Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 13

Emikolo Egitasanyusa Katonda

Emikolo Egitasanyusa Katonda

“Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.”​—ABEEFESO 5:10.

1. Bantu ba ngeri ki Yakuwa b’aleeta gy’ali, era lwaki basaanidde okufuba okumanya ebikkirizibwa Katonda?

YESU yagamba nti: ‘Abasinza mu ngeri entuufu banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abalinga abo okumusinzanga.’ (Yokaana 4:23) Yakuwa bw’azuula abantu abalinga abo​—nga bwe yakuzuula—​abaleeta gy’ali n’eri Omwana we. (Yokaana 6:44) Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo! Kyokka abo abaagala amazima, balina ‘okufuba okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe,’ kubanga Sitaani mulimba nnyo.​—Abeefeso 5:10; Okubikkulirwa 12:9.

2. Nnyonnyola engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abo abagattika okusinza okw’amazima n’okw’obulimba.

2 Lowooza ku ekyo ekyaliwo okumpi n’Olusozi Sinaayi Abayisirayiri bwe baasaba Alooni okubakolera katonda. Alooni yakkiriza, n’abakolera akayana aka zzaabu, era n’agamba nti kaali kakiikirira Yakuwa. Yagamba nti: “Enkya wajja kubaawo okukwata embaga ya Yakuwa.” Yakuwa talina kye yakolawo abantu abo bwe baagattika okusinza okw’amazima n’okw’obulimba? Alina kye yakolawo. Yalagira ne batta abantu ng’enkumi ssatu abaali basinzizza akayana aka zzaabu. (Okuva 32:1-6, 10, 28) Ekyo kituyigiriza ki? Bwe tuba twagala okwekuumira mu kwagala kwa Katonda, tetuteekwa ‘kukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu’ era tulina okukola kyonna ekisoboka okulaba nti tetugattika kusinza okw’amazima n’okw’obulimba.​—Isaaya 52:11; Ezeekyeri 44:23; Abaggalatiya 5:9.

3, 4. Lwaki kikulu nnyo okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli nga twekenneenya obulombolombo n’emikolo ebicaase leero?

3 Abatume abaali baziyiza bakyewaggula bwe baamala okufa, Abakristaayo ab’obulimba baatandika okugoberera obulombolombo obw’ekikaafiiri n’okukuza ennaku ezaatwalibwa ng’enkulu awamu n’emikolo eby’ekikaafiiri era ne babiyingiza mu kibiina Ekikristaayo. (2 Abassessalonika 2:7, 10) Nga weekenneenya egimu ku mikolo egyo, ojja kukiraba nti gyoleka mwoyo gwa nsi so si gwa Katonda. Okutwalira awamu, emikolo gino egy’ensi girina ekintu kye gifaanaganya: Gikubiriza okwegomba okw’omubiri, era gitumbula enjigiriza ez’obulimba n’eby’obusamize—ebintu ebirina akakwate ne “Babulooni Ekinene.” * (Okubikkulirwa 18:2-4, 23) Ate era tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yalabanga emikolo n’obulombolombo eby’omuzizo ebyakolebwanga mu ddiini ez’ekikaafiiri. Ne leero obulombolombo n’emikolo ebyasibuka mu ddiini ng’ezo bya muzizo gy’ali. Endowooza gy’alina ku bulombolombo n’emikolo ng’egyo si gye twanditutte ng’enkulu?​—2 Yokaana 6, 7.

4 Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti emikolo egimu tegisanyusa Yakuwa. N’olwekyo tusaanidde okuba abamalirivu obuteenyigira mu mikolo ng’egyo. Okwejjukanya lwaki emikolo ng’egyo tegisanyusa Yakuwa kijja kutuyamba okuba abamalirivu okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutulemesa okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.

