Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Erinnya lya Katonda—Enkozesa Yaalyo n’Amakulu Gaalyo

Erinnya lya Katonda—Enkozesa Yaalyo n’Amakulu Gaalyo

Erinnya lya Katonda​Enkozesa Yaalyo n’Amakulu Gaalyo

ZABBULI 83:18 luvvuunuddwa lutya mu Baibuli yo? New World Translation of the Holy Scriptures eluvvuunula bw’eti: “Abantu balyoke bamanye nti ggwe, ayitibwa erinnya Yakuwa, gwe wekka ali Waggulu Ennyo mu nsi yonna.” Enzivuunula za Baibuli eziwerako zivvuunula olunyiriri olwo mu ngeri y’emu. Kyokka, enzivuunula za Baibuli nnyingi tezikozesa linnya Yakuwa, zikozesa ebitiibwa nga “Mukama” oba “ow’Emirembe n’Emirembe,” mu bifo we lyandibadde. Kiki ekyandikozeseddwa mu lunyiriri luno? Kitiibwa oba linnya Yakuwa?

Olunyiriri luno lwogera ku linnya. Mu lulimi Olwebbulaniya olwakozesebwa okuwandiika ekitundu ekisinga obunene ekya Baibuli, erinnya lya Katonda lye likozesebwa. Mu nnukuta ez’Olwebbulaniya liwandiikibwa bwe liti, יהוה (YHWH). Mu Luganda erinnya eryo liri “Yakuwa.” Erinnya eryo liri mu lunyiriri lumu lwokka mu Baibuli? Nedda. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka, erinnya eryo lisangibwamu emirundi nga 7,000!

Erinnya lya Katonda kkulu kwenkana wa? Lowooza ku ssaala ey’okulabirako Yesu Kristo gye yayigiriza abagoberezi be. Etandika bw’eti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Ate era, nga wayiseewo ekiseera, Yesu yasaba Katonda: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Katonda yamuddamu okuva mu ggulu ng’agamba: “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.” (Yokaana 12:28) Kya lwatu nti, erinnya lya Katonda kkulu nnyo. Kati olwo, lwaki abavvuunuzi abamu tebakozesezza linnya lya Katonda mu nzivuunula zaabwe eza Baibuli, ne bakozesa ebitiibwa Mukama oba Katonda?

Kirabika waliwo ensonga enkulu bbiri. Esooka eri nti, bangi bagamba nti erinnya eryo terisaanidde kukozesebwa olw’okuba engeri gye lyayatulwangamu mu kusooka temanyiddwa. Olulimi Olwebbulaniya olw’edda lwawandiikibwanga awatali kukozesa nnukuta mpeerezi. N’olwekyo, tewali n’omu leero amanyidde ddala engeri abantu b’omu kiseera Baibuli we yawandiikirwa gye baayatulangamu ekigambo YHWH. Naye kino kyanditulemesezza okukozesa erinnya lya Katonda? Mu biseera Baibuli we yawandiikirwa, erinnya Yesu liyinza okuba nga lyali lyatulwa nga Yeshua oba Yehoshua​—tewali n’omu asobola kumanyira ddala ngeri ntuufu gye lyayatulwangamu. Kyokka, mu nsi yonna abantu bakozesa erinnya Yesu nga balyatula mu ngeri ez’enjawulo mu lulimi lwabwe. Tebalonzalonza kukozesa linnya Yesu olw’okuba nti tebamanyi ngeri yennyini gye lyayatulwangamu mu kyasa ekyasooka. Mu ngeri y’emu, singa ogenda mu nsi endala, oyinza okukisanga nti erinnya lyo lyatulwa mu ngeri ya njawulo. N’olwekyo, obutamanya ngeri erinnya lya Katonda gye lyayatulwangamu edda, tekitugaana kulikozesa.

Ensonga endala eweebwa obutakozesa linnya lya Katonda, yeesigamye ku kalombolombo k’Abayudaaya akamaze ekiseera ekiwanvu nga kagobererwa. Bangi ku bo bagamba nti erinnya lya Katonda terisaanidde kwatulwa. Akalombolombo kano kajjawo olw’okutegeera obubi etteeka lya Baibuli erigamba nti: “Tomalanga gakozesa linnya lyange, kubanga nze Mukama, Katonda wo, ndibonereza buli muntu amala gakozesa erinnya lyange.”​—Okuva 20:7, Baibuli y’Oluganda eya 2003.

