Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 3

Yagala Abo Katonda b’Ayagala

Yagala Abo Katonda b’Ayagala

“Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.”​—ENGERO 13:20.

1-3. (a) Bayibuli eyogera kintu ki ekituufu? (b) Tuyinza tutya okulonda emikwano eginaatuzimba?

ABANTU bayinza okugeraageranyizibwa ku ppamba. Nga bw’onnyika ppamba n’anywa ekyo ky’oba omunnyiseemu, n’abantu bwe tutyo bwe tuli. Twanguyirwa nnyo okukoppa endowooza, emitindo, n’engeri z’abo be tukolagana ennyo nabo.

2 Bayibuli bw’egamba nti, “omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi, naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana,” eba ntuufu. (Engero 13:20) Ekitabo ekimu kinnyonnyola bwe kiti ekyawandiikibwa ekyo: “Okutambula n’omuntu kitegeeza nti omwagala era nti olina enkolagana ey’oku lusegere naye.” Ddala si kituufu nti tutera okukoppa abo be twagala ennyo? Mu butuufu, abo be twagala ennyo basobola okutuleetera okuba n’empisa ennungi oba embi.

3 Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, kitwetaagisa okukola emikwano n’abo abanaatuzimba. Kino tuyinza kukikola tutya? Nga twagala abo Katonda b’ayagala, era nga mikwano gye be tufuula mikwano gyaffe. Kirowoozeeko. Abo abakola Yakuwa by’ayagala si be twandifudde mikwano gyaffe? Kati ka tulabe abo Katonda b’afuula mikwano gye. Bwe tunaategeera obulungi endowooza ya Yakuwa, tujja kusobola okulonda emikwano emirungi.

ABO KATONDA B’AYAGALA

4. Lwaki Yakuwa wa ddembe obutafuula buli muntu mukwano gwe, era lwaki yayita Ibulayimu ‘mukwano gwe’?

4 Yakuwa tafuula buli muntu mukwano gwe. Si wa ddembe okukola ekyo? Wa ddembe, kubanga ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, era ng’okuba mukwano gwe ye nkizo esinga zonna. Kati olwo baani Yakuwa b’afuula mikwano gye? Abo abamwesiga era abamukkiririzaamu ennyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Ibulayimu, omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi. Tewali kisinga kugezesa kukkiriza kwa muzadde ng’okumusaba okuwaayo omwana we nga ssaddaaka. * Kyokka, Ibulayimu “yalinga ddala awaddeyo Isaaka,” nga mukakafu nti “Katonda yali asobola okumuzuukiza okuva mu bafu.” (Abebbulaniya 11:17-19) Olw’okuba Ibulayimu yayoleka okukkiriza ng’okwo n’obuwulize, Yakuwa yamuyita ‘mukwano gwe.’​—Isaaya 41:8; Yakobo 2:21-23.

5. Yakuwa atwala atya abo abamugondera?

5 Obuwulize bwaffe Yakuwa abutwala nga bwa muwendo nnyo. Ayagala nnyo abo abeesigwa gy’ali. (Soma 2 Samwiri 22:26.) Nga bwe twalaba mu ssuula esooka eya katabo kano, Yakuwa asanyukira nnyo abo abamugondera olw’okuba bamwagala. Engero 3:32 lugamba nti “abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” Abo abakola by’ayagala, Yakuwa abayita okuba abagenyi mu “weema” ye. Baanirizibwa okumusinza n’okumutuukirira mu kusaba ekiseera kyonna.​—Zabbuli 15:1-5.

6. Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yesu, era Yakuwa atwala atya abo abaagala Omwana we?

6 Yakuwa ayagala nnyo abo abaagala Yesu, Omwana we eyazaalibwa omu yekka. Yesu yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ng’anjagala, ajja kukolera ku kigambo kyange, era Kitange ajja kumwagala, era tujja kujja gy’ali tubeere naye.” (Yokaana 14:23) Tuyinza tutya okukiraga nti twagala Yesu? Kino tukikola nga tukwata ebiragiro bye, nga mw’otwalidde n’ekyo eky’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20; Yokaana 14:15, 21) Ate era tulaga nti twagala Yesu nga ‘tutambulira mu bigere bye,’ kwe kugamba, nga tukola kyonna ekisoboka okumukoppa mu bigambo ne mu bikolwa. (1 Peetero 2:21) Yakuwa asanyukira nnyo abo abafuba okukoppa Omwana we olw’okuba bamwagala.