OKUSINZA ENJUBA KWATUUMIBWA SSEKUKKULU

5. Lwaki tuyinza okubeera abakakafu nti Yesu teyazaalibwa nga Ddesemba 25?

5 Bayibuli terina ky’eyogera ku kukuzibwa kw’olunaku Yesu lwe yazaalibwa. Mu butuufu, olunaku lwennyini lwe yazaalibwa terumanyiddwa. Kyokka tuli bakakafu nti teyazaalibwa nga Ddesemba 25, ekiseera ekiba eky’obutiti mu kitundu ekyo eky’ensi. * Ensonga emu lwaki tuli bakakafu ku kino eri nti Lukka yagamba nti Yesu bwe yazaalibwa, ‘abasumba baali ku ttale’ nga bakuuma ebisibo byabwe ekiro. (Lukka 2:8-11) Ddesemba kiseera kya nkuba n’obutiti mu Besirekemu, era ebisolo biba munda mu bisibo byabyo. Ekyo kiba kitegeeza nti abasumba baali tebasobola kubeera bweru kiro mu kiseera ekyo. Okugatta ku ekyo, Yusufu ne Maliyamu baagenda e Besirekemu olw’okuba Kayisaali Agusito yali alagidde abantu babalibwe. (Lukka 2:1-7) Tekiyinzika kuba nti Kayisaali yandiragidde abantu abaali batayagala bufuzi bw’Abaruumi okutindigga olugendo okudda ewaboobwe mu kiseera eky’obutiti.

6, 7. (a) Obulombolombo bwa Ssekukkulu bungi bwasibuka wa? (b) Njawulo ki eriwo wakati w’okugaba okubaawo ku Ssekukkulu n’okugaba okw’Abakristaayo?

6 Ssekukkulu teyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, wabula yasibuka mu mbaga ez’edda ez’ekikaafiiri, gamba ng’ey’Abaruumi eyitibwa Saturnalia egulumiza katonda waabwe ow’eby’obulimi. Ate era, New Catholic Encyclopedia egamba nti abakaafiiri abaasinzanga katonda w’enjuba ayitibwa Mithra baakuzanga amazaalibwa ga katonda waabwe oyo nga Ddesemba 25. N’ekkanisa yatandika okukuza amazaalibwa ga Kristo ku lunaku olwo.

Okwagala kwe kukubiriza Abakristaayo ab’amazima okugaba

7 Ku mikolo egyo, abakaafiiri baawaŋŋananga ebirabo era baafumbanga ebijjulo ebinene—ebintu ebikyakolebwa ne leero mu kiseera kya Ssekukkulu. Era nga bwe kiri leero, okugaba ebirabo okwabangawo ku Ssekukkulu kwali tekutuukagana n’ebyo bye tusoma mu 2 Abakkolinso 9:7, awagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Okwagala kwe kukubiriza Abakristaayo ab’amazima okugabira abalala, era tebalina nnaku kwe bagabira birabo. Bwe bagabira abalala ebirabo tebasuubira nti nabo balina okubawa ebirabo. (Lukka 14:12-14; soma Ebikolwa 20:35.) Ate era, basanyufu nnyo olw’okuba beewala akeetalo akabaawo ku Ssekukkulu era tebagwa mu mabanja bangi ge bagwamu mu kiseera ekyo eky’omwaka.​—Matayo 11:28-30; Yokaana 8:32.

8. Abalaguzisa emmunyeenye baawa Yesu ebirabo ku lunaku lwe yazaalibwa? Nnyonnyola.

8 Naye abamu bayinza okubuuza nti, abalaguzisa emmunyeenye tebaawa Yesu birabo bya mazaalibwa? Nedda. Ebirabo bye baamuwa tebyali bya mazaalibwa. Abasajja abo okuwa Yesu ebirabo baali bagoberera empisa eyaliwo mu kiseera ekyo, ey’okuwa omukungu ebirabo okulaga nti omussaamu ekitiibwa. (1 Bassekabaka 10:1, 2, 10, 13; Matayo 2:2, 11) Ate era, abasumba tebajja kiro ekyo kyennyini Yesu kye yazaalibwamu. Mu kiseera kye bajjiramu, Yesu teyali mwana muwere azazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira, waali wayiseewo emyezi mingi era ng’abeera mu nju.

