Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda

Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda

Essuula ey’Ekkumi n’Omunaana

Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda

Okubatizibwa kw’Ekikristaayo kulina kuba kutya?

Bintu ki by’olina okukola okusobola okufuna ebisaanyizo by’okubatizibwa?

Omuntu yeewaayo atya eri Katonda?

Nsonga ki enkulu eyandireetedde omuntu okwagala okubatizibwa?

1. Lwaki omukungu Omuwesiyopiya yasaba abatizibwe?

“LABA, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?” Omukungu Omuwesiyopiya ye yabuuza ekibuuzo ekyo mu kyasa ekyasooka. Omukristaayo ayitibwa Firipo yali amaze okumulaga obukakafu nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. Olw’okukwatibwako ennyo ebyo bye yali ayize okuva mu Byawandiikibwa, omusajja oyo Omuwesiyopiya yasaba okubatizibwa.​—Ebikolwa 8:26-36.

2. Lwaki wandirowoozezza ku ky’okubatizibwa?

2 Bw’oba osomye n’obwegendereza essuula ezivuddeko ez’akatabo kano n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, oyinza okubuuza nti, ‘Kiki ekindobera okubatizibwa?’ Kati w’otuuse, oyize ku kisuubizo kya Baibuli eky’okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda. (Lukka 23:43; Okubikkulirwa 21:3, 4) Ate era oyize amazima agakwata ku mbeera y’abafu n’essuubi ery’okuzuukira. (Omubuulizi 9:5; Yokaana 5:28, 29) Oboolyawo obadde ogenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa era ng’okirabye nti ye ddiini ey’amazima. (Yokaana 13:35) N’ekisinga obukulu, oyinza okuba nga kati ofunye enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda.

3. (a) Kiragiro ki Yesu kye yawa abagoberezi be? (b) Abantu balina kubatizibwa batya?

3 Osobola otya okukiraga nti oyagala okuweereza Katonda? Yesu yagamba bw’ati abagoberezi be: ‘Mugende mufuule amawanga gonna abayigirizwa nga mubabatiza.’ (Matayo 28:19) Yesu kennyini yassaawo ekyokulabirako ng’abatizibwa mu mazzi. Teyamansirwako bumansirwa mazzi, era tebaamufukako bufusi mazzi ku mutwe. (Matayo 3:16) Ekigambo “okubatiza” kiva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “okunnyika.” N’olwekyo, okubatizibwa okw’Ekikristaayo kutegeeza okunnyikibwa mu mazzi.

4. Okubatizibwa mu mazzi kulaga ki?

4 Abo bonna abaagala okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda kibeetaagisa okubatizibwa. Okubatizibwa kwoleka mu lujjudde nti oyagala kuweereza Katonda. Kulaga nti oyagala okukola Yakuwa by’ayagala. (Zabbuli 40:7, 8) Kyokka, okusobola okufuna ebisaanyizo by’okubatizibwa, waliwo ebintu by’olina okukola.

OKUMANYA N’OKUKKIRIZA BYETAAGISA

5. (a) Kintu ki ekisooka ky’olina okukola nga tonnabatizibwa? (b) Lwaki enkuŋŋaana z’Ekikristaayo nkulu?

5 Watandika dda okukola ekintu ekisooka. Mu ngeri ki? Ng’ofuba okumanya ebikwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, oboolyawo ng’olina akuyigiriza Baibuli. (Yokaana 17:3) Kyokka, ekyaliyo ebirala bingi by’olina okuyiga. Abakristaayo baagala ‘okumanyira ddala mu bujjuvu ebyo Katonda by’ayagala.’ (Abakkolosaayi 1:9) Okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa kijja kukuyamba nnyo mu nsonga eno. N’olwekyo, kikulu nnyo okuzibeerangamu. (Abebbulaniya 10:24, 25) Okubeerangawo mu nkuŋŋaana kijja kukuyamba okweyongera okumanya Katonda.

6. Kikwetaagisa okumanya buli kimu ekiri mu Baibuli okusobola okufuna ebisaanyizo by’okubatizibwa?

6 Kya lwatu, tolina kusooka kumanya buli kimu ekiri mu Baibuli okusobola okuba n’ebisaanyizo by’okubatizibwa. Omukungu Omuwesiyopiya yali alina ky’amanyi, kyokka yali yeetaaga obuyambi okusobola okutegeera ebyawandiikibwa ebimu. (Ebikolwa 8:30, 31) Mu ngeri y’emu, naawe okyalina bingi by’olina okuyiga. Mu butuufu, okuyiga ebikwata ku Katonda tekugenda kukoma. (Omubuulizi 3:11) Kyokka, nga tonnabatizibwa olina okuba ng’omanyi era ng’okkiriza enjigiriza za Baibuli ezisookerwako. (Abebbulaniya 5:12) Muno mwe muli enjigiriza, gamba ng’amazima agakwata ku mbeera y’abafu, obukulu bw’erinnya lya Katonda, n’Obwakabaka bwe.

