Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 9

“Mudduke Ebikolwa Eby’Obugwenyufu!”

“Mudduke Ebikolwa Eby’Obugwenyufu!”

“N’olwekyo, mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu, nga kwe kusinza ebifaananyi.”​—ABAKKOLOSAAYI 3:5.

1, 2. Kiki Balamu kye yakola okusobola okukwasa abantu ba Yakuwa?

OMUVUBI agenda mu kafo ke k’asinga okwagala okuvubiramu. Waliwo ekika ky’ekyennyanja ky’ayagala okukwata. Afuna ekintu ekisobola okusikiriza ekyennyanja ekyo n’akiteeka ku ddobo era eddobo n’aliteeka mu mazzi. Nga wayiseewo akaseera, akaguwa keereega, era akati okuli eddobo ne keewetamu. Amangu ddala asikayo ekyo ky’akwasizza. Ng’asanyuka nnyo okulaba ng’akwasizza eky’ennyanja ky’abadde ayagala.

2 Kino kitujjukiza ebyaliwo mu mwaka 1473 E.E.T. Omusajja ayitibwa Balamu yalowooza nnyo ku ngeri gye yandisobodde okukwasaamu abantu ba Katonda abaali basiisidde mu Nsenyi za Mowaabu, ku njegooyego y’Ensi Ensuubize. Wadde nga Balamu yali yeeyita nnabbi wa Yakuwa, ekituufu kiri nti yali musajja wa mululu era baali bamuguliridde okukolimira Abayisirayiri. Kyokka, olw’okuba Yakuwa yayingira mu nsonga, Balamu mu kifo ky’okukolimira Abayisirayiri, yabawa buwi mukisa. Naye olw’okuba yali amaliridde okufuna empeera gye baali bamusuubizza, Balamu yalowooza nti ayinza okuleetera Katonda okukolimira abantu be, singa bakemebwa ne bakola ekibi eky’amaanyi. Okusobola okutuukiriza ekyo, Balamu yakozesa abawala ba Mowaabu okukwasa Abayisirayiri.​—Okubala 22:1-7; 31:15, 16; Okubikkulirwa 2:14.

3. Akakodyo ka Balamu kaakola?

3 Akakodyo ako kaakola? Kaakola. Abayisirayiri bangi nnyo ‘benda ku bawala ba Mowaabu.’ Era baatandika n’okusinza bakatonda ba Mowaabu, nga mw’otwalidde ne Baalipyoli, katonda ow’oluzaalo, oba ow’okwegata. N’ekyavaamu, Abayisirayiri 24,000 baafiira ku njegooyego y’Ensi Ensuubize. Ng’ekyo kyali kya nnaku nnyo!​—Okubala 25:1-9.

4. Lwaki Abayisirayiri bangi nnyo baagwa mu bwenzi?

4 Kiki ekyaviirako omutawaana ogwo? Bangi ku bantu abo baali bafunye omutima omubi olw’okuva ku Yakuwa, Katonda eyali abanunudde okuva mu Misiri, eyali abaliisizza nga bali mu ddungu, era n’abakulembera bulungi okutuukira ddala ku njegooyego y’ensi ensuubize. (Abebbulaniya 3:12) Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo, omutume Pawulo yagamba nti: “Tetwendanga ng’abamu ku bo bwe baayenda, abantu 23,000 ne bafa ku lunaku lumu.” *​—1 Abakkolinso 10:8.

5, 6. Ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri nga bali mu Nsenyi za Mowaabu tubiyigirako ki leero?

5 Ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubala birimu eby’okuyiga bingi ebirungi eri abantu ba Katonda leero, abanaatera okuyingira ensi ensuubize esingira ewala eyo ey’edda. (1 Abakkolinso 10:11) Ng’ekyokulabirako, abantu leero bettanira nnyo okwegatta n’okusinga n’abaali babeera mu Mowaabu. Okugatta ku ekyo, buli mwaka Abakristaayo bangi nnyo bagwa mu bwenzi—akatego akaakwasa Abayisirayiri. (2 Abakkolinso 2:11) Okufaananako Zimuli eyatwala omukazi Omumidiyaani mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’amuyingiza mu weema ye, abamu ku abo abakuŋŋaana n’abantu ba Katonda leero era n’ab’oluganda abatonotono, baleetedde abali mu kibiina Ekikristaayo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.​—Okubala 25:6, 14; Yuda 4.

