Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 14

“Tukkiriziganyizza Ffenna”

“Tukkiriziganyizza Ffenna”

Engeri akakiiko akafuzi gye kaasalawo era n’engeri ekyo kye kaasalawo gye kyayamba ebibiina okweyongera okuba obumu

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 15:13-35

1, 2. (a) Bintu ki ebikulu akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka bye kalina okusalawo? (b) Buyambi ki ab’oluganda abo bwe bafuna okusobola okusalawo mu ngeri entuufu?

 BULI muntu alindiridde okuwulira ekyo ekigenda okusalibwawo. Abatume n’abakadde batudde mu kisenge ky’ennyumba emu mu Yerusaalemi era buli omu atunula ku munne. Bakiraba nti batuuse okusalawo ku kintu ekikulu ennyo. Ensonga ekwata ku kukomolebwa ereseewo ebibuuzo ebikulu. Abakristaayo bali wansi w’Amateeka ga Musa? Walina okubaawo enjawulo yonna wakati w’Abakristaayo Abayudaaya n’Abakristaayo ab’Amawanga?

2 Abasajja abo abatwala obukulembeze beekenneenyezza obukakafu obutali bumu. Bafumiitiriza ku bunnabbi obuli mu Kigambo kya Katonda awamu n’obujulizi abantu kinnoomu bwe bawadde obulaga endowooza ya Yakuwa. Buli omu ayogedde ky’amanyi era n’endowooza gy’alina ku nsonga eyo. Waliwo obujulizi bungi obukwata ku nsonga gye bava okukubaganyaako ebirowoozo, era kyeyoleka lwatu nti omwoyo gwa Yakuwa gubawa obulagirizi ku nsonga eyo. Abasajja abo banaakolera ku bulagirizi obwo?

3. Okwekenneenya ebyo ebiri mu Ebikolwa essuula 15 kinaatuganyula kitya?

3 Abasajja abo kibeetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi n’okuba abavumu okusobola okukolera ku bulagirizi omwoyo omutukuvu bwe guwadde ku nsonga eyo. Okukolera ku bulagirizi obwo kiyinza okuviirako abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya okweyongera okubakyawa. Ate era bayinza okuwakanyizibwa abantu abamu mu kibiina abakalambira nti abantu ba Katonda balina okugoberera Amateeka ga Musa. Kiki ab’oluganda abali ku kakiiko akafuzi kye banaakola? Ekyo tugenda kukiraba. Nga twekenneenya ebyo ebyaliwo, tugenda kulaba engeri ab’oluganda abo gye bassaawo ekyokulabirako ekirungi Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kye kakoppa leero. Ekyokulabirako ekyo naffe tusaanidde okukikoppa nga tulina ebintu bye tusalawo oba nga twolekagana n’okusoomooza okutali kumu.

“Kikwatagana n’Ebigambo bya Bannabbi” (Bik. 15:13-21)

4, 5. Bigambo ki ebya “Bannabbi” Yakobo bye yajuliza ebyayamba mu kwongera okutangaaza ku nsonga eyali eyogerwako?

4 Omuyigirizwa Yakobo, muganda wa Yesu, yatandika okwogera. a Kirabika ku olwo ye yali ssentebe w’olukuŋŋaana olwo. Ebigambo bye kirabika byalaga ekyo bonna awamu kye baali bakkiriziganyizzaako. Yakobo yagamba ab’oluganda abo abaali bakuŋŋaanye nti: “Simiyoni annyonnyodde bulungi engeri Katonda gye yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye. Ekyo kikwatagana n’ebigambo bya Bannabbi.”​—Bik. 15:14, 15.

5 Ebyo Simiyoni oba Simooni Peetero bye yayogera n’obukakafu Balunabba ne Pawulo bwe baawa, kirabika byasobozesa Yakobo okujjukira ebyawandiikibwa ebituukirawo ebyali bisobola okuyamba abaaliwo okwongera okutegeera ensonga eyali ekubaganyizibwako ebirowoozo. (Yok. 14:26) Oluvannyuma lw’okugamba nti “ekyo kikwatagana n’ebigambo bya Bannabbi,” Yakobo yajuliza ebigambo ebiri mu Amosi 9:11, 12. Ekitabo ekyo kyali mu kitundu ky’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ekyali kiyitibwa “Bannabbi.” (Mat. 22:40; Bik. 15:16-18) Weetegereze nti ebigambo Yakobo bye yajuliza byawukanamuko ku ebyo bye tusoma mu kitabo kya Amosi leero. Kirabika Yakobo yajuliza mu Septuagint, enkyusa ey’Oluyonaani ey’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.

