Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 12

“Baayogera n’Obuvumu olw’Okuba Baafuna Obuyinza Okuva eri Yakuwa”

“Baayogera n’Obuvumu olw’Okuba Baafuna Obuyinza Okuva eri Yakuwa”

Pawulo ne Balunabba baayoleka obwetoowaze, obugumiikiriza, n’obuvumu

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 14:1-28

1, 2. Biki ebibaawo nga Pawulo ne Balunabba bali mu Lusitula?

 WALIWO akakyankalano ak’amaanyi mu Lusitula. Omusajja eyazaalibwa nga mulema abuukabuuka olw’essanyu oluvannyuma lw’abasajja babiri b’atamanyi okumuwonya. Ekyo abantu kibawuniikiriza nnyo, era balowooza nti abasajja abo bakatonda. Kabona wa Zewu abaleetera emige gy’ebimuli era ateekateeka n’okusaddaaka ente ennume. Pawulo ne Balunabba boogerera waggulu nga bawakanya ekyo abantu kye baagala okubakolera. Bayuza ebyambalo byabwe ne bagenda mu bantu nga babeegayirira obutabasinza, era kata balemererwe okubaziyiza okubasinza.

2 Oluvannyuma Abayudaaya abavudde mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya ne mu Ikoniyo abaziyiza omulimu gw’okubuulira batuuka. Boogera ebintu eby’obulimba ku Pawulo ne Balunabba ne baleetera abantu b’omu Lusitula okubeefuulira. Abantu abo ababadde baagala okusinza Pawulo ne Balunabba kati batandika okukuba Pawulo amayinja era n’azirika. Nga bamaze okumalira obusungu bwabwe ku Pawulo, bamuwalula ne bamusuula ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu ssuula eno?

3 Biki ebyaviirako embeera eyo okubaawo? Kiki ababuulizi b’amawulire amalungi leero kye bayinza okuyigira ku ebyo ebyaliwo ebikwata ku Balunabba ne Pawulo n’abantu b’omu Lusitula abaali bakyuka amangu mu ndowooza? Abakadde bayinza batya okukoppa Balunabba ne Pawulo abaabuulira n’obugumiikiriza nga ‘boogera n’obuvumu olw’obuyinza bwe baafuna okuva eri Yakuwa.’​—Bik. 14:3.

‘Abantu Bangi Baafuuka Bakkiriza’ (Bik. 14:1-7)

4, 5. Lwaki Pawulo ne Balunabba baagenda mu Ikoniyo, era kiki ekyaliwo nga batuuseeyo?

4 Ennaku ntono emabega, Pawulo ne Balunabba baali bagobeddwa mu kibuga Antiyokiya eky’omu Pisidiya oluvannyuma lw’Abayudaaya okukuma omuliro mu bantu ne babeefuulira. Kyokka abasajja abo tebaggwaamu maanyi, era ‘baakunkumula enfuufu y’ebigere byabwe’ okulaga nti baali tebavunaanyizibwa ku ekyo ekyandituuse ku bantu b’omu kibuga ekyo olw’okugaana okuwuliriza. (Bik. 13:50-52; Mat. 10:14) Pawulo ne Balunabba baatambula ne bava mu kibuga ekyo mirembe, ne baleka abantu abo Katonda y’aba abasalira omusango. (Bik. 18:5, 6; 20:26) Abaminsani abo ababiri beeyongerayo ku lugendo lwabwe nga basanyufu. Baatambula mayiro nga 100 nga badda mu bukiikaddyo ne batuuka mu kitundu ekyali wakati w’ensozi za Tawulusi ne Sulutani, era ekyali ekigimu.

5 Mu kusooka, Pawulo ne Balunabba baagendako mu Ikoniyo, ekibuga omwali abantu abaali bagoberera obuwangwa bw’Abayonaani, era ekyali ekimu ku bibuga ebikulu eby’omu ssaza lya Ggalatiya. a Ekibuga kino kyalimu Abayudaaya n’abakyufu bangi. Ng’enkola ya Pawulo ne Balunabba bwe yali, baagenda mu kkuŋŋaaniro ne batandika okuyigiriza. (Bik. 13:5, 14) ‘Baayogera bulungi nnyo,’ ne kiba nti ‘Abayudaaya n’Abayonaani bangi bafuuka bakkiriza.’​—Bik. 14:1.

