Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe—Omukolo Oguweesa Katonda Ekitiibwa

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe—Omukolo Oguweesa Katonda Ekitiibwa

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe​Omukolo Oguweesa Katonda Ekitiibwa

ABAKRISTAAYO baalagirwa okukuza Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Omukolo guno era guyitibwa “eky’Ekiro kya Mukama Waffe.” (1 Abakkolinso 11:20) Gulina makulu ki? Ddi era mu ngeri ki gye gusaanidde okukwatibwamu?

Yesu Kristo yatandikawo omukolo guno ku lunaku lw’embaga y’Ekiyudaaya ey’Okuyitako mu 33 C.E. Embaga ey’Okuyitako yakwatibwanga omulundi gumu mu mwaka ku lunaku olw’e 14 mu mwezi gw’Ekiyudaaya ogwa Nisani. Okusobola okumanya ennaku z’omwezi zino we zaabererangawo, Abayudaaya baalindiriranga olunaku mu mwaka essaawa ez’emisana lwe ziba nga zenkanankana n’ez’ekiro, kwe kugamba, essaawa 12 ez’emisana n’ez’ekiro 12. Olunaku omwezi lwe gwasookanga okuboneka ng’olunaku luno luwedde, lwe lwabanga entandikwa ya Nisani. Nga wayiseewo ennaku 14, embaga ey’Okuyitako yakwatibwanga ng’enjuba emaze okugolooba.

Yesu yakwata embaga ey’Okuyitako ng’ali n’abatume be. Oluvannyuma lw’okugamba Yuda Isukalyoti okufuluma, yatandikawo omukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Omukolo guno gwe gwadda mu kifo ky’embaga y’Ekiyudaaya ey’Okuyitako era n’olw’ensonga eyo, gusaanidde okukwatibwa omulundi gumu mu mwaka.

Enjiri ya Matayo egamba bw’eti: “Yesu n’atoola omugaati, ne yeebaza, n’agumenyamu; n’awa abayigirizwa, n’agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange. N’atoola ekikompe, ne yeebaza, n’abawa, ng’agamba nti Munywe ku kino mwenna; kubanga kino gwe musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi olw’okuggyawo ebibi.”​—Matayo 26:26-​28.

Abamu balowooza nti Yesu yafuula omugaati omubiri gwe ate enviinyo n’agifuula omusaayi gwe. Kyokka, Yesu we yaweera abayigirizwa be omugaati guno, omubiri gwe tegwaliko kamogo konna. Ddala Abayigirizwa ba Yesu baali balya mubiri gwe era nga banywa musaayi gwe? Nedda. Singa baali balya mubiri gwe, ekyo kyandibadde kulya muntu, ekikolwa ekimenya etteeka lya Katonda. (Olubereberye 9:​3, 4; Eby’Abaleevi 17:10) ­Okusinziira ku Lukka 22:20, Yesu yagamba: “Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange oguyiika ku lwammwe.” Ekikompe kino kyafuuka “endagaano empya”? Ekyo tekisoboka olw’okuba endagaano kuba kukkiriziganya wakati w’abantu.

N’olwekyo, byombi omugaati n’enviinyo, bubonero. Yesu yakozesa omugaati ogwali gufisseewo ku kijjulo ky’Okuyitako. Omugaati ogwo tegwateekebwamu kizimbulukusa kyonna. (Okuva 12:8) Baibuli etera okukozesa ekizimbulukusa okukiikirira ekibi n’okuvunda. N’olw’ekyo, omugaati gukiikirira omubiri gwa Yesu ogwali gutuukiridde gwe yawaayo nga ssaddaaka. Tegwalina kibi.​—Matayo 16:11, 12; 1 Abakkolinso 5:​6, 7; 1 Peetero 2:​22; 1 Yokaana 2:​1, 2.

Enviinyo ekiikirira omusaayi gwa Yesu. Omusaayi gwa Yesu gusobozesa endagaano empya okussibwa mu nkola. Yesu ­yagamba nti omusaayi gwe gwayiibwa “olw’okuggyawo ­ebibi.” N’olwekyo, abantu basobola okuba abalongoofu mu maaso ga Katonda era basobola okuyingira mu ndagaano empya ne ­Yakuwa. (Abebbulaniya 9:​14; 10:16, 17) Endagaano eno esobozesa Abakristaayo abeesigwa 144,000 okugenda mu ggulu. Nga bali eyo, bajja kuweereza nga bakabaka era bakabona ­okusobozesa abantu bonna okufuna emikisa.​—Olubereberye 22:18; Yeremiya 31:31-​33; 1 Peetero 2:9; Okubikkulirwa 5:​9, 10; 14:​1-3.

Baani abasaanidde okulya n’okunywa ku bubonero buno obw’Ekijjukizo? Abo bokka abali mu ndagaano empya​—abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu​—be basaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nviinyo. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gumanyisa abalinga abo nti balondeddwa okuba bakabaka mu ggulu. (Abaruumi 8:​16) Ate era, bali mu ndagaano y’Obwakabaka ne Yesu.​—Lukka 22:29.

Ate abo abalina essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna? Bagondera ekiragiro kya Yesu ne babeerawo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe, naye babaawo ng’abatunuulizi, tebalyako ku bubonero. Omulundi gumu mu mwaka nga Nisani 14, oluvannyuma lw’enjuba okugwa, Abajulirwa ba Yakuwa bakwata omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe. Wadde nga batono nnyo abagenda mu ggulu, omukolo guno gwa muganyulo nnyo eri Abakristaayo bonna. Kye kiseera buli omu lw’afumiitiriza ku kwagala okw’ekitalo Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu Kristo kwe baatulaga.​—Yokaana 3:​16.