Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 8

Katonda Ayagala Abantu Abayonjo

Katonda Ayagala Abantu Abayonjo

“Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu.”​—ZABBULI 18:26.

1-3. (a) Lwaki maama afuba okulaba nti katabani ke akato kaba kayonjo era nga kalabika bulungi? (b) Lwaki Yakuwa Katonda ayagala abamusinza okuba abayonjo, era kiki ekitukubiriza okubeera abayonjo?

MAAMA ateekateeka katabani ke nga kalinako gye kalaga. Akakasa nti kanaabye era nti engoye zaako nnyonjo era zirabika bulungi. Maama akimanyi nti omwana oyo okusobola okubeera omulamu obulungi, alina kuba nga muyonjo. Era akimanyi bulungi nti endabika ya katabani ke erina ekifaananyi ky’ewa ku bazadde baako. Eyinza okuwa ekifaananyi ekirungi oba ekibi ku bazadde.

2 Ne Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, ayagala abantu be babeere bayonjo. Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa kigamba nti: “Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu.” * (Zabbuli 18:26) Yakuwa atwagala; akimanyi nti okubeera abayonjo kya muganyulo nnyo gye tuli. Era atusuubira okumuwaako ekifaananyi ekirungi. Mazima ddala, bwe tuba abayonjo era ab’empisa ennungi tetujja kuleeta kivume ku linnya lya Yakuwa ettukuvu wabula tujja kuliweesa ekitiibwa.​—Ezeekyeri 36:22; soma 1 Peetero 2:12.

3 Okukimanya nti Katonda ayagala abantu abayonjo kitukubiriza okuba abayonjo. Olw’okuba tumwagala, twagala engeri gye tweyisaamu emuweese ekitiibwa. Era twagala okusigala mu kwagala kwe. Kati ka tulabe ensonga lwaki twetaaga okuba abayonjo, ekizingirwa mu kuba abayonjo, era n’engeri gye tusobola okubeera abayonjo. Kino kijja kutuyamba okulaba obanga waliwo we twetaaga okulongoosaamu.

LWAKI TWETAAGA OKUBA ABAYONJO?

4, 5. (a) Ensonga esinga obukulu lwaki tulina okuba abayonjo y’eruwa? (b) Obuyonjo bwa Yakuwa bweyolekera butya mu bitonde?

4 Tulina okuba abayonjo kubanga Katonda gwe tusinza muyonjo. (Soma Eby’Abaleevi 11:44, 45.) Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi era Ekigambo kye kitukubiriza ‘okukoppa Katonda.’​—Abeefeso 5:1.

5 Obuyonjo bwa Yakuwa, okufaananako engeri ze endala nnyingi n’amakubo ge, bweyolekera mu bitonde bye. (Abaruumi 1:20) Ensi yakolebwa okubeera amaka g’abantu amayonjo. Yakuwa yassaawo enkola mu butonde esobola okulongoosa empewo yaffe n’amazzi gaffe. Waliwo obuwuka bwe tutasobola kulaba na maaso gaffe obulongoosa kazambi n’ataba wa mutawaana. Bannasayansi bakozesezza obumu ku buwuka obwo okuyonja ebifo awaba wayiise amafuta n’okuyonja obutonde obuba bwonooneddwa abantu abeefaako bokka era ab’omulugube. Kya lwatu obuyonjo kintu kikulu nnyo eri oyo ‘Eyakola ensi.’ (Yeremiya 10:12) Era naffe tusaanidde okubutwala ng’ekintu ekikulu ennyo.

6, 7. Amateeka ga Musa gaakiggumiza gatya nti abo abaali basinza Yakuwa kyali kibeetaagisa okuba abayonjo?