6. Lwaki Pawulo ne Balunabba baali bayigiriza balungi, era tuyinza tutya okubakoppa?

6 Lwaki ebyo Pawulo ne Balunabba bye baayogera byakwata nnyo ku bantu? Pawulo yali amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. Yannyonnyola abantu ng’akozesa ebyafaayo, obunnabbi, n’Amateeka ga Musa, n’akiraga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. (Bik. 13:15-31; 26:22, 23) Ate ye Balunabba yayogeranga mu ngeri eyali eraga nti afaayo nnyo ku bantu. (Bik. 4:36, 37; 9:27; 11:23, 24) Abasajja abo bombi tebeesigamanga ku magezi gaabwe, wabula baayogeranga olw’obuyinza bwe “baafuna okuva eri Yakuwa.” Oyinza otya okubakoppa ng’okola omulimu gw’okubuulira? Osobola okubakoppa ng’okola ebintu bino: Fuba okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda. Londa ebyawandiikibwa ebinaakwata ku mitima gy’abantu. Fuba okumanya engeri gy’oyinza okuzzaamu amaanyi abo b’obuulira. Bulijjo by’oyigiriza byesigamye ku Kigambo kya Katonda so si ku magezi go.

7. (a) Amawulire amalungi gakwata gatya ku bantu? (b) Ab’eŋŋanda zo bwe baba nga bakuyigganya olw’okukolera ku ebyo by’oyiga mu Bayibuli, kiki ky’osaanidde okujjukira?

7 Kyokka abantu abamu mu Ikoniyo tebaasanyuka kuwulira ebyo Pawulo ne Balunabba bye baali bayigiriza. Lukka yagamba nti: “Abayudaaya abatakkiriza ne basiga omutima omubi mu b’Amawanga ne babaleetera okukyawa ab’oluganda.” Pawulo ne Balunabba baakiraba nti kyali kyetaagisa okusigala mu kibuga ekyo balwanirire amawulire amalungi, era ‘baamalamu ekiseera kiwanvu nga boogera n’obuvumu.’ N’ekyavaamu, “abantu b’omu kibuga ekyo beeyawulamu, abamu ne badda ku ludda lw’Abayudaaya, abalala ku lw’abatume.” (Bik. 14:2-4) Ne leero amawulire amalungi bwe gatyo bwe gakwata ku bantu. Abamu gabaleetera okuba obumu, ate abalala gabaleetera okuba n’enjawukana. (Mat. 10:34-36) Ab’eŋŋanda zo bwe baba nga bakuyigganya olw’okuba ossa mu nkola ebyo by’oyiga mu Bayibuli, kijjukire nti emirundi mingi okuyigganya kutera kuva ku bintu eby’obulimba ebitwogerwako. Enneeyisa yo ennungi esobola okuyamba abo abakuyigganya okukimanya nti ebintu ebitwogerwako bya bulimba, era oluvannyuma bayinza okukyusa endowooza yaabwe.​—1 Peet. 2:12; 3:1, 2.

8. Lwaki Pawulo ne Balunabba baava mu Ikoniyo, era kiki kye tubayigirako?

8 Oluvannyuma lw’ekiseera, abantu abamu mu Ikoniyo baakola olukwe okukuba Pawulo ne Balunabba amayinja. Ekyo abaminsani abo ababiri bwe baakimanya, baasalawo okugenda okubuulira mu kitundu ekirala. (Bik. 14:5-7) Ababuulizi b’Obwakabaka leero nabo bakola kye kimu. Bwe batuvuma oba bwe batwogerako eby’obulimba, twogera n’obuvumu okulwanirira amazima. (Baf. 1:7; 1 Peet. 3:13-15) Naye bwe baba nga baagala okutukolako ebikolwa eby’obukambwe, twewala okussa obulamu bwaffe oba obwa bakkiriza bannaffe mu kabi.​—Nge. 22:3.

“Mudde eri Katonda Omulamu” (Bik. 14:8-19)

9, 10. Lusitula kyali kisangibwa wa, era kiki kye tumanyi ku bantu baayo?