BAYIBULI KY’EYOGERA KU MAZAALIBWA

9. Kiki ekyaliwo ku mazaalibwa agoogerwako mu Bayibuli?

9 Wadde ng’okuzaalibwa kw’omwana kuleeta essanyu ppitirivu, Bayibuli teraga nti abaweereza ba Katonda baakuzanga amazaalibwa gaabwe. (Zabbuli 127:3) Kyandiba nti ekyo kyabuusibwa amaaso? Nedda, kubanga waliwo amazaalibwa ga mirundi ebiri agoogerwako​—aga Falaawo ow’e Misiri n’aga Kerode Antipa. (Soma Olubereberye 40:20-22; Makko 6:21-29.) Kyokka, amazaalibwa ago tegoogerwako bulungi​—naddala ago aga Kerode Antipa, kubanga ku mazaalibwa ge Yokaana Omubatiza yatemwako omutwe.

10, 11. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baatwalanga batya amazaalibwa, era lwaki?

10 Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kigamba nti “Abakristaayo abaasooka baakitwala nti omuntu okukuza amazaalibwa ge, mpisa ya kikaafiiri.” Ng’ekyokulabirako, Abayonaani ab’edda baalina endowooza nti buli muntu alina ekitonde eky’omwoyo ekyamukuumanga era nti ekitonde ekyo kyabangawo ng’omuntu oyo azaalibwa. Ekitabo ekiyitibwa The Lore of Birthdays kigamba nti “ekitonde ekyo kyalina oluganda ne katonda eyazaalibwa ku lunaku omuntu oyo lwe yabanga azaaliddwa.” Ate era okumala ekiseera kiwanvu, ennaku ez’amazaalibwa zibaddenga zikwataganyizibwa n’okulaguzisa emmunyeenye.

11 Ng’oggyeeko obutakuza mazaalibwa olw’okuba gaali gasibuka mu bukaafiiri ne mu by’obusamize, kirabika abaweereza ba Katonda ab’edda tebaakuzanga mazaalibwa olw’enzikiriza ze baali bagoberera. Lwaki tugamba tutyo? Abakristaayo abo baali bawombeefu era okuzaalibwa tebaakutwalanga ng’ekintu ekikulu ennyo kye baalina okukuza. * (Mikka 6:8; Lukka 9:48) Wabula, baawanga Yakuwa ekitiibwa era ne bamwebaza olw’ekirabo eky’obulamu kye yabawa. *​—Zabbuli 8:3, 4; 36:9; Okubikkulirwa 4:11.

12. Lwaki olunaku lwe tufiirako lusinga lwe tuzaalibwa?

12 Omubuulizi 7:1 lugamba nti: “Erinnya eddungi lisinga amafuta amalungi, n’olunaku olw’okufiirako lusinga olw’okuzaalibwako.” “Erinnya eddungi” ye nkolagana ennungi gye tuba tufunye ne Katonda mu kiseera kye tuba tumaze nga tumuweereza n’obwesigwa. Katonda teyeerabira abo abafa nga beesigwa era ajja kubazuukiza mu biseera eby’omu maaso. (Yobu 14:14, 15) Kikulu okukitegeera nti omukolo gwokka Abakristaayo gwe baalagirwa okukuza kwe kufa kwa Yesu, so si amazaalibwa ge, era “erinnya” lye eddungi litusobozesa okulokolebwa.​—Abebbulaniya 1:3, 4; Lukka 22:17-20.

PPAASIKA

13, 14. Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ppaasika?

13 Ppaasika lunaku lukulu mu Kristendomu era kigambibwa nti lukuzibwa okujjukira okuzuukira kwa Kristo. Naye ddala Kristo yalagira abagoberezi be okujjukiranga okuzuukira kwe? Nedda. Ebitabo by’eby’afaayo biraga nti Ppaasika teyakuzibwanga Bakristaayo b’omu kyasa ekyasooka era yasibuka mu ddiini ez’edda ez’ekikaafiiri. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Tewali wonna we kiragibwa mu Ndagaano Empya nti Ppaasika yakuzibwanga. . . . Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebalina lunaku lwonna lwe baatwalanga okuba olutukuvu.”