7. Okusoma Baibuli kusaanidde kukukolako ki?

7 Kyokka, okumanya kwokka tekumala, kubanga “awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa [Katonda].” (Abebbulaniya 11:6) Baibuli etutegeeza nti abantu abamu mu kibuga ky’e Kkolinso eky’edda “bakkiriza [era] ne babatizibwa,” bwe baawulira obubaka abagoberezi ba Yesu bwe baali babuulira. (Ebikolwa 18:8) Mu ngeri y’emu, okusoma Baibuli kujja kukusobozesa okukkiriza nti kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Okusoma Baibuli kujja kukuyamba okukkiririza mu bisuubizo bya Katonda ne mu ssaddaaka ya Yesu etusobozesa okufuna obulokozi.​—Yoswa 23:14; Ebikolwa 4:12; 2 Timoseewo 3:16, 17.

OKUBUULIRAKO ABALALA AMAZIMA GA BAIBULI

8. Kiki ekinaakuleetera okubuulirako abalala by’oyize?

8 Okukkiriza kwo bwe kunaagenda kweyongera, ojja kulaba nga tokyasobola kusirikira by’oyize. (Yeremiya 20:9) Muli ojja kukubirizibwa okubuulirako abalala ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye.​—2 Abakkolinso 4:13.

9, 10. (a) Baani b’oyinza okutandika okubuulirako amazima g’omu Baibuli? (b) Kiki ky’osaanidde okukola singa oyagala okwenyigira mu mulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okubuulira?

9 Oyinza okutandika okumanyisa abalala amazima g’omu Baibuli ng’obuulirako ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, baliraanwa bo, ne bakozi banno mu ngeri ey’amagezi. Oluvannyuma, ojja kwagala okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa. Ekirowoozo ekyo bwe kinaaba kikujjidde, totya kutegeezaako oyo akuyigiriza Baibuli. Bw’onooba otuukiriza ebisaanyizo by’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, enteekateeka zijja kukolebwa, ggwe n’oyo akuyigiriza musisinkane n’abakadde b’omu kibiina babiri.

10 Kino kijja kukuwa omukisa gw’okumanya obulungi abamu ku bakadde b’omu kibiina, abalabirira ekisibo kya Katonda. (Ebikolwa 20:28; 1 Peetero 5:2, 3) Abakadde bano bwe banaakiraba nti otegeera bulungi enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, ozikkiririzaamu, era nga weeyisa mu ngeri etuukana n’emisingi gya Katonda, ate era nga ddala oyagala okubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, bajja kukutegeeza nti osobola okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro ng’omubuulizi w’amawulire amalungi atali mubatize.

11. Nkyukakyuka ki abamu ze balina okukola okusobola okufuuka ababuulizi?

11 Ku luuyi olulala, abakadde bayinza okukiraba nti okyalina enkyukakyuka ze weetaaga okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Muno muyinza okuzingiramu okulekayo ebikolwa ebibi by’obadde okola mu nkukutu. N’olwekyo, nga tonnasaba kufuuka mubuulizi atali mubatize, oteekwa okuba nga tolina kibi kya maanyi ky’okola, gamba, obukaba, obwenzi, obutamiivu, n’okunywa enjaga.​—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abaggalatiya 5:19-21.

OKWENENYA N’OKUKYUKA

12. Lwaki kyetaagisa okwenenya?

12 Waliwo ebintu ebirala ebiteekwa okukolebwa okusobola okuba n’ebisaanyizo by’okubatizibwa. Omutume Peetero yagamba: “Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe.” (Ebikolwa 3:19) Okwenenya kwe kunakuwalira ekibi ky’oba okoze. Kikulu omuntu okwenenya bw’aba ng’abadde alina ebibi eby’amaanyi by’akola, kyokka era n’oyo abadde talina bibi bya maanyi by’akola kimwetaagisa okwenenya. Lwaki? Lwa kuba abantu bonna boonoonyi era beetaaga okusonyiyibwa Katonda. (Abaruumi 3:23; 5:12) Bwe wali nga tonnatandika kuyiga Baibuli, wali tomanyi Katonda by’ayagala. Kati olwo wandisobodde otya okukola by’ayagala mu bujjuvu? N’olwekyo, kikwetaagisa okwenenya.