6 Okiraba nti oli mu Nsenyi za Mowaabu ez’omu kiseera kino? Okiraba nti empeera yo, kwe kugamba, ensi empya gy’omaze ebbanga ng’olindirira eneetera okutuuka? Bwe kiba kityo, kola kyonna ky’osobola okusigala mu kwagala kwa Katonda ng’ogoberera ekiragiro kino ekigamba nti: “Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.”​—1 Abakkolinso 6:18.

Ensenyi za Mowaabu

EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU KYE KI?

7, 8. “Ebikolwa eby’obugwenyufu” kye ki, era abo ababyenyigiramu bakungula batya kye basiga?

7 “Ebikolwa eby’obugwenyufu” (mu luyonaani, por·neiʹa) birina akakwate n’obwenzi. Bizingiramu obwamalaaya, abantu okwegatta nga tebannayingira bufumbo, okukomberera ebitundu eby’ekyama, okukwatirira ebitundu by’ekyama eby’omuntu atali munno mu bufumbo, n’okwegatta mu ngeri endala yonna etali ya mu butonde. Era bizingiramu okulya ebisiyaga n’okwegatta n’ensolo. *

8 Ebyawandiikibwa bikyoleka kaati nti abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu tebayinza kusigala mu kibiina Ekikristaayo era tebajja kufuna bulamu butaggwaawo. (1 Abakkolinso 6:9; Okubikkulirwa 22:15) Ng’oggyeko ekyo, ne mu kiseera kino bafuna ebizibu bingi nnyo gamba nga, obutategeeragana mu bufumbo, abalala okulekera awo okubeesiga n’okubawa ekitiibwa, okulumizibwa omuntu ow’omunda, okufuna embuto ze bateeyagalidde, endwadde, era n’okufa. (Soma Abaggalatiya 6:7, 8.) Nga kiba kya busirusiru nnyo okweyisa mu ngeri enneekuleetera ennaku! Eky’ennaku, bangi tebalowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu kukola ebintu ebikyamu, gamba ng’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

EBIFAANANYI EBY’OBUSEEGU

9. Ddala ebifaananyi eby’obuseegu si bya kabi ng’abamu bwe bagamba? Nnyonnyola.

9 Mu nsi nnyingi, ebifaananyi eby’obuseegu byeyolekera mu mpapula z’amawulire, mu nnyimba, ku ttivi, era ne ku Intaneeti. * Ebintu ebyo si bya kabi ng’abamu bwe bagamba? Bya kabi nnyo! Abo ababiraba basobola okufuna omuze ogw’okutigaatiga ebitundu byabwe eby’ekyama ekiyinza okubaviirako okwagala ennyo okwegatta, okuba n’okwegomba okubi, okuba n’ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo, era n’okugattululwa mu bufumbo. * (Abaruumi 1:24-27; Abeefeso 4:19) Omukugu omu omuze guno ogw’okwagala ennyo okwegatta agufaananyiriza ku kookolo. Agamba nti, “Gweyongera bweyongezi kukula. Tegutera kuddirira, era guba muzibu nnyo okujjanjaba n’okuwonya.”

Kiba ky’amagezi okukozesa Intaneeti mu kifo buli omu w’ayinza okukulabira

10. Tuyinza tutya okussa mu nkola omusingi oguli mu Yakobo 1:14, 15? (Laba n’akasanduuko ku  lupapula 101.)

10 Lowooza ku bigambo ebiri mu Yakobo 1:14, 15, ebigamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi; ate ekibi bwe kimala okukolebwa kireeta okufa.” N’olwekyo, singa okwegomba okubi kuyingira mu birowoozo byo, baako ky’okolawo mu bwangu okukweggyamu! Ng’ekyokulabirako, singa mu butanwa olaba ebifaananyi ebisiikuula okwegomba okubi, amaaso go gaggyeyo mangu, oba ggyako kompyuta, oba kyusa omukutu gwa ttivi. Kola kyonna ekyetaagisa okwewala okutwalirizibwa okwegomba okubi nga tekunnasimba makanda mu birowoozo byo.​—Soma Matayo 5:29, 30.