7. Lwaki kya magezi okufuula mikwano gya Yakuwa mikwano gyaffe?

7 Ezimu ku ngeri ennungi Yakuwa z’anoonya mu mikwano gye kwe kukkiriza, obwesigwa, obuwulize, n’okwagala Yesu awamu n’emitindo gye. Kiba kirungi buli omu ku ffe ne yeebuuza nti: ‘Mikwano gyange egy’oku lusegere girina engeri ng’ezo? Mikwano gya Yakuwa gye nfudde mikwano gyange?’ Kiba kya magezi okufuna emikwano ng’egyo. Abantu abakulaakulanya engeri z’Ekikristaayo era ababuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka basobola okutuzimba era ne batuyamba okweyongera okukola ebyo ebisanyusa Katonda.​—Laba akasanduuko “ Ow’Omukwano Omulungi Asaanidde Kuba Muntu wa Ngeri Ki?” akali ku lupapula 29.

OKUYIGIRA KU BANTU ABOOGERWAKO MU BAYIBULI

8. Kiki ekikusanyusa ku mukwano ogwaliwo wakati wa (a) Nawomi ne Luusi? (b) Abebbulaniya abasatu? (c) Omutume Pawulo ne Timoseewo?

8 Bayibuli eyogera ku bantu bangi abaaganyulwa mu kulonda emikwano emirungi. Tusoma ku mukwano ogwaliwo wakati wa Nawomi ne muka mwana we Luusi, wakati w’Abebbulaniya abasatu abaali e Babulooni, n’ogwo ogwaliwo wakati wa omutume Pawulo ne Timoseewo. (Luusi 1:16; Danyeri 3:17, 18; 1 Abakkolinso 4:17; Abafiripi 2:20-22) Naye ka twogere ku mukwano ogwaliwo wakati wa Dawudi ne Yonasaani.

9, 10. Biki ebyaleetera Dawudi ne Yonasaani okwagalana ennyo?

9 Bayibuli egamba nti Dawudi bwe yamala okutta Goliyaasi, “Yonasaani ne Dawudi ne bafuuka ba mukwano nnyo, Yonasaani n’atandika okumwagala nga bwe yali yeeyagala.” (1 Samwiri 18:1) Eyo ye yali entandikwa y’omukwano gwabwe ogw’amaanyi, era wadde baali tebenkana myaka, beeyongera okuba ab’omukwano okutuukira ddala mu kiseera Yonasaani lwe yafiira mu lutalo. * (2 Samwiri 1:26) Kiki ekyabaleetera okwagalana ennyo bwe batyo?

10 Ekyaleetera Dawudi ne Yonasaani okwagalana ennyo, kwe kuba nti bombi baali baagala nnyo Katonda era nga baagala okusigala nga beesigwa gy’ali. Buli omu ku bo yalina engeri ennungi ezaasikiriza munne. Awatali kubuusabuusa obuvumu n’obumalirivu Dawudi bye yayoleka ng’alwanirira erinnya lya Yakuwa byasikiriza nnyo Yonasaani. Dawudi naye yali ayagala nnyo Yonasaani eyali amusinga obukulu, olw’okuba yawagira nnyo enteekateeka za Yakuwa era ne yeerekereza n’akulembeza ebyo Dawudi bye yali ayagala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo Dawudi bwe yali omunakuwavu ennyo, mu kiseera we yabeerera mu ddungu ng’adduse taata wa Yonasaani, Kabaka Sawulo eyali omubi. Olw’okuba Yonasaani yali ayagala nnyo Dawudi, ‘yagenda eri Dawudi n’amuzzaamu amaanyi yeeyongere okwesiga Yakuwa.’ (1 Samwiri 23:16) Teeberezaamu Dawudi bwe yawulira nga mukwano gwe nfiirabulago aze okumuzzaamu amaanyi! *

11. Kiki kye tuyigira ku mukwano ogwaliwo wakati wa Yonasaani ne Dawudi?

11 Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yonasaani ne Dawudi? Eky’okuyiga ekisingira ddala obukulu kiri nti ab’omukwano balina okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Bwe tukolagana n’abo be tufaanaganya enzikiriza n’empisa, era abaagala okusigala nga beesigwa eri Katonda, tusobola okwogera ku bintu ebituzzaamu amaanyi era ebituzimba. (Soma Abaruumi 1:11, 12.) Emikwano ng’egyo egifaayo ku bintu eby’omwoyo, tusobola okugifuna mu kibiina Ekikristaayo. Naye kino kitegeeza nti buli omu ajja mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka wandimufudde mukwano gwo? Nedda.