6 Ensonga endala lwaki twetaaga okuba abayonjo, kwe kuba nti Yakuwa, Omufuzi ow’Obutonde Bwonna, ayagala abamusinza babe bayonjo. Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri, obuyonjo n’okusinza byagenderanga wamu. Amateeka gaakirambika bulungi nti ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi, kabona omukulu yalina okunaaba emirundi ebiri. (Eby’Abaleevi 16:4, 23, 24) Bakabona baalinanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere nga tebannawaayo ssaddaaka eri Yakuwa. (Okuva 30:17-21; 2 Ebyomumirembe 4:6) Amateeka gaalaga nti waaliwo ebintu nga 70 ebyaleeteranga omuntu obutaba muyonjo mu mubiri oba obutaba mulongoofu okumala akaseera. Mu kiseera Omuyisirayiri we yabeereranga nga si muyonjo, yali tayinza kwenyigira mu kusinza​—singa yakwenyigirangamu, yali asobola n’okuttibwa. (Eby’Abaleevi 15:31) Omuntu yenna eyagaananga okukola ebyali bimwetaagisa okusobola okubeera omulongoofu, nga mw’otwalidde okunaaba n’okwoza engoye ze, ‘yattibwanga n’aggibwa mu kibiina.’​—Okubala 19:17-20.

7 Wadde nga tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, gatusobozesa okutegeera endowooza Katonda gy’alina ku buyonjo. Mu butuufu, Amateeka gaakiggumiza nti abo abaali basinza Katonda kyali kibeetaagisa okuba abayonjo. Yakuwa takyukanga. (Malaki 3:6) Tayinza kukkiriza kusinza kwaffe okuggyako nga ‘kulongoofu era nga tekuliiko bbala.’ (Yakobo 1:27) N’olwekyo, twetaaga okumanya ky’atwetaagisa ku nsonga eno.

EKIZINGIRWA MU KUBA ABAYONJO MU MAASO GA KATONDA

8. Mu ngeri ki Yakuwa mw’atusuubira okuba abayonjo?

8 Okusinziira ku Bayibuli, eky’okuba abayonjo tekikoma ku kuba bayonjo mu mubiri. Okuba abayonjo kikwata ku mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Yakuwa atusuubira okuba abayonjo mu ngeri nnya enkulu​—mu by’omwoyo, mu mpisa, mu birowoozo, ne mu mubiri. Ka twekenneenye ebyo ebizingirwa mu buli emu ku ngeri zino.

9, 10. Kitegeeza ki okuba abayonjo mu by’omwoyo, era kiki Abakristaayo ab’amazima kye beewala?

9 Obuyonjo mu by’omwoyo. Okuba abayonjo mu by’omwoyo kitegeeza obutagattika kusinza okw’amazima n’okw’obulimba. Abayisirayiri bwe baava mu Babulooni okuddayo e Yerusaalemi, baalina okugoberera okubuulirira kuno: “Mufulume, temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu! . . . mwekuume nga muli balongoofu.” (Isaaya 52:11) Abayisirayiri baali baddayo ku butaka okusobola okuzzaawo okusinza okw’amazima. Okusinza okwo kwali kulina okuba okuyonjo​—nga tekwonooneddwa njigiriza, oba empisa ezitaweesa Katonda Kitiibwa ebyali bisibuka mu ddiini z’e Babulooni.

10 Leero, ffe ng’Abakristaayo ab’amazima tuteekwa okuba abeegendereza tuleme kwonoonebwa kusinza kwa bulimba. (Soma 1 Abakkolinso 10:21.) Kitwetaagisa okwegendereza ennyo ku nsonga eno, kubanga twetooloddwa eddiini ez’obulimba. Mu nsi nnyingi, emikolo, obulombolombo n’ebintu ebirala ebitali bimu ebikolebwa, bikwataganyizibwa n’enjigiriza z’eddiini ez’obulimba, gamba ng’enjigiriza egamba nti waliwo ekintu ekiwonawo ng’omuntu afudde. (Omubuulizi 9:5, 6, 10) Abakristaayo ab’amazima beewala obulombolombo obulina akakwate n’enzikiriza z’eddiini ez’obulimba. * Tetulina kukkiriza balala kutupikiriza kwekkiriranya ku bikwata ku mitindo gya Bayibuli egy’okusinza okuyonjo.​—Ebikolwa 5:29.

11. Obuyonjo mu mpisa buzingiramu ki, era lwaki kikulu nnyo okubeera abayonjo mu mpisa?

11 Obuyonjo mu mpisa. Okuba abayonjo mu mpisa kizingiramu okwewala obwenzi n’obugwenyufu obwa buli ngeri. (Soma Abeefeso 5:5.) Kikulu nnyo okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Nga bwe tujja okulaba mu ssuula eddako ey’akatabo kano, okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tuteekwa ‘okuddukanga ebikolwa eby’obugwenyufu.’ Abenyigira mu bikolwa ebyo abateenenya “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10, 18) Mu maaso ga Katonda, abantu abalinga abo ‘si balongoofu era boonoonefu nnyo.’ Singa tebalekayo mpisa zitali nnongoofu, “omugabo gwabwe guliba . . . okufa okw’okubiri.”​—Okubikkulirwa 21:8.