6. Ebyawandiikibwa byayamba bitya abaali ku kakiiko akafuzi okwongera okutegeera ensonga eyali ekubaganyizibwako ebirowoozo?

6 Ng’ayitira mu nnabbi Amosi, Yakuwa yagamba nti ekiseera kyandituuse n’ayimusa “ensiisira ya Dawudi,” kwe kugamba, yanditaddewo Kabaka okuva mu lunyiriri lwa Dawudi. Ekyo kyandibaddewo okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya. (Ezk. 21:26, 27) Yakuwa yandizzeemu okuba ng’akolagana na ggwanga lya Bayudaaya lyokka? Nedda. Obunnabbi bugenda mu maaso ne bugamba nti Katonda yandireese wamu abantu ‘okuva mu mawanga gonna ab’okuyitibwa erinnya lye.’ Kijjukire nti Peetero yali yaakagamba nti Katonda “teyayawulawo wakati waffe [Abakristaayo Abayudaaya] nabo [ab’Amawanga abakkiriza], naye yatukuza emitima gyabwe olw’okukkiriza kwabwe.” (Bik. 15:9) Kyeyoleka lwatu nti Katonda yali ayagala Abayudaaya n’ab’amawanga okuba abasika b’Obwakabaka. (Bar. 8:17; Bef. 2:17-19) Tewaaliwo wonna bunnabbi obwo we bulagira nti ab’amawanga abakkiriza baalina kusooka kukomolebwa oba kusooka kufuuka bakyufu.

7, 8. (a) Kiki Yakobo kye yagamba? (b) Mu kwogera ebigambo ebyo Yakobo yali asalirawo abalala eky’okukola?

7 Ng’asinziira ku bujulizi ng’obwo okuva mu Byawandiikibwa, ne ku bujulizi obulala bwe yali amaze okuwulira, Yakobo yagamba nti: “N’olwekyo, nze ŋŋamba nti tuleme okukaluubiriza ab’amawanga abakyuka okudda eri Katonda, naye tubawandiikire tubagambe okwewala ebintu ebyonooneddwa olw’okukozesebwa mu kusinza ebifaananyi, ebikolwa eby’obugwenyufu, ebitugiddwa, n’omusaayi. Okuva edda n’edda, mu buli kibuga mubaddengamu ababuulira ebiri mu bitabo bya Musa, kubanga buli ssabbiiti bibaddenga bisomebwa mu makuŋŋaaniro mu ddoboozi eriwulikika obulungi.”​—Bik. 15:19-21.

8 Yakobo bwe yayogera ebigambo ebyo yandiba nga yali akozesa obuyinza bwe okusalirawo abalala eky’okukola olw’okuba ye yali ssentebe? Nedda! Yakobo bwe yagamba nti “nze ŋŋamba nti,” yali tagezaako kukozesa buyinza bwe kusalirawo balala, wabula yali abakubiriza okufumiitiriza ku ekyo kye baali basaanidde okukolawo oluvannyuma lw’okuwulira obujulizi obwaweebwa n’Ebyawandiikibwa kye byogera ku nsonga eyo.

9. Birungi ki ebyali mu kiteeso kya Yakobo?

9 Ekiteeso kya Yakobo kyali kirungi? Yee, kubanga abatume bonna n’abakadde baakikkiriza era oluvannyuma ne bakikolerako. Birungi ki ebyakirimu? Okusookera ddala, kyandibadde ‘tekikaluubiriza’ Bakristaayo b’amawanga, kwe kugamba, bandibadde tebatikkibwa mugugu gwa kukwata Mateeka ga Musa. (Bik. 15:19) Ate era okukikolerako kyandiraze nti omuntu ow’omunda ow’Abakristaayo Abayudaaya assibwamu ekitiibwa, kubanga baali bamaze emyaka mingi nga bawulira ebyo ‘ebiri mu bitabo bya Musa nga bisomebwa mu makuŋŋaaniro mu ddoboozi eriwulikika obulungi’ buli ssabbiiti. b (Bik. 15:21) Okusalawo mu ngeri eyo kyandinywezezza enkolagana wakati w’Abakristaayo Abayudaaya n’Abakristaayo Abamawanga. N’okusingira ddala kyandibadde kisanyusa Yakuwa, okuva bwe kiri nti kyali kituukagana n’ekigendererwa kye. Nga baagonjoola bulungi ensonga eyo eyali eyinza okumalawo obumu n’emirembe mu kibiina ky’abantu ba Yakuwa! Era nga baateerawo Abakristaayo leero ekyokulabirako ekirungi ennyo!