9 Pawulo ne Balunabba baagenda mu Lusitula, ekibuga ekyali kyesudde mayiro nga 20 ebukiikaddyo wa Ikoniyo. Lusitula kyalina akakwate ka maanyi ne Antiyokiya eky’omu Pisidiya. Naye okwawukana ku Antiyokiya eky’omu Pisidiya, mu Lusitula temwalimu Bayudaaya bangi. Wadde nga kirabika abantu b’omu Lusitula baali boogera Oluyonaani, olulimi lwabwe lwali Lulukawoniya. Oboolyawo olw’okuba ekibuga kino tekyalimu kkuŋŋaaniro, ye nsonga lwaki Pawulo ne Balunabba baabuulirira mu kibangirizi kyakyo ekya lukale. Peetero bwe yali mu Yerusaalemi, yawonya omusajja eyali yazaalibwa nga mulema. Ate mu Lusitula, Pawulo naye yawonya omusajja eyali yazaalibwa nga mulema. (Bik. 14:8-10) Olw’ekyamagero Peetero kye yakola, abantu bangi baafuuka bakkiriza. (Bik. 3:1-10) Kyokka ebyava mu kyamagero Pawulo kye yakola byali bya njawulo nnyo.

10 Nga bwe kyayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno, omusajja eyali omulema bwe yabuukabuuka, abantu b’omu Lusitula abaali basinza bakatonda ab’obulimba baalowooza nti Pawulo ne Balunabba baali bakatonda. Balunabba baamuyita Zewu, omukulu wa bakatonda, ate Pawulo ne bamuyita Kerume, mutabani wa Zewu, era omwogezi wa bakatonda. (Laba akasanduuko “ Lusitula n’Abantu Abaali Basinza Zewu ne Kerume.) Kyokka Balunabba ne Pawulo baali bamalirivu okuyamba abantu abo okukitegeera nti bye baayogera ne bye baakola Yakuwa ye yali abasobozesezza okubikola so si bakatonda.​—Bik. 14:11-14.

‘Muleke ebintu bino ebitaliimu, mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi.’​—Ebikolwa 14:15

11-13. (a) Biki Pawulo ne Balunabba bye baagamba abantu b’omu Lusitula? (b) Kintu ki ekimu kye tuyigira ku bigambo bya Pawulo ne Balunabba?

11 Wadde ng’ebyo byali bwe bityo, Pawulo ne Balunabba baafuba okutuuka ku mitima gy’abo abaali babawuliriza. Weetegereze ekyokulabirako ekirungi kye baatuteerawo ku ngeri y’okubuuliramu amawulire amalungi abantu abakkiririza mu bakatonda ab’obulimba. Baagamba abantu abaali babawuliriza nti: “Lwaki mukola ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, era tubabuulira amawulire amalungi musobole okuleka ebintu bino ebitaliimu, mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebintu byonna ebibirimu. Mu biseera ebyayita yaleka amawanga gonna okutambulira mu makubo gaago, wadde nga yeewaako obujulirwa ng’akola ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo, ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.”​—Bik. 14:15-17.

12 Biki bye tuyigira ku bigambo ebyo? Ekisooka, Pawulo ne Balunabba tebeetwala nti baali ba waggulu ku bantu abaali babawuliriza. Tebeefuula ekyo kye bataali. Mu kifo ky’ekyo, baakyoleka nti nabo baalina obunafu ng’obw’abantu abo abaali basinza bakatonda ab’obulimba. Kyo kituufu nti Pawulo ne Balunabba baali baweereddwa omwoyo omutukuvu era nga basumuluddwa okuva mu buddu bw’enjigiriza ez’obulimba. Ate era baali baweereddwa essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo. Naye baali bakimanyi nti abantu b’omu Lusitula nabo bandifunye ebirabo ebyo bwe bandigondedde Kristo.