OKULONDA EMIKWANO EGY’OKU LUSEGERE

12, 13. (a) Lwaki tulina okwegendereza nga tulonda emikwano wadde ne mu kibiina Ekikristaayo? (b) Kizibu ki ekyali mu bibiina eby’omu kyasa ekyasooka, era kino kyaleetera Pawulo kuwa kulabula ki okw’amaanyi?

12 Ne mu kibiina mmwennyini, tulina okuba abeegendereza okusobola okulonda emikwano eginaatuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Kino kyanditwewuunyisizza? N’akatono. Abamu ku Bakristaayo mu kibiina bayinza okulwawo okukula mu by’omwoyo, ng’ebibala ebimu ku muti bwe biyinza okulwawo okwengera. Bwe kityo, mu bibiina byonna Abakristaayo tebaba ku kigero kye kimu mu by’omwoyo. (Abebbulaniya 5:12–6:3) N’olwekyo, twoleka obugumiikiriza n’okwagala eri abapya n’abo abakyali abato mu by’omwoyo olw’okuba twagala okubayamba okukulaakulana.​—Abaruumi 14:1; 15:1.

13 Oluusi, mu kibiina muyinza okubaamu embeera eyinza okutwetaagisa okuba abeegendereza nga tulonda emikwano. Abamu mu kibiina bayinza okuba nga tebeeyisa bulungi, ate abalala bayinza okuba nga beemulugunya nnyo. Ebibiina eby’omu kyasa ekyasooka nabyo byalina ekizibu ekifaananako bwe kityo. Wadde ng’abasinga obungi mu kibiina baali beesigwa, abamu beeyisanga mu ngeri etasaana. Olw’okuba abamu mu kibiina ky’e Kkolinso tebanywerera ku njigiriza za Kikristaayo, omutume Pawulo yabalabula ng’agamba nti: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:12, 33) Pawulo yalabula Timoseewo nti ne mu kibiina Ekikristaayo musobola okubaamu abateeyisa bulungi. Timoseewo yakubirizibwa obutafuula bantu ng’abo mikwano gye egy’oku lusegere.​—Soma 2 Timoseewo 2:20-22.

14. Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu kulabula kwa Pawulo okukwata ku kulonda emikwano?

14 Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu kulabula kwa Pawulo? Nga twewala okukola omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu yenna ayinza okwonoona empisa zaffe​—k’abe ng’ali mu kibiina oba wabweru waakyo. (2 Abassessalonika 3:6, 7, 14) Tuteekwa okwekuuma mu by’omwoyo. Kijjukire nti okufaananako ppamba anywa buli kimu ky’aba annyikiddwamu, naffe tukoppa endowooza n’empisa za mikwano gyaffe egy’oku lusegere. Nga bwe tutasobola kunnyika ppamba mu mazzi agatali mayonjo ne tumusuubira okujjula amazzi amayonjo, mu ngeri y’emu tetusobola kukolagana n’abo abalina empisa embi ne tusuubira okuba n’empisa ennungi.​—1 Abakkolinso 5:6.

Osobola okufuna emikwano emirungi mu kibiina Ekikristaayo

15. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okufuna mu kibiina emikwano egifaayo ku bintu eby’omwoyo?

