Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amazima Agakwata ku Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu

Amazima Agakwata ku Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu

Amazima Agakwata ku Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu

ABANTU abakkiririza mu njigiriza ya Tiriniti bagamba nti Katonda alimu abantu basatu​—Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Bagamba nti buli omu ku bantu bano yenkanankana ne munne, muyinza w’ebintu byonna, era nti talina ntandikwa. N’olwekyo, okusinziira ku njigiriza ya Tiriniti, Kitaffe Katonda, Omwana Katonda, n’Omwoyo Omutukuvu Katonda, kyokka nga bonna bakola Katonda omu.

Bangi abakkiririza mu njigiriza ya Tiriniti tebasobola kuginnyonnyola. Wadde kiri kityo, balowooza nti enjigiriza eyo ya mu Baibuli. Kyokka, ekigambo “Tiriniti” tekirina wonna we kisangibwa mu Baibuli. Naye, mu Baibuli mulimu ebyawandiikibwa ebiwagira enjigiriza ya Tiriniti? Okusobola okuddamu ekibuuzo kino, ka twekenneenye ekyawandiikibwa abo abakkiririza mu Tiriniti kye batera okujuliza.

“KIGAMBO N’ABA KATONDA”

Yokaana 1:1 lugamba bwe luti: “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda.” Mu nnyiriri endala eziri mu ssuula eyo, omutume Yokaana akyoleka bulungi nti “Kigambo” ye Yesu. (Yokaana 1:14) Kyokka, okuva Kigambo bw’ayitibwa Katonda, abamu bagamba nti Kitaffe n’Omwana bateekwa okuba nga bali Katonda omu.

Kijjukire nti ekitundu kya Baibuli omusangibwa ennyiriri ezo, okusookera ddala kyawandiikibwa mu lulimi Oluyonaani. Oluvannyuma abavvuunuzi bavvuunula Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani mu nnimi endala. Kyokka, abavvuunuzi ba Baibuli bangi tebaakozesa bigambo: “Kigambo n’aba Katonda.” Lwaki? Nga basinziira ku kye baali bamanyi ku Luyonaani olwakozesebwa mu kuwandiika Baibuli, abavvuunuzi abo baasalawo okuvvuunula ebigambo “Kigambo n’aba Katonda,” mu ngeri endala. Batya? Weetegereze ebyokulabirako bino: “Kigambo n’aba n’engeri za Katonda.” (A New Translation of the Bible) “Kigambo n’aba katonda.” (The New Testament in an Improved Version) “Kigambo n’aba awali Katonda era ng’alinga Katonda.” (The Transilator’s New Testament) Okusinziira ku nzivuunula zino, Kigambo si ye Katonda. * Wabula, olw’ekifo ekya waggulu ky’alina mu bitonde bya Yakuwa, Kigambo ayogerwako nga “katonda.” Wano ekigambo “katonda” kitegeeza “ow’amaanyi.”