12, 13. Kakwate ki akaliwo wakati w’ebirowoozo n’ebikolwa, era kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli bayonjo mu birowoozo?

12 Obuyonjo mu birowoozo. Ebirowoozo bye bireetera omuntu okubaako ky’akola. Singa tuleka ebirowoozo ebibi ne bisimba amakanda mu mitima gyaffe, tulwa ddaaki ne tukola ebintu ebyo ebibi. (Matayo 5:28; 15:18-20) Naye singa omutima gwaffe tugujjuza ebintu ebirongoofu era ebiyonjo, tusobola okweyongera okuba abayonjo mu mpisa. (Soma Abafiripi 4:8.) Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli bayonjo mu birowoozo? Ekimu ekiyinza okutuyamba kwe kwewala eby’okwesanyusaamu ebisobola okwonoona ebirowoozo byaffe. * Ekirala kwe kujjuza ebirowoozo byaffe ebintu ebirungi nga tusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku.​—Zabbuli 19:8, 9.

13 Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, kikulu nnyo okuba abayonjo mu by’omwoyo, mu mpisa, ne mu birowoozo. Ebintu bino binnyonnyolebwa mu ngeri esingawo mu ssuula endala ez’akatabo kano. Kati ka twekenneenye engeri ey’okuna​—obuyonjo mu mubiri.

TUSOBOLA TUTYA OKUBEERA ABAYONJO MU MUBIRI?

14. Lwaki obuyonjo mu mubiri si nsonga ekwata ku muntu kinnoomu?

14 Obuyonjo mu mubiri buzingiramu okuyonja emibiri gyaffe ne we tubeera. Obuyonjo obw’engeri eno nsonga ekwata ku muntu kinnoomu era ng’abalala tekibakwatako? Si bwe kiri eri abo abasinza Yakuwa. Nga bwe tumaze okukiraba, ensonga ey’okuba abayonjo mu mubiri Yakuwa agitwala nga nkulu nnyo olw’okuba ye kennyini akwatibwako, ate era naffe tuganyulwa bwe tubeera abayonjo. Lowooza ku kyokulabirako akyaweereddwa ku ntandikwa. Bw’olaba omwana omucaafu, tekikuwa kifaananyi kibi ku bazadde be? Tetwandyagadde ndabika yaffe oba ebintu bye tukola kuleeta kivume ku Kitaffe ow’omu ggulu oba okuviirako abantu obutawuliriza bubaka bwe tubuulira. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa; naye mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda.” (2 Abakkolinso 6:3, 4) Kati olwo, tusobola tutya okuba abayonjo mu mubiri?

15, 16. Okuba omuyonjo kizingiramu ki, era engoye zaffe zandibadde zitya?

15 Obuyonjo n’endabika yaffe. Wadde empisa zaawukana mu buli nsi, abasinga tusobola okufuna amazzi agamala ne ssabbuuni ne tusobola okunaaba buli lunaku era n’okukakasa nti ffe kennyini awamu n’abaana baffe tuli bayonjo. Okuba abayonjo kizingiramu okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni nga tetunnalya oba okukwata ku ky’okulya, oluvannyuma lw’okukozesa kabuyonjo, era n’oluvannyuma lw’okulongoosa omwana oba okukyusa nnapi ye. Okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni kiyinza okutuyamba okuziyiza endwadde era kitaasa obulamu. Kiyinza okuziyiza obuwuka obuleeta obulwadde bw’ekiddukano okusaasaana. Mu nsi omutali bantu bangi bakozesa kabuyonjo ez’amazzi, oboolyawo obubi bayinza okubuziika nga bwe kyakolebwanga mu Isirayiri ey’edda.​—Ekyamateeka 23:12, 13.