14 Ddala kiyinza okusanyusa Yakuwa abantu bwe bakuza olunaku olusibuka mu ddiini ez’ekikaafiiri nga bagamba nti bajjukira okuzuukira kw’Omwana we? Nedda. (2 Abakkolinso 6:17, 18) Mu butuufu, Ebyawandiikibwa tebiragira kukuza mazaalibwa ga Yesu.

OLUNAKU LW’ABATUUKIRIVU N’OLUNAKU LW’ABAFU

15. Olunaku lw’Abatuukirivu n’Olunaku lw’Abafu byasibuka wa?

15 Olunaku lw’abatuukirivu lwe lunaku Abakatuliki kwe bajjukirira “abatuukirivu” baabwe era lukuzibwa nga Noovemba 1. Tekimanyiddwa bulungi lwaki lukuzibwa ku lunaku olwo. Ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kiraga nti luyinza okuba nga lwasibuka mu Baseluti (Celts), abakaafiiri abaabeeranga mu Bungereza ne mu bitundu ebirala eby’omu Bulaaya. Ekitabo ekyo kigamba nti “Kiyinzika okuba nti ekyaleetera Abakristaayo okutandika okukuza olunaku lw’abatuukirivu kwe kuba nti bakabona b’Abaseluti nabo baalina omukolo kwe baali bajjukirira abafu, ogwayitibwanga Samhain.” Ekitabo kye kimu kyogera bwe kiti ku Lunaku lw’Abafu, olwabangawo nga Noovemba 2: “Wakati w’emyaka 500 ne 1500 kyalowoozebwanga nti abantu abali mu puligaatooli baalabikiranga abo abaali babayisizza obubi nga bakyali balamu.” Okuwaayo emmere eri abafu, okugendanga ku limbo, era n’emikolo emirala egy’edda bikyagobererwa n’okutuusa leero. Kya lwatu, emikolo gino gigulumiza enzikiriza n’obulombolombo eby’omuzizo eri Yakuwa, Katonda ow’amazima.

WEEWALE EBINTU EBITALI BIRONGOOFU KU MBAGA YO

16, 17. Lwaki Abakristaayo abateekateeka okuyingira obufumbo basaanidde okukozesa Bayibuli okwekenneenya obulombolombo obutera okukolebwa ku mbaga?

16 Mu kiseera ekitali kya wala, ‘eddoboozi ly’omugole omukazi n’omugole omusajja terijja kuddamu kuwulirwa mu Babulooni Ekinene.’ (Okubikkulirwa 18:23) Lwaki? Kubanga Babulooni Ekinene kijja kuba kiggiddwawo, nga tekikyaliwo. Lwaki kigenda kuggibwawo? Ensonga emu egenda okukiggisaawo bye bikolwa by’akyo eby’obusamize, ebisobola n’okwonoona obufumbo okuviira ddala ku lunaku lw’embaga.

17 Obulombolombo bwawukana mu buli nsi. Obulombolombo obumu obuyinza okulabika ng’obutali bubi buyinza okuba nga bwasibuka mu Babulooni era nga kyalowoozebwanga nti bwaleeteranga abagole awamu n’abagenyi baabwe ‘emikisa.’ (Isaaya 65:11) Kya lwatu, abo bonna abaagala okusigala mu kwagala kwa Katonda balina okwewala obulombolombo ng’obwo.​—Soma 2 Abakkolinso 6:14-18.

18. Misingi ki egy’omu Bayibuli egiyinza okuwa obulagirizi abo abateekateeka embaga awamu n’abo be banaayita?

18 Ate era abaweereza ba Yakuwa beewala empisa z’ensi ezisobola okuvumaganya embaga zaabwe oba okulumya omuntu ow’omunda ow’abalala. Ng’ekyokulabirako, beewala okwogera ebigambo ebirumya oba eby’obuwemu era beewala n’okusaagirira mu ngeri esobola okuswaza abo abaakafumbiriganwa oba abalala. (Engero 26:18, 19; Lukka 6:31; 10:27) Era beewala okukola embaga nga balina ekiruubirirwa ‘eky’okweraga olw’ebintu bye balina mu bulamu.’ (1 Yokaana 2:16) Bw’oba oteekateeka embaga, tokyerabiranga nti Yakuwa ayagala ojjukirenga olunaku lw’embaga yo n’essanyu so si kulwejjusa. *

OKUWANIKA AMAGIRAASI​—KALOMBOLOMBO KA DDIINI?