Mu 1998 nga Albert Schroeder ayogera ku lukuŋŋaana olunene olubaako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo

10. Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi leero bakoppa batya ekyokulabirako ky’ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka?

10 Nga bwe kyayogerwako mu ssuula eyaggwa, okufaananako ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa leero, banoonya obulagirizi okuva eri Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, n’okuva eri Yesu Kristo, Omutwe gw’ekibiina, mu byonna bye baba bagenda okusalawo. c (1 Kol. 11:3) Ekyo bakikola batya? Ow’oluganda Albert D. Schroeder, eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi okuva mu 1974 okutuusa lwe yamaliriza obuweereza bwe ku nsi mu Maaki 2006, yagamba nti: “Ab’oluganda ku Kakiiko Akafuzi bakuŋŋaana wamu ku Lw’okusatu, era bwe baba batandika olukuŋŋaana olwo basaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu. Bafuba okulaba nti buli nsonga eyogerwako na buli ekisalibwawo kikwatagana n’Ekigambo kya Katonda, Bayibuli.” Mu ngeri y’emu, ow’Oluganda Milton G. Henschel, eyamala ekiseera kiwanvu ng’aweereza ku Kakiiko Akafuzi, era eyamaliriza obuweereza bwe ku nsi mu Maaki 2003, alina ekibuuzo kye yabuuza abayizi mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 101. Yababuuza nti, “Eriyo ekibiina ekirala kyonna ku nsi ekirina Olukiiko Olufuzi ng’abaluliko basooka kwekenneenya Kigambo kya Katonda nga baliko ekintu ekikulu kye bagenda okusalawo?” Kya lwatu nedda.

‘Beerondamu Abasajja Babatume’ (Bik. 15:22-29)

11. Ekyo akakiiko akafuzi kye kaasalawo kyategeezebwa kitya ebibiina?

11 Ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi mu Yerusaalemi baali batuuse ku nzikiriziganya era nga basazeewo ku nsonga ekwata ku kukomolebwa. Kyokka ab’oluganda mu bibiina okusobola okusigala nga bali bumu, baalina okutegeezebwa ekyo ekyali kisaliddwawo mu ngeri etegeerekeka obulungi era ey’okwagala. Ekyo kyandikoleddwa kitya? Bayibuli egamba nti: “Awo abatume n’abakadde, awamu n’ekibiina kyonna, ne basalawo okwerondamu abasajja babatume mu Antiyokiya awamu ne Pawulo ne Balunabba; baatuma Yuda ayitibwa Balusabba ne Siira, abasajja abaali batwala obukulembeze mu b’oluganda.” Ate era abasajja abo bwe baali bagenda, baaweebwa n’ebbaluwa ey’okusomebwa mu bibiina byonna mu Antiyokiya, mu Busuuli, ne mu Kirukiya.​—Bik. 15:22-26.

12, 13. Birungi ki ebyava (a) mu kutuma Yuda ne Siira? (b) mu bbaluwa eyava eri akakiiko akafuzi?

12 Okuva bwe kiri nti Yuda ne Siira baali ‘basajja abaali batwala obukulembeze mu b’oluganda,’ baalina ebisaanyizo okukiikirira akakiiko akafuzi. Okuba nti abasajja bana balamba be baatumibwa, kyalaga nti obubaka bwe baatwala eri ebibiina bwali tebukoma ku kuddamu buzzi kibuuzo ekyabuuzibwa ekyali kikwata ku kukomolebwa, wabula era bwali bulagirizi bupya obwali buvudde eri akakiiko akafuzi. Yuda ne Siira okugendera awamu ne Pawulo ne Balunabba, kyandyongedde okunyweza enkolagana wakati w’Abakristaayo Abayudaaya abaali mu Yerusaalemi n’Abakristaayo ab’Amawanga abaali mu bibiina. Mazima ddala kyali kya magezi era kyali kikolwa kya kwagala okutuma abasajja abo! Kyayongera okuleetawo emirembe n’okunyweza obumu mu bantu ba Katonda.