15 Kyokka eky’essanyu kiri nti tusobola okufuna emikwano emirungi mu kibiina Ekikristaayo. (Zabbuli 133:1) Osobola otya okufuna emikwano egifaayo ku bintu eby’omwoyo? Nga weeyisa mu ngeri esanyusa Katonda era ng’okulaakulanya engeri ennungi. Bw’onookola bw’otyo, abalala abeeyisa nga ggwe bajja kwagala okufuuka mikwano gyo. Ate era, kiyinza okukwetaagisa ggwe kennyini okubaako ne ky’okolawo okusobola okufuna emikwano. (Laba akasanduuko, “ Engeri Gye Twafunamu Emikwano Emirungi,” akali ku lupapula 30.) Noonya abo abalina engeri z’oyagala okuba nazo. Kolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli okutukubiriza ‘okugaziwa mu mitima gyaffe,’ ng’okola emikwano ne bakkiriza bano ka babe ba langi ki, oba ggwanga ki. (2 Abakkolinso 6:13; soma 1 Peetero 2:17.) Tolonda abo bokka ab’emyaka gyo. Kijjukire nti Yonasaani yali asingira wala Dawudi obukulu. Abo abakuze mu myaka baba n’obumanyirivu n’amagezi, era basobola okuganyula ennyo mikwano gyabwe.

EBIZIBU BWE BIBALUKAWO

16, 17. Singa mukkiriza munnaffe atunyiiza, lwaki tetwandyeyawudde ku kibiina?

16 Oluusi ebizibu biyinza okubalukawo olw’okuba mu kibiina Ekikristaayo mulimu abantu abalina engeri ez’enjawulo era nga baakulira mu mbeera za njawulo. Mukkiriza munnaffe ayinza okwogera oba okukola ekintu ne kitunyiiza. (Engero 12:18) Ebiseera ebimu ebizibu biyinza okuva ku butategeeragana oba ku ngeri zaffe n’endowooza ezaawukana ku z’abalala. Ebizibu ng’ebyo binaatwesittaza ne tutuuka n’okweyawula ku kibiina? Singa tuba twagala Yakuwa n’abo b’ayagala, tetujja kukola bwe tutyo.

17 Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye mutonzi waffe era nga y’abeesaawo obulamu bwaffe, tusaanidde okumwagala n’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Okubikkulirwa 4:11) Era, tusaanidde okuwagira ekibiina ky’akozesa. (Abebbulaniya 13:17) N’olwekyo, singa mukkiriza munnaffe atunyiiza, tetujja kweyawula ku kibiina kubanga Yakuwa si y’aba atunyiizizza. Olw’okuba twagala nnyo Yakuwa, tetuyinza kumuleka wadde okwabulira abantu be!​—Soma Zabbuli 119:165.

18. (a) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuleetawo emirembe mu kibiina? (b) Tuyinza kufuna miganyulo ki singa tusonyiwa oyo aba atunyiizizza?

18 Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kutuleetera okufuba okuleetawo emirembe mu kibiina. Yakuwa akimanyi nti abaweereza be tebatuukiridde, era naffe tetusaanidde kulowooza nti batuukiridde. Okwagala kutuleetera okubuusa amaaso ensobi z’abalala entonotono, nga tukijjukira nti ffenna tetutuukiridde era tusobya. (Engero 17:9; 1 Peetero 4:8) Okwagala kutuyamba okweyongera ‘okusonyiwagana.’ (Abakkolosaayi 3:13) Oluusi si kyangu kukolera ku kubuulirira okwo. Bwe tumalira ebirowoozo byaffe ku nsobi z’abalala, tuyinza okusiba ekiruyi, oboolyawo nga tulowooza nti tubonereza oyo aba atunyiizizza. Kyokka ekituufu kiri nti okusiba ekiruyi kya kabi nnyo gye tuli. Bwe tusonyiwa oyo aba atunyiizizza, tuganyulwa nnyo. (Lukka 17:3, 4) Tufuna emirembe mu mutima, ekibiina kibaamu emirembe, era n’ekisinga byonna, enkolagana yaffe ne Yakuwa esigala nga nnungi.​—Matayo 6:14, 15; Abaruumi 14:19.

DDI LWE TUYINZA OKULEKERA AWO OKUKOLAGANA N’OMUNTU?