16 Engoye zaffe nazo okusobola okuba ennyonjo era n’okulabika obulungi, zirina okwozebwanga. Engoye z’Omukristaayo tezeetaaga kuba za bbeeyi oba okuba ku mulembe, naye ziteekwa okuba nga zirabika bulungi, nga nnyonjo, era nga zisaanira. (Soma 1 Timoseewo 2:9, 10.) Ka tube nga tubeera mu nsi ki, twagala endabika yaffe ‘erungiye okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda.’​—Tito 2:10.

17. Lwaki amaka gaffe n’ebintu byaffe bisaanidde okuba ebiyonjo era nga birabika bulungi?

17 Amaka gaffe n’ebintu byaffe. Amaka gaffe gayinza obutaba ga mulembe nnyo, naye gasaanidde okuba amayonjo era nga galabika bulungi. Mu ngeri y’emu, bwe tuba n’emmotoka, akagaali oba ppikipiki bye tukozesa okugenda mu nkuŋŋaana ne mu kubuulira, tusaanidde okukola kyonna kye tusobola okulaba nti biyonjo. Ka tuleme kukyerabira nti amaka gaffe n’ebintu byaffe bwe biba ebiyonjo biwa obujulirwa. Tulina okukijjukira nti tuyigiriza abantu nti Yakuwa Katonda muyonjo, era nti ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi,’ era nti mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bwe bujja kufuula ensi okuba ekifo ekirabika obulungi ennyo. (Okubikkulirwa 11:18; Lukka 23:43) Mu butuufu, twagala endabika y’amaka gaffe n’ebintu byaffe okulaga abalala nti mu kiseera kino tufuba okuba abayonjo, era nti ne mu nsi empya tujja kuba bayonjo.

Obuyonjo mu mubiri buzingiramu okukuuma emibiri gyaffe n’ebintu byaffe nga biyonjo

18. Tusobola tutya okulaga nti Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka tukitwala nga kya muwendo?

18 Ekifo gye tusinziza. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza okussa ekitiibwa mu Kizimbe kyaffe eky’Obwakabaka, ekifo mwe tusinzizza Katonda waffe. Abapya bwe bajja mu Kizimbe ky’Obwakabaka, twagala bafune ekifaananyi ekirungi. Ekizimbe ky’Obwakabaka okusobola okulabika obulungi, kitwetaagisa okukiddaabiriza n’okukiyonja obutayosa. Tulaga nti Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka tukitwala nga kya muwendo nga tukola kyonna kye tusobola okukikuuma nga kiri mu mbeera nnungi. Eba nkizo okuwaayo ebiseera byaffe okuyonja ‘n’okuddaabiriza’ ekifo kyaffe eky’okusinzizaamu. (2 Ebyomumirembe 34:10) Ate era tusaanidde okulongoosa n’okuddaabiriza ebizimbe omubeera Enkuŋŋaana Ennene.

OKWEWALA EMIZE EGYONOONA EMIBIRI GYAFFE

19. Okusobola okwekuuma nga tuli bayonjo mu mubiri, kiki kye tulina okwewala, era Bayibuli etuyamba etya?

19 Okusobola okwekuuma nga tuli bayonjo mu mubiri, tulina okwewala emize, gamba ng’okunywa sigala, okunywa ennyo omwenge, n’okukozesa ebiragalalagala. Bayibuli teyogera ku mize gyonna oba empisa ez’obugwenyufu zonna ebiriwo leero, naye erimu emisingi egituyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ng’ebyo. Olw’okuba tumanyi engeri Yakuwa gy’atwalamu ebintu ng’ebyo, okwagala kwe tulina gy’ali kutukubiriza okukola ebyo ebimusanyusa. Ka twekenneenye emisingi etaano okuva mu Byawandiikibwa.

20, 21. Mize ki Yakuwa gy’ayagala twewale, era nsonga ki ey’amaanyi eyandituleetedde okukola ekyo?

20 “N’olwekyo abaagalwa, okuva bwe tulina ebisuubizo bino, ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo, obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Yakuwa ayagala twesambe emize gyonna egisobola okwonoona emibiri gyaffe, omwoyo gwaffe, oba ebirowoozo byaffe. N’olwekyo, tulina okwewala ebyo byonna ebyonoona omubiri gwaffe n’ebirowoozo byaffe.