13 Ng’oggyeeko okuba nti ebbaluwa eyo yalimu obulagirizi obwali butegeerekeka obulungi obukwata ku nsonga y’okukomolebwa, era yalimu n’obulagirizi obulala obwali bulaga ekyo Abakristaayo ab’amawanga kye baalina okukola okusobola okufuna emikisa gya Katonda. Ensonga enkulu eyali mu bbaluwa eyo yali egamba bw’eti: “Omwoyo omutukuvu naffe, tusazeewo obutayongera kubatikka mugugu mulala, okuggyako ebintu bino ebyetaagisa: okwewalanga ebintu ebiweereddwayo eri ebifaananyi, omusaayi, ebitugiddwa, n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Bwe muneewalanga ebintu ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba!”​—Bik. 15:28, 29.

14. Kiki ekisobozesa abantu ba Yakuwa okuba obumu mu nsi eno ejjudde enjawukana?

14 Leero Abajulirwa ba Yakuwa basukka mu 8,000,000 era bali mu bibiina ebisukka 100,000. Bonna bali bumu mu ebyo bye bakkiriza ne bye bakola. Kiki ekibasobozesa okuba obumu mu nsi eno ejjudde obutabanguko n’enjawukana? Okusingira ddala bwe bulagirizi obutegeerekeka obulungi Yesu Kristo, Omutwe gw’ekibiina, bw’awa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ kwe kugamba, Akakiiko Akafuzi. (Mat. 24:45-47) Ekintu ekirala ekisobozesa Abajulirwa ba Yakuwa okuba obumu kwe kuba nti bakolera ku bulagirizi bwe bafuna okuva eri Akakiiko Akafuzi.

‘Baasanyuka olw’Ebigambo Ebizzaamu Amaanyi’ (Bik. 15:30-35)

15, 16. Biki ebyava mu ekyo ekyasalibwawo ku nsonga ekwata ku kukomolebwa, era kiki ekyasobozesa ekyo okubaawo?

15 Ab’oluganda abaatumibwa okuva e Yerusaalemi bwe batuuka mu Antiyokiya, ‘baakuŋŋaanya abayigirizwa bonna ne babakwasa ebbaluwa.’ Ab’oluganda mu Antiyokiya baakwatibwako batya nga bafunye obulagirizi okuva eri akakiiko akafuzi? Bayibuli egamba nti: “Bwe baamala [okusoma ebbaluwa], ne basanyuka olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi ebyagirimu.” (Bik. 15:30, 31) Ate era Yuda ne Siira, “baayogera eri ab’oluganda emirundi mingi ne babazzaamu amaanyi era ne babagumya.” Mu ngeri eyo, abasajja abo ababiri baali “bannabbi,” era nga Balunabba ne Pawulo awamu n’abalala bwe baali bannabbi. Ekigambo bannabbi kitegeeza abo abalangirira oba abategeeza abalala Katonda by’ayagala.​—Bik. 13:1; 15:32; Kuv. 7:1, 2.

16 Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa yawa enteekateeka eyo yonna omukisa ne kisobozesa ensonga eyo okugonjoolwa obulungi. Lwaki ebyavaamu byali birungi nnyo? Olw’okuba obulagirizi ab’oluganda ku kakiiko akafuzi bwe baawa bwali butegeerekeka bulungi era bwajjira mu kiseera ekituufu. Bwali bwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, era baafuba okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Okugatta ku ekyo, ebyo ebyasalibwawo byategeezebwa ebibiina mu ngeri ey’okwagala.

17. Abalabirizi abakyalira ebibiina leero bakoppa batya ekyokulabirako kya Pawulo, Balunabba, Yuda, ne Siira?

17 Nga kagoberera ekyokulabirako ekyo, Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa leero kawa ab’oluganda mu nsi yonna obulagirizi mu kiseera ekituufu. Byonna ebisalibwawo bitegeezebwa ebibiina mu ngeri etegeerekeka obulungi. Obulagirizi obwo oluusi buyitira mu balabirizi abakyalira ebibiina. Ab’oluganda abo abooleka omwoyo gw’okwefiiriza, batambula mu bibiina ebitali bimu nga batuusa ku b’oluganda obulagirizi obutegeerekeka obulungi era nga babazzaamu amaanyi. Okufaananako Pawulo ne Balunabba, bamala ebiseera bingi mu buweereza nga ‘bayigiriza era nga babuulira wamu n’abalala bangi amawulire amalungi ag’ekigambo kya Yakuwa.’ (Bik. 15:35) Okufaananako Yuda ne Siira, ‘boogera eri ab’oluganda emirundi mingi ne babazzaamu amaanyi era ne babagumya.’