11. Bwe tuba tulwanyisa okwegomba okubi, tusobola tutya okulaga nti twesiga Yakuwa?

11 N’olwekyo, Oyo atumanyi obulungi okusinga ffe bwe twemanyi, atukubiriza nti: “N’olwekyo, mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu, nga kwe kusinza ebifaananyi.” (Abakkolosaayi 3:5) Kyo kituufu nti kiyinza obutaba kyangu kukolera ku kubuulirira okwo, naye kijjukire nti, tulina Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo era omugumiikiriza gwe tusobola okwegayirira n’atuyamba. (Zabbuli 68:19) N’olwekyo mutuukirire mu bwangu ng’okwegomba okubi kuyingidde mu birowoozo byo. Musabe akuwe “amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” era fuba okuteeka ebirowoozo byo ku kintu ekirala.—2 Abakkolinso 4:7; 1 Abakkolinso 9:27; laba akasanduuko “ Nnyinza Ntya Okwekutula ku Muze Omubi?” ku lupapula 104.

12. “Omutima” gwaffe kye ki, era lwaki tulina okugukuuma?

12 Sulemaani omusajja ow’amagezi yagamba nti: “Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna, kubanga gwe gusibukamu ensulo ez’obulamu.” (Engero 4:23) “Omutima” gwaffe kyekyo kye tuli munda, ekyo kye tuli mu maaso ga Katonda. Ate era, ekyo Katonda ky’alaba mu ‘mitima’ gyaffe ky’asinziirako okutuwa obulamu obutaggwaawo oba obutabutuwa, so si engeri gye tulabikamu mu maaso g’abalala. Eyo nsonga nkulu nnyo! Yobu omusajja omwesigwa yakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira mukazi okumwegomba. (Yobu 31:1) Ekyo nga kyakulabirako kirungi gye tuli! Omuwandiisi wa zabbuli yalaga nti alina endowooza y’emu bwe yagamba nti: “Wunjula amaaso gange galeme kutunuulira bitagasa.”​—Zabbuli 119:37.

OKUSALAWO KWA DINA OKUTAALI KWA MAGEZI

13. Dina ye yali ani, era kiki ekiraga nti teyalonda mikwano gye na magezi?

13 Nga bwe twalaba mu Ssuula 3, mikwano gyaffe giyinza okutuviirako okukola ebintu ebirungi oba ebibi. (Engero 13:20; soma 1 Abakkolinso 15:33.) Lowooza ku Dina, muwala wa Yakobo. Wadde nga yali yakuzibwa bulungi, yakola ekitaali kya magezi bwe yafuula abamu ku bawala b’omu Kanani mikwano gye. Okufaananako Abamowaabu, Abakanani nabo baali bagwenyufu nnyo. (Eby’Abaleevi 18:6-25) Mu maaso g’abasajja Abakanani, nga mw’otwalidde ne Sekemu​—‘eyali asinga okuba ow’ekitiibwa mu nnyumba ya kitaawe’—​Dina yalabika ng’eyali omwetegefu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu okufaananako abawala abalala ab’omu Kanani.​—Olubereberye 34:18, 19.

14. Emikwano emibi Dina gye yalonda gyaviirako mitawaana ki?

14 Oboolyawo Dina teyalowooza ku bya kwegatta bwe yalaba Sekemu. Kyokka ye Sekemu yakola ekyo Abakanani abasinga obungi kye bandikoze nga bawulira nti baagala okwegatta. Sekemu ‘yatwala’ Dina “n’amusobyako.” Dina ayinza okuba yagezaako okwetaasa, naye ekyo kyali tekikyagasa. Kirabika oluvannyuma Sekemu ‘yayagala’ Dina, naye ekyo tekyakyusa kye yali akoze Dina. (Soma Olubereberye 34:1-4.) Dina si ye yekka eyafuna ebizibu. Okulonda emikwano emibi kyaviirako ebikolwa eby’ettemu, ekyaleeta ekivume ku beewaabwe.​—Olubereberye 34:7, 25-31; Abaggalatiya 6:7, 8.