13 Tutwala tutya abantu be tubuulira? Tukitwala nti twenkana nabo? Bwe tuba tuyamba abantu okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda, naffe okufaananako Pawulo ne Balunabba, twewala okwenoonyeza ebitiibwa? Ow’oluganda Charles Taze Russell, eyali omuyigiriza omulungi ennyo, era eyawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira ku nkomerero y’ekyasa ekya 19 ne ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku nsonga eno. Yagamba nti: “Tetwagala kuweebwa bitiibwa olw’ekyo kye tuli oba olw’ebyo bye tuwandiika. Era tetwagala kuyitibwa bitiibwa bitugulumiza.” Ow’oluganda Russell yali mwetoowaze nga Pawulo ne Balunabba. Okufaananako ab’oluganda abo, naffe bwe tuba tubuulira tetusaanidde kwenoonyeza bitiibwa, wabula tusaanidde okufuba okuyamba abantu okudda eri “Katonda omulamu.”

14-16. Biki ebirala bye tuyigira ku ebyo Pawulo ne Balunabba bye baagamba abantu b’omu Lusitula?

14 Lowooza ku kintu eky’okubiri kye tuyiga. Pawulo ne Balunabba baali bakyusakyusa mu ngeri gye baali babuuliramu okusinziira ku mbeera z’abantu. Okwawukana ku Bayudaaya n’abakyufu ab’omu Ikoniyo, abantu b’omu Lusitula baali bamanyi kitono nnyo oba nga tebalina kye bamanyi ku Byawandiikibwa ne ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isirayiri. Wadde kyali kityo, abantu abo baali balimi. Embeera y’obudde mu Lusitula yali nnungi era n’ettaka lyayo lyali ggimu. Abantu abo baali basobola okulaba ebintu ebyali byoleka engeri za Yakuwa, gamba ng’emmere okubala mu biseera byayo. Pawulo ne Balunabba baakozesa ebintu ebyo bye baali bakkiriziganyako n’abantu abo okubayamba okutegeera bye baali bababuulira.​—Bar. 1:19, 20.

15 Naffe tusobola okukyusakyusa mu ngeri gye tubuuliramu? Wadde ng’omulimi ayinza okusiga ekika ky’ensigo kye kimu mu nnimiro ez’enjawulo, akyusakyusaamu mu nkola z’akozesa okuteekateeka ettaka ly’asigamu. Ettaka erimu liyinza okuba nga ggonvu era nga ky’alina okukola kyokka kwe kulisigamu ensigo. Ettaka eddala liyinza okuba nga lyetaaga okusooka okuteekebwateekebwa ennyo. Mu ngeri y’emu, ensigo gye tusiga y’emu, nga buno bwe bubaka bw’Obwakabaka bwa Katonda. Naye bwe tuba nga Pawulo ne Balunabba, tujja kufuba okutegeera embeera z’abantu be tubuulira ne bye bakkiririzaamu. Ekyo kijja kutuyamba okukyusakyusa mu ngeri gye tubabuuliramu obubaka bw’Obwakabaka.​—Luk. 8:11, 15.

16 Waliwo ekintu eky’okusatu kye tuyigira ku ebyo ebikwata ku Pawulo ne Balunabba n’abantu b’omu Lusitula. Oluusi ne bwe tufuba tutya, ensigo gye tusiga Omulyolyomi agiggya mu mutima gw’omuntu oba egwa ku ttaka ery’enjazi. (Mat. 13:18-21) Ekyo bwe kibaawo, tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Tusaanidde okujjukira ekyo Pawulo kye yagamba abayigirizwa mu Rooma nti “buli omu ku ffe [nga mw’otwalidde buli muntu gwe tukubaganya naye ebirowoozo ku Kigambo kya Katonda] alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.”​—Bar. 14:12.