21 Bayibuli etuwa ensonga ey’amaanyi lwaki tusaanidde ‘okwenaazaako ebintu byonna ebyonoona omubiri.’ Weetegereze nti 2 Abakkolinso 7:1 lutandika nga lugamba nti: “Okuva bwe tulina ebisuubizo bino.” Bisuubizo ki? Mu nnyiriri ezivuddeko Yakuwa asuubiza nti: “Nange nnaabasembeza. Nnaabeera kitammwe.” (2 Abakkolinso 6:17, 18) Kiteeberezeemu: Yakuwa asuubiza okukukuuma era n’okukwagala nga taata bw’ayagala mutabani we oba muwala we. Naye bino Yakuwa ajja kubituukiriza singa naawe weewala ebintu ebyonoona “omubiri n’omwoyo.” N’olwekyo, tekiba kya magezi okukkiriza omuze oba empisa embi okukulemesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa!

22-25. Misingi ki egiri mu Byawandiikibwa egisobola okutuyamba okwewala emize emibi?

22 “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Yesu yanokolayo etteeka lino era n’agamba nti lye lisingayo obukulu mu mateeka. (Matayo 22:38) Tugwanidde okwagala Yakuwa mu ngeri eyo. Okusobola okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, era n’amagezi gaffe gonna, tuteekwa okwewala emize oba empisa ebisobola okusala ku bulamu bwaffe oba okunafuya obusobozi bw’okulowooza Katonda bwe yatuwa.

23 [Yakuwa] y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” (Ebikolwa 17:24, 25) Obulamu kirabo okuva eri Katonda. Oyo eyabutuwa tumwagala era twagala okubutwala nga bwa muwendo. Twewala omuze gwonna oba empisa ezisobola okuba ez’akabi eri obulamu bwaffe, kubanga empisa ng’ezo ziraga nti ekirabo eky’obulamu tetukitwala nga kya muwendo.​—Zabbuli 36:9.

24 “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Matayo 22:39) Emize emibi tegikoma ku kuyisa bubi abo abagirina naye era n’abo be babeera nabo. Ng’ekyokulabirako, omukka gwa sigala guba gwa kabi n’eri abo abatamunywa. Omuntu atuusa akabi ku balala aba amenye etteeka lya Katonda ery’okwagala baliraanwa baffe. Era aba alimba bw’agamba nti ayagala Katonda.​—1 Yokaana 4:20, 21.

25 “Weeyongere okubajjukiza okugondera n’okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza.” (Tito 3:1) Mu nsi nnyingi, okubeera n’ebiragalalagala ebimu oba okubikozesa kimenya mateeka. Ng’Abakristaayo ab’amazima, tetubeera na biragalalagala ebitakkirizibwa mu mateeka era tetubikozesa.​—Abaruumi 13:1.

26. (a) Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, kiki kye twetaaga okukola? (b) Lwaki okuba abayonjo mu maaso ga Katonda kye kisingayo obulungi?

26 Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, twetaaga okuba abayonjo mu bintu byonna. Kiyinza obutaba kyangu okulekayo era n’okwewala emize n’empisa embi, naye kisoboka. * Naye okukola ekyo kye kisingayo obulungi, kubanga bulijjo Yakuwa atuyigiriza okutuganyula. (Soma Isaaya 48:17.) N’ekisinga obukulu, bwe tusigala nga tuli bayonjo, tusobola okufuna obumativu obuva mu kumanya nti tuwa ekifaananyi ekirungi ku Katonda waffe gwe twagala, era ekyo kituviiramu okusigala mu kwagala kwe.

^ lup. 2 Mu nnimi ezaasooka ekigambo ekyavvuunulwa “omulongoofu” oba “omuyonjo” oluusi kitegeeza obuyonjo mu mubiri, naye emirundi egisinga kitegeeza okuba omuyonjo mu by’omwoyo oba mu mpisa.

^ lup. 12 Essuula 6 ey’akatabo kano eyogera ku ngeri y’okulondamu eby’okwesanyusaamu ebisaanira.

^ lup. 26 Laba akasanduuko “ Nfuba nnyo Okukola Ekituufu?” ku lupapula 94, n’ako akali waggulu akagamba nti “ Eri Katonda Ebintu Byonna Bisoboka.”

^ lup. 67 Erinnya likyusiddwa.