15, 16. Tusobola tutya okufuna amagezi agava eri Katonda? (Laba n’akasanduuko ku  lupapula 109.)

15 Ebizibu Dina bye yafuna biteekwa okuba nga birina kye byamuyigiriza. Kyokka abo abaagala Yakuwa era abamugondera tekibeetaagisa kusooka kufuna bizibu ne balyoka babaako kye bayiga. Olw’okuba bawuliriza Katonda, basalawo ‘okutambula n’abantu ab’amagezi.’ (Engero 13:20a) Mu ngeri eyo, bategeera “enkola yonna ey’ebintu ebirungi” era beewala ebizibu ebimu awamu n’obulumi.​—Engero 2:6-9; Zabbuli 1:1-3.

16 Abo bonna abeegomba okufuna amagezi agava eri Katonda era n’okugakolerako basobola okugafuna nga banyiikirira okusaba, nga basoma Ekigambo kya Katonda obutayosa awamu n’ebitabo ebituweebwa omuddu omwesigwa. (Matayo 24:45; Yakobo 1:5) N’ekirala ekikulu kwe kuba abawombeefu, era nga kino kyeyolekera mu kuba abeetegefu okugoberera okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa. (2 Bassekabaka 22:18, 19) Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayinza okuba ng’akikkiriza nti omutima mukuusa era gwa kabi nnyo. (Yeremiya 17:9) Anaaba muwombeefu n’akkiriza okubuulirirwa n’okuyambibwa?

17. Yogera ku mbeera eyinza okubaawo mu maka, era laga engeri taata gy’ayinza okuyamba muwala we okusalawo obulungi.

17 Lowooza ku mbeera eno. Taata agaana muwala we okutambulako n’omuvubuka Omukristaayo nga tebalina abawerekeddeko. Omuwala agamba: “Naye Taata, tonneesiga? Tewali kikyamu kye tujja kukola!” Ayinza okuba ng’ayagala Yakuwa era nga talina kigendererwa kibi, naye ddala aba “atambula n’amagezi” agava eri Katonda? Ddala aba ‘adduka ebikolwa eby’obugwenyufu’? Oba aba ‘yeesiga mutima gwe,’ ekintu ekitali kya magezi? (Engero 28:26) Oboolyawo oyinza n’okulowooza ku misingi emirala egiyinza okuyamba taata oyo ne muwala we okusalawo eky’okukola mu nsonga ng’eyo.​—Laba Engero 22:3; Matayo 6:13; 26:41.

YUSUFU YADDUKA EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU

18, 19. Yusufu yayolekagana na kikemo ki, era yakyaŋŋanga atya?

18 Yusufu, mwannyina wa Dina yali ayagala nnyo Katonda era yadduka ebikolwa eby’obugwenyufu. (Olubereberye 30:20-24) Ng’akyali muto, Yusufu yeerabirako n’agage ku ebyo ebyava mu nneeyisa ya mwannyina etaali ya magezi. Awatali kubuusabuusa, okujjukira ebintu ebyo, era n’okwagala ennyo okusigala mu kwagala kwa Katonda, byayamba Yusufu ng’ali e Misiri nga mukyala wa mukama we amusendasenda “buli lunaku.” Kya lwatu, olw’okuba Yusufu yali muddu, yali tayinza kuleka mulimu gwe! Yalina okweyisa mu ngeri ey’amagezi era n’okuba omuvumu. Kino yakikola ng’agaanira ddala okukola ekyo muka Potifali kye yali amugamba era ku nkomerero, n’amudduka.​—Soma Olubereberye 39:7-12.

19 Kirowoozeeko: Singa Yusufu yalowoozanga nnyo ku ky’okwegatta n’omukyala oyo, ddala yandisobodde okukuuma obugolokofu bwe? Oboolyawo teyandisobodde. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku bintu ebibi, Yusufu yatwala enkolagana ye ne Yakuwa nga ya muwendo, era ekyo kyeyolekera mu bigambo bye yagamba muka Potifali nti: “Mukama wange tewali na kimu  . . . ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?”​—Olubereberye 39:8, 9.

