 28) Kyokka, okuva bwe kiri nti obufumbo bubeeramu abantu babiri abatatuukiridde, wayinza okubaawo ebizibu eby’amaanyi ebiyinza okuleetawo okwawukana oba okugattululwa. Baibuli ekkiriza okwawukana mu mbeera ezimu. Kyokka, kino kirina okumala okulowoozebwako ennyo kubanga Baibuli egamba nti: ‘Omukazi tanobanga ku musajja we n’omusajja talekanga mukazi we.’ (1 Abakkolinso 7:10, 11) Ate era, okusinziira ku Byawandiikibwa, bwenzi bwokka omuntu bw’ayinza okusinziirako okugattululwa ne munne mu bufumbo.​—Matayo 19:9.

EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI ERI ABAZADDE

14. Yesu yayisa atya abaana abato, era kiki abaana kye beetaaga okuva eri bazadde baabwe?

14 Yesu yateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yayisangamu abaana. Abantu bwe baagezaako okuziyiza abaana okugenda gy’ali, yabagamba: “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubagaana.” Baibuli egamba nti “yabawambaatira n’abawa omukisa ng’abassaako emikono.” (Makko 10:13-16) Okuva Yesu bwe yawaayo ebiseera okubeerako n’abaana abato, nammwe abazadde temwandiwaddeyo ebiseera okubeerako awamu n’abaana bammwe? Baagala mubeereko nabo ekiseera ekimala. Kiwetaagisa okuwaayo ebiseera okubayigiriza, kubanga ekyo Yakuwa ky’alagira abazadde okukola.​—Ekyamateeka 6:4-9.

15. Kiki abazadde kye bayinza okukola okusobola okukuuma abaana baabwe?

15 Ensi eno nga bw’egenda yeeyongera okwonooneka, abazadde balina okukuuma ennyo abaana baabwe naddala okuva eri abantu abaagala okubakolako akabi, gamba ng’abo abakwata abaana abato. Lowooza ku ngeri Yesu gye yakuumamu abayigirizwa be, be yayita mu ngeri ey’omukwano nti “baana bange.” Bwe yakwatibwa, Yesu yafuba nnyo okulaba nti abayigirizwa be tebakolebwako kabi konna. (Yokaana 13:33; 18:7-9) Ng’omuzadde, olina okumanya obukoddyo Omulyolyomi bw’akozesa okutuusa akabi ku baana bo. Olina okubategeeza obukoddyo obwo nga bukyali. * (1 Peetero 5:8) Leero, n’okusinga bwe kyali kibadde, kyetaagisa nnyo okukuuma abaana bo mu by’omubiri, mu by’omwoyo, era n’okulaba nti empisa zaabwe tezoonooneka.

16. Kiki abazadde kye basobola okuyigira ku ngeri Yesu gye yakwatamu abayigirizwa be nga bakoze ensobi?

16 Mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, abayigirizwa be baakaayana ani ku bo eyali asinga obukulu. Mu kifo ky’okubanyiigira, yababuulirira mu ngeri ey’okwagala era n’abateerawo n’ekyokulabirako. (Lukka 22:24-27; Yokaana 13:3-8) Bw’oba ng’oli muzadde, olaba engeri gy’oyinza okukoppamu ekyokulabirako kya Yesu mu ngeri y’okugunjulamu abaana bo? Kyo kituufu, abaana beetaaga okukangavvulwa, naye olina okubakangavvula ‘mu ngeri esaanidde’ so si na busungu. Tekyandibadde kirungi kukozesa bigambo ‘ebifumita ng’ekitala.’ (Yeremiya 30:11; Engero 12:18) Olina okukangavvula omwana wo mu ngeri ennungi ne kiba nti oluvannyuma ajja kukitegeera nti okukangavvula okwo kwali kwetaagisa.​—Abeefeso 6:4; Abebbulaniya 12:9-11.

EKYOKULABIRAKO ERI ABAANA

17. Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yateerawo abaana?

17 Abaana balina kye basobola okuyigira ku Yesu? Yee. Yesu yateerawo abaana ekyokulabirako ku ngeri gye basaanidde okugonderamu bazadde baabwe. Yagamba bw’ati: “Nga Kitange bwe yanjigiriza bwe njogera bwe ntyo.” Era yagattako nti: “Nkola bulijjo by’asiima.” (Yokaana 8:28, 29) Yesu yali muwulize eri Kitaawe ow’omu ggulu, era ne Baibuli ekubiriza abaana okuba abawulize eri bazadde baabwe. (Abeefeso 6:1-3) Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yawuliranga bazadde be, Yusufu ne Malyamu, abaali batatuukiridde. Awatali kubuusabuusa, ekyo kyaviirako ab’omu maka bonna okuba abasanyufu.​—Lukka 2:4, 5, 51, 52.