Etteeka lino ligaana okukozesa obubi erinnya lya Katonda. Naye ligaana okulikozesa mu ngeri ey’ekitiibwa? N’akatono! Abaawandiika Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (“Endagaano Enkadde”) bonna baali basajja beesigwa abaakoleranga ku Mateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri ab’edda. Kyokka baakozesa nnyo erinnya lya Katonda. Ng’ekyokulabirako, baalikozesa mu zabbuli nnyingi abantu ze baayimbanga mu ddoboozi ery’omwanguka nga basinza. Ate era, Yakuwa yagamba abasinza be okukoowoola erinnya lye, era abo abaali abeesigwa baamugondera. (Yoweeri 2:​32; Ebikolwa 2:​21) N’olwekyo, Abakristaayo leero tebalonzalonza kukozesa linnya lya Katonda mu ngeri ey’ekitiibwa, nga Yesu bwe yakola.​—Yokaana 17:26.

Abavvuunuzi ba Baibuli bakola ensobi y’amaanyi bwe bakozesa ebitiibwa Mukama oba Katonda mu bifo erinnya lya Katonda we lirina okubeera. Balabisa Katonda ng’ali ewala ennyo oba ng’atali wa ddala, kyokka ng’ate Baibuli ekubiriza abantu okuba ‘n’omukwano ogw’oku lusegere naye.’ (Zabbuli 25:14) Lowooza ku mukwano gwo ow’oku lusegere. Ddala yandibadde wa ku lusegere singa wali tomanyi linnya lye? Mu ngeri y’emu, abantu bwe batategeezebwa linnya lya Katonda, Yakuwa, basobola batya okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye? Ate era, abantu bwe batakozesa linnya lya Katonda, tebasobola kumanya makulu gaalyo ag’ekitalo. Erinnya lya Katonda litegeeza ki?

Yakuwa kennyini yannyonnyola Musa omuweereza we omwesigwa amakulu g’erinnya lye. Musa bwe yabuuza ebikwata ku linnya lya Katonda, Yakuwa yaddamu nti: ‘Nja kubeera ekyo kye nnaabeera.’ (Okuva 3:​14, NW) Enzivuunula ya Rotherham evvuunula bw’eti olunyiriri olwo: “Nja kubeera ekyo kyonna kye njagala.” Yakuwa asobola okufuuka kyonna ekiba kyetaagisa okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye.

Ka tugeze nti osobola okufuuka kyonna ekiba kyetaagisa. Kiki kye wandikoledde mikwano gyo? Omu ku bo bwe yandikwatiddwa obulwadde obw’amaanyi, wandifuuse omusawo omukugu n’omuwonya. Omulala bwe yandifiiriddwa ssente ze nnyingi, wandifuuse nnagagga omuwi w’obuyambi n’ogonjoola ekizibu kye. Kyokka, ekituufu kiri nti, toyinza kufuuka kyonna ky’oyagala. Ffenna bwe tutyo bwe tuli. Naye bw’onoosoma Baibuli, ojja kwewuunya okulaba engeri Yakuwa gy’afuukamu kyonna ekiba kyetaagisa okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. Era ayagala okukozesa amaanyi ge ku lw’abo b’ayagala. (2 Ebyomumirembe 16:9) Abo abatamanyi linnya lya Yakuwa tebamanyi ngeri ze zino ennungi.

Kya lwatu nti erinnya Yakuwa lisaanidde okukozesebwa mu Baibuli. Okumanya amakulu g’erinnya eryo era n’okulikozesa, bituyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. *

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 3 Okumanya ebisingawo ebikwata ku linnya lya Katonda, amakulu gaalyo, n’ensonga lwaki lisaanidde okukozesebwa mu kusinza, laba akatabo The Divine Name That Will Endure Forever, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 195]

Erinnya lya Katonda mu nnukuta ez’Olwebbulaniya