20. Kiki Yakuwa kye yakolawo ku bikwata ku Yusufu?

20 Fumiitiriza ku ssanyu Yakuwa lye yawulira bwe yalaba Yusufu, eyali ewala ennyo okuva ku b’ewaabwe, ng’akuuma obwesigwa bwe buli lunaku. (Engero 27:11) Yusufu bwe yasibibwa mu kkomera, Yakuwa alina kye yakolawo. Yusufu yasumululwa mu kkomera, n’afuulibwa kattikiro era n’aweebwa n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira eby’emmere! (Olubereberye 41:39-49) Ebigambo ebiri mu Zabbuli 97:10 bituufu nnyo. Bigamba nti: “Mmwe abaagala Yakuwa mukyawe ebibi. Akuuma obulamu bw’abantu be abeesigwa; Abanunula mu mukono gw’omubi.”

21. Ow’oluganda omu okuva mu nsi emu mu Afirika yakiraga atya nti akyawa ekibi?

21 N’abaweereza ba Katonda bangi leero bakiraze nti ‘bakyawa ekibi era baagala ekirungi.’ (Amosi 5:15) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda okuva mu nsi emu mu Afirika ajjukira omuwala omu gwe yali asoma naye eyamusuubiza okwegatta naye singa amuyambako mu kigezo ky’okubala. Ow’oluganda agamba nti: “Ekyo kye yali aŋŋamba nnakigaanirawo. Olw’okuba nkuumye obugolokofu bwange, nsigazza ekitiibwa kyange, ekintu eky’omuwendo ennyo okusinga zzaabu ne ffeeza.” Kyo kituufu nti ekibi kisobola okuleetera omuntu ‘essanyu ery’akaseera obuseera,’ naye essanyu ng’eryo litera okuvaamu obulumi bungi nnyo. (Abebbulaniya 11:25) Ate era, essanyu ng’eryo teriyinza kugeraageranyizibwa na ssanyu ery’olubeerera eriva mu kuba abawulize eri Yakuwa.​—Engero 10:22.

KKIRIZA OBUYAMBI BWA KATONDA OMUSAASIZI

22, 23. (a) Singa Omukristaayo akola ekibi eky’amaanyi, lwaki tekitegeeza nti ebibye biba bikomye? (b) Buyambi ki oyo akoze ekibi bw’ayinza okufuna?

22 Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tufuba nnyo okulaba nti tetutwalirizibwa kwegomba kwa mubiri era tufuba okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. (Abaruumi 7:21-25) Kino Yakuwa akimanyi, “ajjukira nti tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Kyokka, oluusi Omukristaayo ayinza okukola ekibi eky’amaanyi. Ekyo kiba kitegeeza nti ebibye bikomye? N’akatono! Kyo kituufu nti omuntu oyo ayinza okukungula ebibala ebibi nga bwe kyali eri Kabaka Dawudi. Wadde kiri kityo, bulijjo Katonda aba ‘mwetegefu okusonyiwa’ abo abanakuwala olw’ekyo kye baba bakoze era ne ‘baatula’ ebibi byabwe.​—Zabbuli 86:5; Yakobo 5:16; soma Engero 28:13.

23 Okugatta ku ekyo, Katonda atuwadde ekibiina Ekikristaayo ekirimu “ebirabo mu bantu”—abasumba abakuze mu by’omwoyo abalina ebisaanyizo era abeetegefu okutuwa obuyambi. (Abeefeso 4:8, 12; Yakobo 5:14, 15) Balina ekiruubirirwa eky’okuyamba oyo aba akoze ekibi eky’amaanyi okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda, era n’okumuyamba ‘okufuna okutegeera’ aleme kuddamu kukola kibi ekyo.​—Engero 15:32.

‘FUNA AMAGEZI’

24, 25. (a) Omuvubuka ayogerwako mu Engero 7:6-23 yalaga atya nti ‘talina magezi’? (b) Tuyinza tutya ‘okufuna amagezi?