19, 20. Ekitabo ekimu kyogera ki ku nsibuko y’okuwanika amagiraasi, era lwaki Abakristaayo tebasaanidde kugoberera kalombolombo kano?

19 Okuwanika amagiraasi omuli omwenge kikolebwa nnyo ku mbaga z’obugole ne ku mikolo emirala. Ekitabo ekiyitibwa International Handbook on Alcohol and Culture ekya 1995 kigamba nti: “Okuwanika amagiraasi . . . kalombolombo ak’edda akaali kazingiramu okuwaayo omwenge eri bakatonda era kakyagobererwa ne mu kiseera kino . . . Baawangayo omwenge basobole okufuna emikisa era baayogeranga ebigambo gamba nga ‘owangaale’ oba ‘nkwagaliza obulamu obulungi!’”

20 Kyo kituufu nti abantu bangi okuwanika amagiraasi bayinza obutakitwala ng’akalombolombo akaasibuka mu ddiini ez’obulimba. Wadde kiri kityo, akalombolombo ako kayinza okutwalibwa ng’okusaba omukisa okuva mu “ggulu,” ekintu ekikontana n’Ebyawandiikibwa.​—Yokaana 14:6; 16:23. *

‘MMWE ABAAGALA YAKUWA MUKYAWE EBIBI’

21. Bikujjuko ki Abakristaayo bye basaanidde okwewala ka bibe nti tebyasibuka mu ddiini ez’obulimba, era lwaki?

21 Ensi ezimu zitegekawo ebikujjuko buli mwaka ebibaamu amazina agasiikuula okwegomba okw’okwegatta ng’ate oluusi bigulumiza n’enneeyisa y’abalya ebisiyaga. Ekyo kyoleka nti empisa ziserebye nnyo mu nsi leero. Babulooni Ekinene nakyo kivunaanyizibwa ku kusereba kw’empisa ng’okwo. Kyandibadde kisaanira Omukristaayo okulaba oba okugenda ku mikolo egiriko ebintu ng’ebyo? Singa akola ekyo, ddala kiba kiraga nti akyayira ddala ebintu ebibi? (Zabbuli 1:1, 2; 97:10) Nga kiba kirungi nnyo okuba n’endowooza y’omuwandiisi wa zabbuli eyasaba nti: “Wunjula amaaso gange galeme kutunuulira bitagasa”!​—Zabbuli 119:37.

22. Mikolo gya ngeri ki Omukristaayo gy’ayinza okusalawo okwenyigiramu ng’asinziira ku muntu we ow’omunda?

22 Ku nnaku enkulu ez’ensi, Omukristaayo alina okwegendereza ennyo engeri gye yeeyisaamu ereme okuwa abalala ekifaananyi nti naye akuza ennaku ezo. Pawulo yagamba nti: “Obanga mulya, nga munywa, oba nga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Abakkolinso 10:31; laba akasanduuko “ Okusalawo mu Ngeri ey’Amagezi,” ku lupapula 158-159.) Ku luuyi olulala, bwe kiba nti akalombolombo oba omukolo tebirina kakwate na ddiini oba na bya bufuzi, era nga tewali musingi gwa Bayibuli gumenyebwa, awo buli Mukristaayo aba alina okwesalirawo obanga anaagwenyigiramu. Ate era, alina okulaba nti ekyo kyasalawo tekyesitazza balala.

WA KATONDA EKITIIBWA MU BIGAMBO NE MU BIKOLWA

23, 24. Tuyinza tutya okunnyonnyola abalala ensonga lwaki tetwenyigira mu mikolo egimu?