13. Okukyuka kye ki?

13 Oluvannyuma lw’okwenenya, oteekwa ‘okukyuka.’ Tolina kukoma ku kunakuwalira bibi byo. Olina okulekayo ebikolwa byo bibi by’obadde okola era omalirire okukolanga ekituufu. Nga tonnabatizibwa, oteekwa okwenenya n’okukyuka.

OKWEWAAYO

14. Kintu ki ekikulu ky’oteekwa okukola nga tonnabatizibwa?

14 Waliwo ekintu ekirala ekikulu ky’oteekwa okukola nga tonnabatizibwa. Oteekwa okwewaayo eri Yakuwa Katonda.

15, 16. Kitegeeza ki okwewaayo eri Katonda, era kiki ekikubiriza omuntu okwewaayo?

15 Bwe weewaayo eri Yakuwa Katonda mu kusaba, weeyama okumuweereza ye yekka emirembe n’emirembe. (Ekyamateeka 6:15) Naye lwaki omuntu yandyagadde okubeera omuweereza wa Katonda emirembe gyonna? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tukozese ekyokulabirako ky’omusajja ayagala okuwasa omukazi. Gy’akoma okuyiga ebikwata ku mukazi oyo, era n’alaba nti alina engeri ennungi, gy’akoma okweyongera okumwagala. Bwe wayitawo ekiseera, ayinza okutegeeza omukazi oyo nti ayagala kumuwasa. Kyo kituufu nti okuwasa kujja kumwongera obuvunaanyizibwa. Naye okwagala kw’aba nakwo kumukubiriza okwetikka obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi.

16 Bw’omanya Yakuwa era n’otandika okumwagala, tojja kukkiriza kintu kyonna kukulemesa kumuweereza oba okumusinza. Buli muntu yenna ayagala okugoberera Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, alina ‘okwefiiriza.’ (Makko 8:34) Twefiiriza nga tetuleka kintu kyonna kye twagala oba kye tuluubirira okutulemesa okugondera Katonda. N’olwekyo, nga tonnabatizibwa oteekwa okukakasa nti ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwo kwe kukola Yakuwa Katonda by’ayagala.​—1 Peetero 4:2.

OKUVVUUNUKA OKUTYA

17. Lwaki abamu bayinza okulonzalonza okwewaayo eri Katonda?

17 Abamu balonzalonza okwewaayo eri Yakuwa olw’okuba batya obuvunaanyizibwa obuzingirwamu. Bayinza okutya okuvunaanyizibwa eri Katonda. Olw’okuba batya nti bayinza okulemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, ne kinyiiza Yakuwa, basalawo obuteewaayo.

18. Kiki ekiyinza okukukubiriza okwewaayo eri Yakuwa?

18 Bwe weeyongera okwagala Yakuwa, ojja kwagala okwewaayo gy’ali era okole kyonna ky’osobola okutuukiriza okwewaayo kwo. (Omubuulizi 5:4) Oluvannyuma lw’okwewaayo, awatali kubuusabuusa ojja kwagala ‘okutambulanga nga bwe kisaanira mu maaso ga Mukama waffe osobole okumusanyusa.’ (Abakkolosaayi 1:10, NW) Olw’okwagala kw’olina eri Katonda, tojja kukaluubirirwa kukola by’ayagala. Awatali kubuusabuusa ojja kukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Yokaana eyawandiika nti: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.”​—1 Yokaana 5:3.

19. Lwaki tosaanidde kutya kwewaayo eri Katonda?

19 Tolina kuba muntu atuukiridde okusobola okwewaayo eri Katonda. Yakuwa amanyi obusobozi bwo we bukoma era takusuubira kukola ky’otasobola. (Zabbuli 103:14) Ayagala otuuke ku buwanguzi era ajja kukuyamba. (Isaaya 41:10) Osobola okuba omukakafu nti bw’oneesiga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, ‘ajja kuluŋŋamya olugendo lwo.’​—Engero 3:5, 6.

LAGA OKWEWAAYO KWO NG’OBATIZIBWA

20. Lwaki okwewaayo kwo eri Yakuwa tekulina kusigala nga kwa kyama?

20 Okufumiitiriza ku bintu ebiva okwogerwako waggulu, kiyinza okukuyamba okusalawo okwewaayo eri Yakuwa okuyitira mu kusaba. Buli muntu ayagala Katonda ateekwa ‘okwatula mu lujjudde okusobola okufuna obulokozi.’ (Abaruumi 10:10) Kino oyinza kukikola otya?