24 Bayibuli eyogera ku muntu “atalina magezi” ne ku oyo “afuna okutegeera.” (Engero 7:7) Olw’okuba aba tannakula mu by’omwoyo era nga talina bumanyirivu, omuntu “atalina magezi” ayinza obutasobola kusalawo mu ngeri ey’amagezi. Okufaananako omuvubuka ayogerwako mu Engero 7:6-23, kiyinza okuba ekyangu omuntu oyo okugwa mu kibi eky’amaanyi. Kyokka, ‘oyo afuna okutegeera’ afa ku muntu we ow’omunda, era nga kino akikola okuyitira mu kusaba n’okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa. Era wadde nga tatuukiridde, afuba nga bw’asobola, okulaba nti ebirowoozo bye, ebyo by’ayagala, n’ebiruubirirwa bye bikwatagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Bwe kityo, akiraga nti “ayagala obulamu bwe,” era ‘ebintu bimugendera bulungi.’​—Engero 19:8.

25 Weebuuze: ‘Nkikkiririza ddala nti emitindo gya Katonda mituufu? Nkikkiriza nti okuginywererako kivaamu essanyu ppitirivu?’ (Zabbuli 19:7-10; Isaaya 48:17, 18) Bw’oba ng’olina okubuusabuusa, ne bwe kuba kutono kutya, gezaako okukweggyamu. Fumiitiriza ku ebyo ebiva mu kusuula omuguluka amateeka ga Katonda. Okugatta ku ekyo, ‘lega olabe nti Yakuwa mulungi’ nga weeyongera okugoberera ekkubo ery’amazima era ng’ojjuza ebirowoozo byo n’ebintu ebirungi—ebintu eby’amazima, eby’obutuukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa n’ebisiimibwa. (Zabbuli 34:8; Abafiripi 4:8, 9) Osobola okuba omukakafu nti gy’onookoma okukola ekyo, gy’ojja okukoma okweyongera okwagala Katonda, okwagala ebyo by’ayagala, era n’okukyawa ebyo by’akyawa. Yusufu yali tatuukiridde, kyokka, yasobola ‘okudduka ebikolwa eby’obugwenyufu’ kubanga yakkiriza Yakuwa okumubumba okumala emyaka mingi, ne kimusobozesa okukola ebimusanyusa. Naawe osobola okubeera nga Yusufu.​—Isaaya 64:8.

26. Nsonga ki enkulu ennyo ejja okwogerwako mu ssuula eddako?

26 Omutonzi waffe yakola ebitundu byaffe eby’ekyama okutusobozesa okuzaala n’okufuna essanyu mu bufumbo so si okubikozesa mu ngeri enkyamu. (Engero 5:18) Engeri Katonda gy’atunuuliramu obufumbo ejja kwogerwako mu ssuula ebbiri eziddako.

^ lup. 4 Awatali kubuusabuusa omuwendo ogwo ogulagibwa mu kitabo ky’Okubala guzingiramu ‘abakulembeze b’Abayisirayiri’ abalamuzi be batta era nga bayinza okuba baali bawera abasajja 1000, awamu n’abo Yakuwa kennyini be yatta.​—Okubala 25:4, 5.

^ lup. 7 Okusobola okumanya engeri ebigambo obutali bulongoofu n’obugwaagwa gye binnyonnyolebwamu, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Jjulaayi 15, 2006, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 9 Ebigambo “ebifaananyi eby’obuseegu” nga bwe bikozeseddwa wano bizingiramu ebintu omuntu by’alaba, by’asoma, oba by’awuliriza ebiba n’ekigendererwa eky’okusiikuula okwegomba okw’okwegatta. Biyinza okuba ekifaananyi ky’omuntu ayimiridde oba atudde mu ngeri esiikuula okwegomba okw’okwegatta oba ekifaananyi ekiraga abantu babiri oba n’okusingawo nga beenyigira mu bikolwa eby’okwegatta ebyesisiwaza ennyo.

^ lup. 9 Omuze ogw’okutigaatiga ebitundu eby’ekyama gwogerwako mu Ebyongerezeddwako ku lupapula 218-219.