MANYA EBISINGAWO

Abantu abasinga obungi tebamanyi Luyonaani olwakozesebwa mu kuwandiika Baibuli. Kati olwo, osobola otya okumanya ekituufu Yokaana kye yali ategeeza? Lowooza ku kyokulabirako kino: Omusomesa alina ensonga emu gy’annyonnyola abayizi be. Oluvannyuma, buli omu ku bayizi ategeera ensonga eyo mu ngeri ya njawulo. Basobola batya okumanya ekituufu? Bayinza okusaba omusomesa abannyonnyole ekisingawo. Awatali kubuusabuusa, okumanya ebisingawo kisobola okubayamba okutegeera ensonga eyo mu ngeri esingawo. Mu ngeri y’emu, okusobola okutegeera obulungi Yokaana 1:1, olina okwekenneenya Enjiri ya Yokaana okusobola okuyiga ebisingawo ku kifo kya Yesu. Okuyiga ebisingawo ku nsonga eno, kijja kukuyamba okutuuka ku kusalawo okutuufu.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo Yokaana by’ayongera okuwandiika mu ssuula 1, olunyiriri 18: “Tewali eyali alabye ku Katonda [Omuyinza w’Ebintu Byonna] wonna wonna.” Kyokka, abantu baalaba Yesu, Omwana, kubanga Yokaana agamba: “Kigambo [Yesu] n’afuuka omubiri, n’abeera gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye).” (Yokaana 1:14) Kati olwo, Omwana ayinza atya okuba ekitundu kya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna? Ate era Yokaana agamba nti Kigambo ‘yali ne Katonda.’ Omuntu asobola atya okuba n’omuntu ate nga mu kiseera kye kimu ye muntu oyo? Ate era, nga bwe kiragibwa mu Yokaana 17:3, Yesu ayoleka bulungi enjawulo eriwo wakati we ne Kitaawe ow’omu ggulu. Ayita Kitaawe “Katonda omu ow’amazima.” Ate era ng’anaatera okumaliriza okuwandiika Enjiri ye, Yokaana awumbawumbako ensonga ng’agamba: ‘Bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu Kristo Mwana wa Katonda.’ (Yokaana 20:31) Weetegereze nti Yesu tayitibwa Katonda, wabula Mwana wa Katonda. Bino wamu n’ebirala ebiri mu Njiri ya Yokaana biraga engeri gye tusaanidde okutegeeramu Yokaana 1:1. Yesu, Kigambo, ayitibwa “katonda” mu ngeri nti alina ekifo kya waggulu nnyo, kyokka si y’omu ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.

KAKASA ENSONGA

Lowooza nate ku kyokulabirako ky’omusomesa n’abayizi be. Kiteebereze nti abamu bakyalimu akakunkuna wadde ng’omusomesa abannyonnyodde ekisingawo. Kiki kye bandikoze? Bandigenze eri omusomesa omulala ayongere okubannyonnyola ensonga eyo. Singa omusomesa ow’okubiri akakasa nti omusomesa eyasoose kye yannyonnyodde kyabadde kituufu, abayizi abasinga obungi bayinza okuggwaamu akakunkuna. Mu ngeri y’emu, bw’oba nga toli mukakafu ku ekyo Yokaana omuwandiisi wa Baibuli kye yayogera ku kakwate akaliwo wakati wa Yesu ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, oyinza okusoma ebyo ebyawandiikibwa omuwandiisi wa Baibuli omulala okusobola okumanya ebisingawo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Yesu bino Matayo bye yawandiika ebikwata ku nkomerero y’embeera z’ebintu zino: “Eby’olunaku luli n’ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab’omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.” (Matayo 24:36) Ebigambo bino bikakasa bitya nti Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?

Yesu agamba nti Kitaawe amanyi bingi okusinga Omwana. Kyokka, singa Yesu yali kitundu kya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, yandibadde amanyi ebintu bye bimu nga Kitaawe. N’olwekyo, Omwana ne Kitaawe tebasobola kwenkanankana. Kyokka, abamu bajja kugamba nti: ‘Yesu yali mu biti bibiri. Wano ayogera ng’omuntu.’ Ne bwe kyandibadde bwe kityo, ate gwo omwoyo omutukuvu? Bwe guba nti kitundu kya Katonda, lwaki Yesu tagamba nti gumanyi ekyo Kitaawe ky’amanyi?

Bw’oneeyongera okusoma Baibuli, ojja kumanya Ebyawandiikibwa bingi ebyogera ku nsonga eno. Bikakasa amazima agakwata ku, Kitaffe, Omwana, n’omwoyo omutukuvu.​—Zabbuli 90:2; Ebikolwa 7:55; Abakkolosaayi 1:15.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 3 Okumanya amateeka g’olulimi Oluyonaani agakwata ku Yokaana 1:1, laba akatabo Should You Believe in the Trinity? empapula 26-9, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.