18. Lwaki Yesu yalinga muwulize eri Kitaawe ow’omu ggulu, era ani abeera omusanyufu abaana bwe bagondera bazadde baabwe?

18 Waliwo engeri yonna abaana gye bayinza okukoppamu Yesu ne basanyusa bazadde baabwe? Kyo kituufu nti, emirundi egimu abaana bayinza okukaluubirirwa okugondera bazadde baabwe, naye ekyo Katonda ky’ayagala bakole. (Engero 1:8; 6:20) Yesu bulijjo yali muwulize eri Kitaawe ow’omu ggulu, wadde ne mu mbeera enzibu. Lumu, Yesu bwe yalaba ng’ekintu Katonda kye yali ayagala akole nga kizibu ennyo, yagamba: “[Nzigyako] ekikompe kino [ekintu Katonda kye yali ayagala akole].” Wadde kyali kityo, Yesu yakola ekyo Katonda kye yali ayagala, kubanga yakitegeera nti Kitaawe yali amanyi bulungi kye yali agwanidde okukola. (Lukka 22:42) Singa abaana bayiga okuba abawulize, bajja kusanyusa bazadde baabwe ne Kitaabwe ow’omu ggulu. *​—Engero 23:22-25.

19. (a) Setaani akema atya abaana? (b) Abazadde bayinza kukwatibwako batya singa abaana baabwe beeyisa bubi?

19 Omulyolyomi yakema Yesu, era tusobola okuba abakakafu nti n’abato ajja kubakema. (Matayo 4:1-10) Setaani Omulyolyomi akozesa okupikirizibwa, okusobola okusendasenda abaana baffe. N’olwekyo, nga kikulu abaana okwewala emikwano emibi! (1 Abakkolinso 15:33) Dina muwala wa Yakobo, yakola omukwano n’abantu abataali basinza ba Yakuwa, era kino kyaleeta emitawaana mingi. (Olubereberye 34:1, 2) Lowooza ku ngeri abalala mu maka gye bayinza okukwatibwako singa omuntu omu mu maka ago yeenyigira mu bukaba.​—Engero 17:21, 25.

ENSONGA ESINGAYO OBUKULU EVIIRAKO AMAKA OKUBA AMASANYUFU

20. Amaka okusobola okubaamu essanyu, kiki buli omu ky’ateekwa okukola?

20 Singa amaka gagoberera okubuulirira okuli mu Baibuli, kiba kyangu okwaŋŋanga ebizibu bye goolekagana nabyo. Mu butuufu, okussa mu nkola okubuulirira okwo kye kiviirako amaka okubaamu essanyu. N’olwekyo, abaami mwagalenga bakyala bammwe, era mubayise nga Yesu bw’ayisa ekibiina. Abakyala, mugonderenga obukulembeze bwa babbammwe era mugoberere ekyokulabirako ky’omukyala ayogerwako mu Engero 31:10-31. Abazadde, mutendeke abaana bammwe. (Engero 22:6) Bataata, ‘mufuge bulungi amaka gammwe.’ (1 Timoseewo 3:4, 5; 5:8) Nammwe abaana, mugondere bazadde bammwe. (Abakkolosaayi 3:20) Tewali n’omu mu maka atuukiridde, buli omu akola ensobi. N’olwekyo, mubeere bawombeefu, era musonyiwaganenga.

21. Kiki kye tusuubira mu biseera eby’omu maaso, era tuyinza tutya okuba n’essanyu mu maka leero?

21 Mu butuufu, Baibuli erimu okubuulirira kungi okw’omuganyulo okukwata ku bulamu bw’amaka. Ate era, etuyigiriza ebikwata ku nsi ya Katonda empya ejja okubaamu abantu abasanyufu abasinza Yakuwa. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Ng’ebiseera eby’omu maaso bijja kuba bya ssanyu nnyo! Ne mu kiseera kino, tusobola okuba n’essanyu mu maka bwe tugoberera obulagirizi bwa Katonda obuli mu Kigambo kye, Baibuli.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 15 Ebiyinza okukuyamba okukuuma abaana bo bisangibwa mu ssuula 32 ey’ekitabo Learn From the Great Teacher, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 18 Singa omuzadde agamba omwana okukola ekintu ekimenya etteeka lya Katonda, awo omwana aba mutuufu okujeemera omuzadde oyo.​—Ebikolwa 5:29.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Abaami balina okwagala bakyala baabwe nga bo bennyini bwe beeyagala.​—Abeefeso 5:25-29.

▪ Abakyala basaanidde okwagala ab’omu maka gaabwe n’okuwa abaami baabwe ekitiibwa.​—Tito 2:4, 5.

▪ Abazadde balina okwagala abaana baabwe, okubayigiriza, n’okubawa obukuumi.​—Ekyamateeka 6:4-9.

▪ Abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe.​—Abeefeso 6:1-3.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 139]

Kyakulabirako ki ekirungi Saala kye yateerawo abakazi?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 140]

Kiki abazadde kye basobola okuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abaana abato?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 142]

Kiki abavubuka kye basaanidde okulowoozaako nga bakemeddwa?