Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Yazaalibwa mu Ddesemba?

Yesu Yazaalibwa mu Ddesemba?

Yesu Yazaalibwa mu Ddesemba?

BAIBULI tetutegeeza ddi Yesu lwe yazaalibwa. Kyokka, etuwa ensonga ezituyamba okutegeera nti teyazaalibwa mu Ddesemba.

Lowooza ku mbeera y’obudde mu Besirekemu mu kiseera Yesu kye yazaalibwamu. Omwezi gw’Abayudaaya oguyitibwa Kisulevu (nga guno gubaawo wakati wa Noovemba ne Ddesemba) gwali mwezi munnyogovu nnyo era nga gwa nkuba. Omwezi ogwali guddirira ogwo gwe gwa Tebesi (ogubaawo wakati wa Ddesemba ne Jjanwali). Omwezi guno gwe gwali gusinga obunnyogovu mu mwaka era ng’ebiseera ebimu ku nsozi kubaako omuzira. Ka tulabe Baibuli ky’eyogera ku mbeera y’obudde mu kitundu ekyo.

Omuwandiisi wa Baibuli Ezera agamba nti Kisulevu gwali mwezi munnyogovu era nga gwa nkuba. Oluvannyuma lw’okugamba nti ekibiina ky’abantu kyali kikuŋŋaanidde e Yerusaalemi mu ‘mwezi ogw’omwenda [Kisulevu] ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi,’ Ezera yalaga nti abantu baali “bakankana . . . olw’enkuba ennyingi.” Embeera y’obudde ey’omu kiseera ekyo eky’omwaka yaleetera n’ekibiina ekyali kikuŋŋaanye okugamba nti: “Bye biro eby’enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru.” (Ezera 10:9, 13; Yeremiya 36:22) Tekyewuunyisa nti mu biseera bya Ddesemba abasumba b’omu kitundu ekyo baabeeranga mu mayumba gaabwe ekiro awamu n’ebisibo byabwe!

Kyokka, Baibuli eraga nti abasumba baali bweru nga balabirira ebisibo byabwe ekiro ekyo Yesu kye yazaalibwamu. Mu butuufu, omuwandiisi wa Baibuli Lukka agamba nti mu kiseera ekyo, abasumba “baatulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo” okumpi ne Besirekemu. (Lukka 2:8-12) Weetegereze nti abasumba baatuulanga bweru, so si nti baali batambulira bweru obudde obw’emisana. Baali bweru n’ebisibo byabwe ekiro. Eky’okugamba nti abasumba baali bweru ekiro, kikwatagana n’embeera y’obudde obunnyogovu era obw’enkuba ebaawo mu Besirekemu mu kiseera kya Ddesemba? Nedda. N’olwekyo, embeera eyaliwo nga Yesu azaalibwa eraga nti teyazaalibwa mu Ddesemba. *

Ekigambo kya Katonda kitubuulira ekiseera kyennyini Yesu kye yafiiramu, naye kyogera kitono nnyo ku kiseera kye yazaalibwamu. Kino kitujjukiza ebigambo bya Kabaka Sulemaani ebigamba nti: “Erinnya eddungi lisinga amafuta ag’omugavu ag’omuwendo omungi, n’olunaku olw’okufiiramu lusinga olunaku olw’okuzaalirwamu.” (Omubuulizi 7:1) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Baibuli eyogera ku bintu bingi ebikwata ku buweereza bwa Yesu n’okufa kwe, kyokka n’eyogera bitono nnyo ku kuzaalibwa kwe.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 1 Okumanya ebisingawo, laba akatabo Reasoning From the Scriptures empapula 176-9, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 221]

Ekiseera Yesu kye yazaalibwamu, abasumba baali ku ttale ekiro n’ebisibo byabwe