23 Abantu bangi bakitwala nti ennaku ezimu enkulu kaba kakisa ak’okubeerako awamu n’ab’omu maka gaabwe oba ne mikwano gyabwe. Bwe kityo, singa omuntu akitwala nti bwe tutazeenyigiramu tuba tetwoleka kwagala, tusobola okubagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baagala nnyo okubeerako awamu n’ab’omu maka gaabwe oba ne mikwano gyabwe. (Engero 11:25; Omubuulizi 3:12, 13; 2 Abakkolinso 9:7) Tunyumirwa nnyo okubeerako awamu nabo, kyokka, olw’okuba twagala Katonda n’emitindo gye, bwe tukuŋŋaana awamu, twewala obulombolombo obumunyiiza.​—Laba akasanduuko “ Okusinza okw’Amazima Kuleeta Essanyu Ppitirivu,” ku lupapula 156.

24 Abajulirwa abamu basobodde okukubaganya ebirowoozo n’abantu abeesimbu nga bakozesa ebyo ebiri mu ssuula 16 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza. * Kyokka, kijjukire nti ekigendererwa kyaffe kwe kutuuka ku mitima gy’abantu so si kuwakana nabo. N’olwekyo, basseemu ekitiibwa, beera mukkakkamu, era ‘ebigambo byo bulijjo bibeerenga bya kisa era nga binoze omunnyo.’​—Abakkolosaayi 4:6.

25, 26. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okunyweza okukkiriza kwabwe era n’okwagala kwe balina eri Yakuwa?

25 Ng’abaweereza ba Yakuwa, tuyigiriziddwa bulungi. Tumanyi ensonga lwaki tukkiriza era tukola ebintu ebimu era n’ensonga lwaki twewala ebintu ebirala. (Abebbulaniya 5:14) N’olwekyo, abazadde muyigirize abaana bammwe emisingi gya Bayibuli. Bwe mukola bwe mutyo, muba munyweza okukkiriza kwabwe, muba mubayamba okukozesa Bayibuli nga baddamu abo abababuuza ebikwata ku nzikiriza zaabwe, era muba mubakakasa nti Yakuwa abaagala.​—Isaaya 48:17, 18; 1 Peetero 3:15.

26 Abo bonna abasinza Katonda “mu mwoyo n’amazima” tebakoma ku kwewala emikolo egikontana n’Ebyawandiikibwa kyokka, naye era bafuba okubeera abeesigwa mu mbeera zonna ez’obulamu bwabwe. (Yokaana 4:23) Bangi leero obwesigwa babutwala ng’ekintu ekitali kikulu. Naye nga bwe tujja okulaba mu ssuula eddako, amakubo ga Katonda bulijjo ge gasingayo obulungi.

^ lup. 3 Laba akasanduuko “ Nneenyigire mu Mukolo Guno?” ku lupapula 148-149. Ennaku nnyingi ezitwalibwa “ng’enkulu” n’emikolo egitali gimu bisangibwa mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 5 Okusinziira ku ebyo ebiri mu Bayibuli ne ku byafaayo, Yesu ayinza okuba yazaalibwa mu 2 E.E.T. mu mwezi oguyitibwa Esanimu, ku kalenda y’Abayudaaya. Omwezi ogwo gwavanga mu makkati ga Ssebutemba okutuuka mu makkati ga Okitobba.​—Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 56-57, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 11 Laba akasanduuko “ Ennaku ‘Entukuvu’ n’Okusinza Sitaani,” ku lupapula 150.

^ lup. 11 Amateeka gaali geetaaza omukyala, oluvannyuma lw’okuzaala, aweeyo ssaddaaka olw’ekibi eri Katonda. (Eby’Abaleevi 12:1-8) Ekyo kyajjukizanga Abayisirayiri nti abaana ababa bazaaliddwa baasikiranga ekibi okuva ku bazadde baabwe era kyabayamba obutagulumiza mazaalibwa. Era kiyinza okuba nga kye kyabaleetera obutagoberera bulombolombo obw’ekikaafiiri obw’okukuza amazaalibwa.​—Zabbuli 51:5.

^ lup. 18 Laba ebitundu ebikwata ku mbaga ez’obugole n’embaga endala mu Watchtower eya Okitobba 15, 2006, olupapula 18-31.

^ lup. 20 Laba Watchtower eya Febwali 15, 2007, olupapula 30-31.

^ lup. 24 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.