‘Baabakwasa Yakuwa’ (Bik. 14:20-28)

17. Oluvannyuma lw’okuva mu Derube, wa Pawulo ne Balunabba gye baalaga, era lwaki?

17 Oluvannyuma lw’abantu b’omu Lusitula okuwalula Pawulo ne bamusuula ebweru w’ekibuga nga balowooza nti yali afudde, abayigirizwa bajja ne bamwetooloola. Yasituka n’agenda n’abaako w’asula mu kibuga ekyo. Olunaku olwaddako, Pawulo ne Balunabba baatandika okutambula olugendo lwa mayiro 60 okugenda e Derube. Olw’okuba waali wayise essaawa ntono nga Pawulo amaze okukubibwa amayinja, olugendo olwo luteekwa okuba nga terwamwanguyira kutambula. Wadde kyali kityo, ye ne Balunabba baafuba okulutambula, era bwe baatuuka e Derube, baafuula abantu “abatonotono abayigirizwa.” Oluvannyuma, mu kifo ky’okukwata ekkubo eryandibatuusizza amangu eka waabwe mu Antiyokiya ekya Busuuli, “baddayo mu Lusitula, mu Ikoniyo, ne mu Antiyokiya [eky’omu Pisidiya].” Lwaki? Basobole ‘okugumya abayigirizwa era babakubirize okunywerera mu kukkiriza.’ (Bik. 14:20-22) Abasajja abo nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Baakulembeza ebyetaago by’ekibiina mu kifo ky’okukulembeza bo bye baagala. Leero abalabirizi abakyalira ebibiina awamu n’abaminsani bakoppa ekyokulabirako kyabwe.

18. Kiki ekizingirwa mu kulonda abakadde?

18 Ng’oggyeeko okuzzaamu abayigirizwa amaanyi okuyitira mu bigambo ne mu kyokulabirako kye bassaawo, “mu buli kibiina,” Pawulo ne Balunabba “baalonderamu abakadde.” Wadde nga ku lugendo luno Pawulo ne Balunabba baali ‘batumiddwa omwoyo omutukuvu,’ bwe baali balonda abakadde baasaba, ne basiiba, era “ne babakwasa Yakuwa.” (Bik. 13:1-4; 14:23) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ow’oluganda bw’aba tannalondebwa kuweereza ng’omukadde, abakadde b’omu kibiina mw’aba basooka kusaba era ne balaba obanga atuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. (1 Tim. 3:1-10, 12, 13; Tit. 1:5-9; Yak. 3:17, 18; 1 Peet. 5:2, 3) Ebbanga ly’aba amaze mu kibiina kya Yakuwa si ye nsonga enkulu esinziirwako okumulonda. Mu kifo ky’ekyo, ow’oluganda oyo ateekwa okuba ng’akyoleka mu nneeyisa ye ne mu ebyo by’ayogera nti akolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Bw’aba ng’atuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’omulabirizi ebiragibwa mu Byawandiikibwa, kiba kiraga nti asobola okuba omukadde mu kibiina. (Bag. 5:22, 23) Omulabirizi akyalira ebibiina y’alina obuvunaanyizibwa okulonda abakadde.​—Geraageranya 1 Timoseewo 5:22.

19. Abakadde bakimanyi nti bavunaanyizibwa eri ani, era bakoppa batya Pawulo ne Balunabba?

19 Abakadde abalondebwa bakimanyi nti bavunaanyizibwa eri Katonda olw’engeri gya bayisaamu ekibiina. (Beb. 13:17) Okufaananako Pawulo ne Balunabba, abakadde be bakulemberamu abalala mu mulimu gw’okubuulira. Bazzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi okuyitira mu ebyo bye boogera. Era mu kifo ky’okukulembeza bo bye baagala, baba beetegefu okukulembeza ebyetaago by’ekibiina.​—Baf. 2:3, 4.

20. Tuganyulwa tutya bwe tusoma ebikwata ku buweereza bwa bakkiriza bannaffe?

20 Pawulo ne Balunabba bwe baddayo eka waabwe mu Antiyokiya ekya Busuuli, baabuulira bakkiriza bannaabwe “ebintu bingi Katonda bye yali akoze okuyitira mu bo, era nga bwe yali agguliddewo ab’Amawanga oluggi olutuusa ku kukkiriza.” (Bik. 14:27) Bwe tusoma ebikwata ku buweereza bwa bakkiriza bannaffe, era ne tulaba engeri Yakuwa gy’awaamu okufuba kwabwe omukisa, tuzzibwamu nnyo amaanyi ne tweyongera ‘okwogera n’obuvumu olw’okuba twafuna obuyinza okuva eri Yakuwa.’

a Laba akasanduuko “ Ikoniyo​—Ekibuga ky’Abafulugiya.”