Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza

Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza

Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza

ABANTU bangi baagala nnyo omusaalaba era bagussaamu ekitiibwa. Ekitabo The Encyclopædia Britannica kiyita omusaalaba “akabonero akakulu ak’eddiini ey’Ekikristaayo.” Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima tebakozesa musaalaba mu kusinza. Lwaki?

Ensonga emu enkulu eri nti Yesu Kristo teyafiira ku musaalaba. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omusaalaba” kiri ­stau·rosʹ. Kitegeeza “empagi eri obusimba oba enkondo.” Enzivuunula eyitibwa The Companion Bible egamba nti: “[Stau·rosʹ] tekitegeeza mbaawo bbiri ng’olumu lukiikiddwa ku lunnaalwo . . . Mu Luyonaani olwakozesebwa mu [Ndagaano Empya] temuliimu kigambo kyonna ekitegeeza embaawo ebbiri [ng’olumu lukiikiddwa ku lulala].”

Mu byawandiikibwa bingi, abawandiisi ba Baibuli bakozesa ekigambo kirala nga balaga ekintu Yesu kwe yafiira. Baakozesa ekigambo ky’Oluyonaani xyʹlon. (Ebikolwa 5:​30; 10:39; 13:29; Abaggalatiya 3:​13; 1 Peetero 2:​24) Ekigambo kino kitegeeza “olubaawo, oba omuggo, oba omuti.”

Nga kinnyonnyola ensonga lwaki omuti (enkondo) gwakozesebwanga okuttirako abantu, ekitabo ekiyitibwa Das Kreuz und die Kreuzigung (Omusaalaba n’Okukomerera), ekyakubibwa Fulda, kigamba: “Emiti tegyabanga mu buli kifo ekyalinga kirondeddwa okuttiramu abantu ababanga basaliddwa ogw’okufa. N’olwekyo, enkondo yasimbibwanga mu ttaka mu bifo ebyo. Ku nkondo zino, abamenyi b’amateeka kwe baakomererwanga oba kwe baasibibwanga, ng’emikono gyabwe giwanikiddwa, era nga n’emirundi egisinga amagulu gaabwe gasibiddwa oba nga gakomereddwa.”

Kyokka, obukakafu obusingayo obulaga ensonga lwaki Abakristaayo tebakozesa musaalaba, buva mu Kigambo kya Katonda. Omutume Pawulo yagamba: “Kristo yatununula mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” (Abaggalatiya 3:​13) Wano Pawulo ajuliza Ekyamateeka 21:22, 23, ekyogera ku muti so si omusaalaba. Okuva okutta omuntu mu ngeri ng’eyo bwe kyamufuulanga ‘omukolimire,’ tekyandibadde kirungi Abakristaayo okutimba mu maka gaabwe ebifaananyi bya Kristo akomereddwa.

Tewaliiwo bukakafu bulaga nti mu myaka 300 egyasooka nga Kristo amaze okufa, abo abeeyita Abakristaayo baakozesanga omusaalaba mu kusinza. Kyokka, mu kyasa eky’okuna, Empula Konsitantiini eyali omukaafiiri yeegatta ku Bakristaayo bakyewaggula era n’afuula omusaalaba okuba akabonero k’eddiini y’Ekikristaayo. Konsitantiini k’abe nga yalina biruubirirwa ki, omusaalaba tegwalina kakwate konna na Yesu Kristo. Mu butuufu, omusaalaba gwasibuka mu bakaafiiri. New Catholic Encyclopedia egamba bw’eti: “Omusaalaba baagukozesanga nga n’Obukristaayo tebunnabaawo era n’abatali Bakristaayo baagukozesanga.” Ebitabo ebirala bikwataganya omusaalaba n’okusinza ebintu ebyatondebwa era n’obulombolombo bw’ekikaafiiri obukwata ku kwetaba.

Kati olwo lwaki akabonero ako ak’ekikaafiiri kaatandika okukozesebwa? Kirabika, obutakaluubiriza bakaafiiri kufuuka “Bakristaayo.” Wadde kiri kityo, Baibuli evumirira okukozesa ekintu kyonna eky’ekikaafiiri mu kusinza. (2 Abakkolinso 6:​14-​18) Ate era Ebyawandiikibwa bivumirira okusinza ebifaananyi okw’engeri zonna. (Okuva 20:4, 5; 1 Abakkolinso 10:14) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima balina ensonga entuufu, lwaki tebakozesa musaalaba mu kusinza. *

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 5 Okumanya ebisingawo ebikwata ku musaalaba, laba akatabo ­Reasoning From the Scriptures, empapula  89-​93, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.