19. Mbeera ki eziyinza okutuleetera okulekera awo okukolagana n’oyo abadde mukkiriza munnaffe?

19 Oluusi tugambibwa okulekera awo okukolagana n’oyo abadde mukkiriza munnaffe. Kino kibaawo omuntu bw’agobebwa mu kibiina oluvannyuma lw’okumenya etteeka lya Katonda n’agaana okwenenya, oba bw’atandika okuyigiriza eby’obulimba oba ne yeeyawula ku kibiina. Ekigambo kya Katonda kitugamba okulekera awo ‘okukolagana’ n’abantu ng’abo. * (Soma 1 Abakkolinso 5:11-13; 2 Yokaana 9-11) Kiyinza okutubeerera ekizibu ennyo okulekera awo okukolagana n’omuntu oboolyawo abadde mukwano gwaffe oba oyo gwe tulinako oluganda. Tunaaba bamalirivu okunywerera ku kituufu, bwe tutyo ne tukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa era nti tugondera amateeka ge mu bujjuvu? Kijjukire nti obuwulize bwaffe n’obwesigwa bwaffe Yakuwa abitwala nga bya muwendo nnyo.

20, 21. (a) Lwaki okugoba aboonoonyi abateenenya nteekateeka ya kwagala? (b) Lwaki kikulu nnyo okulonda mikwano gyaffe n’amagezi?

20 Okugoba abo abateenenya nteekateeka ya Yakuwa eyoleka okwagala. Mu ngeri ki? Okugoba omwonoonyi agaanye okwenenya kiraga okwagala kwe tulina eri erinnya lya Yakuwa ettukuvu n’emisingi gye. (1 Peetero 1:15, 16) Okugoba omuntu ng’oyo mu kibiina kiba kya bukuumi eri ekibiina. Ab’oluganda abeesigwa bakuumibwa ne batatwalirizibwa mpisa mbi ez’abo aboonoona mu bugenderevu, era ekyo kibasobozesa okweyongera okusinza Yakuwa nga bakimanyi nti ekibiina kifo kya bukuumi okuva eri ensi eno embi. (1 Abakkolinso 5:7; Abebbulaniya 12:15, 16) Okukangavvula okwo okw’amaanyi kulaga okwagala eri oyo akoze ekibi. Kiyinzika okuba ng’okukangavvula okwo kw’abadde yeetaaga okusobola okukitegeera nti asaanidde okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okudda eri Yakuwa.​—Abebbulaniya 12:11.

21 Tusaanidde okukijjukira nti mikwano gyaffe egy’oku lusegere girina kinene nnyo kye gisobola okutukolako. N’olwekyo, kikulu nnyo okulonda mikwano gyaffe n’amagezi. Bwe tufuula mikwano gya Yakuwa mikwano gyaffe, ne twagala abo Katonda b’ayagala, tujja kuba n’emikwano egisingayo obulungi. Ebyo bye tunaabayigirako bijja kutuyamba okweyongera okuba abamalirivu okusanyusa Yakuwa.

^ lup. 4 Yakuwa bwe yasaba Ibulayimu aweeyo omwana we, yali alaga ekyo ye kennyini kye yali agenda okukola​—okuwaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka. (Yokaana 3:16) Ibulayimu bwe yali anaatera okuwaayo omwana we, Yakuwa yamuwa endiga era n’agiwaayo nga ssaddaaka mu kifo kya Isaaka.​—Olubereberye 22:1, 2, 9-13.

^ lup. 9 Dawudi we yattira Goliyaasi yali muvubuka​—nga “mwana bwana”—​ate Yonasaani we yafiira, Dawudi yali aweza emyaka nga 30. (1 Samwiri 17:33; 31:2; 2 Samwiri 5:4) Yonasaani yalina emyaka nga 60 we yafiira, era kirabika yali asinga Dawudi emyaka nga 30.

^ lup. 10 Nga bwe kiragibwa mu 1 Samwiri 23:17, Yonasaani yayogera ebintu bina ng’azzaamu Dawudi amaanyi: (1) Yakubiriza Dawudi obutatya. (2) Yakakasa Dawudi nti Sawulo teyandisobodde kumutta. (3) Yajjukiza Dawudi nti yandifuuse Kabaka, nga Katonda bwe yali asuubizza. (4) Yeeyama okweyongera okunyweza omukwano gwe ne Dawudi.

^ lup. 19 Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu oyo agobeddwa mu kibiina oba oyo akyeyawuddeko, laba Ebyongerezeddwako, ebiri ku lupapula 207-209.