18. Kiki kye tulina okukola okusobola okweyongera okufuna emikisa gya Yakuwa?

18 Ate byo ebibiina? Kiki ekisobozesa ebibiina mu nsi yonna okweyongera okuba mu mirembe n’okuba obumu mu nsi eno ejjudde enjawukana? Kijjukire nti nga wayise ekiseera, omuyigiriza Yakobo yagamba nti: “Amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, ga mirembe, si makakanyavu, mawulize . . . ate era, ekibala eky’obutuukirivu, ensigo yaakyo esigibwa mu mbeera ez’emirembe okuganyula abo abaleeta emirembe.” (Yak. 3:17, 18) Tetumanyi obanga Yakobo bwe yawandiika ebigambo ebyo yali alowooza ku lukuŋŋaana olwali mu Yerusaalemi. Naye okusinziira ku ebyo bye tusoma mu Ebikolwa by’Abatume essuula 15, tukiraba nti Yakuwa okusobola okutuwa emikisa tulina okuba nga tuli bumu era nga tukolaganira wamu.

19, 20. (a) Kiki ekiraga nti ekibiina ky’e Antiyokiya kyalimu emirembe n’obumu? (b) Kati kiki Pawulo ne Balunabba kye baali basobola okukola?

19 Kati kyali kyeyoleka lwatu nti ekibiina ky’e Antiyokiya kyalimu emirembe n’obumu. Mu kifo ky’ab’oluganda mu kibiina ekyo okuwakana n’ab’oluganda abaali bavudde e Yerusaalemi, baasiima nnyo okukyala kwa Yuda ne Siira, kubanga Bayibuli eraga nti ‘waamala kuyitawo kiseera, ne balyoka babasiibula ne babaagaliza olugendo olulungi ne baddayo eri abaabatuma,’ kwe kugamba, ne baddayo e Yerusaalemi. d (Bik. 15:33) Ab’oluganda mu Yerusaalemi nabo bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baawulira ebyo abasajja abo ababiri bye baabanyumiza ebikwata ku lugendo lwabwe. Olw’ekisa eky’ensusso Yakuwa kye yabalaga, baali batuukirizza ekyo kye baabatuma okukola!

20 Pawulo ne Balunabba abaali basigadde mu Antiyokiya kati baali basobola okwemalira ku kukulemberamu abalala mu mulimu gw’okubuulira, ng’abalabirizi abakyalira ebibiina leero bwe bakola nga bakyalidde ebibiina. (Bik. 13:2, 3) Mu butuufu, ekyo kiganyula nnyo abantu ba Yakuwa! Naye Yakuwa yeeyongera atya okukozesa ababuulizi abo ababiri abanyiikivu n’okubawa emikisa? Ekyo tujja kukiraba mu ssuula eddako.

Abakristaayo leero baganyulwa nnyo mu mmere ey’eby’omwoyo gye bafuna okuyitira mu Kakiiko Akafuzi n’abo ababa bakakiikiridde

b Yakobo yayogera ku ebyo ebiri mu bitabo bya Musa. Ekyo kyali kya magezi kubanga ebitabo ebyo tebiriimu Mateeka gokka wabula birimu n’ebintu ebirala ebyoleka endowooza ya Katonda ku bintu ebitali bimu, Katonda gye yalaga nga n’Amateeka tegannaba kussibwawo. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Olubereberye mulimu ebintu ebyoleka endowooza Katonda gy’alina ku musaayi, ku bwenzi, ne ku kusinza ebifaananyi. (Lub. 9:3, 4; 20:2-9; 35:2, 4) Bwe kityo Yakuwa yalaga emisingi abantu bonna gye basaanidde okukolerako ka babe Bayudaaya oba ba mawanga.

d Mu lunyiriri olwa 34, enkyusa ezimu eza Bayibuli zirimu ebigambo ebiraga nti Siira yasalawo okusigala mu Antiyokiya. (Bayibuli ey’Oluganda eya 1968) Naye ebigambo ebyo kirabika byayongerwamu luvannyuma.