21, 22. Osobola otya ‘okwatula mu lujjudde’ okukkiriza kwo?

21 Tegeeza omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde mu kibiina kyo nti oyagala kubatizibwa. Ajja kukola enteekateeka abakadde babeeko ebibuuzo bye bakubuuza ebikwata ku njigiriza za Baibuli ezisookerwako. Abakadde bano bwe banaakiraba nti otuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa, bajja kukutegeeza nti osobola okubatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olunaddako. * Emboozi eraga amakulu g’okubatizibwa etera okuweebwa ku nkuŋŋaana ennene. Oluvannyuma omwogezi asaba ababa bagenda okubatizibwa okuddamu ebibuuzo ebyangu bibiri, era ng’eno y’engeri emu ‘ey’okwatula mu lujjudde’ okukkiriza kwabwe.

22 Okubatizibwa kulaga abantu bonna nti weewaddeyo eri Katonda era nti kati oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Ababatizibwa bannyikibwa mu mazzi okulaga mu lujjudde nti beewaddeyo eri Yakuwa.

AMAKULU G’OKUBATIZIBWA KWO

23. Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu”?

23 Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibadde babatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’[o]mwoyo [o]mutukuvu.” (Matayo 28:19) Kino kitegeeza nti oyo agenda okubatizibwa alina okuba ng’ategeera bulungi obuyinza bwa Yakuwa Katonda n’obwa Yesu Kristo. (Zabbuli 83:18; Matayo 28:18) Ate era alina okumanya omulimu gw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu oba amaanyi ge agakola.​—Abaggalatiya 5:22, 23; 2 Peetero 1:21.

24, 25. (a) Okubatizibwa kwoleka ki? (b) Kibuuzo ki ekyetaaga okuddibwamu?

24 Kyokka, okubatizibwa si kunnyikibwa bunnyikibwa mu mazzi. Kabonero akooleka ekintu ekikulu ennyo. Bw’onnyikibwa mu mazzi kiba kitegeeza nti ofudde ku bikwata ku bulamu bwo obw’emabega. Bw’obbululwayo kiba kitegeeza nti kaakano ozzeemu okuba omulamu era ng’oli mwetegefu okukola Katonda by’ayagala. Ate era, kijjukire nti oba weewaddeyo eri Yakuwa Katonda kennyini, so si eri omulimu, omuntu yenna, oba ekibiina. Okwewaayo kwo n’okubatizibwa eba ntandikwa y’omukwano ogw’oku lusegere ne Katonda.​—Zabbuli 25:14.

25 Bw’obatizibwa tekitegeeza nti mu buli ngeri ojja kuweebwa obulokozi. Omutume Pawulo yawandiika: “Mukolererenga okulokolebwa kwammwe, nga mutya era nga mukankana.” (Abafiripi 2:12, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa. Ekibuuzo ky’oyinza okwebuuza kiri nti, Nnyinza ntya okwekuumira mu kwagala kwa Katonda? Essuula esembayo ejja kutuwa eky’okuddamu.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 21 Okubatizibwa kubeerawo mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa ezibaawo buli mwaka.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kuba kunnyikibwa mu mazzi, so si okumansirwako obumansirwa amazzi.​—Matayo 3:16.

▪ Ng’omuntu tannabatizibwa asooka kufuna kumanya n’ayoleka okukkiriza, ekiddako yeenenya, n’akyuka, era ne yeewaayo eri Katonda.​—Yokaana 17:3; Ebikolwa 3:19; 18:8.

▪ Okwewaayo eri Yakuwa, oteekwa okwefiiriza, ng’abantu b’omu kiseera kya Yesu bwe beefiiriza okusobola okumugoberera.​—Makko 8:34.

▪ Okubatizibwa kabonero akalaga nti omuntu afudde ku bikwata ku bulamu bwe obw’emabega, era ng’azzeemu okuba omulamu okusobola okukola Katonda by’ayagala.​—1 Peetero 4:2.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 180]

Kikulu okumanya Ekigambo kya Katonda okusobola okufuna ebisaanyizo by’okubatizibwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 180]

Okukkiriza kwandikukubirizza okubuulirako abalala enzikiriza zo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 181]

Weewaddeyo eri Katonda okuyitira mu kusaba?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 181]

Okubatizibwa kabonero akalaga nti omuntu afudde ku bikwata ku bulamu bwe obw’emabega, era ng’azzeemu okuba omulamu okukola Katonda by’ayagala