EKITUNDU 4
Baawuliriza Sitaani—Biki Ebyavaamu?
Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, ne bafa. Olubereberye 3:6, 23
Kaawa yawuliriza omusota kye gwamugamba n’alya ku kibala ekyo. Oluvannyuma, yawaako Adamu naye n’alya.
Kye baakola kyali kikyamu—baayonoona. Katonda yabagoba mu Lusuku.
Obulamu bwabazibuwalira nnyo bo, era n’abaana baabwe. Baakaddiwa era ne bafa. Tewali kifo kirala kyonna kye baagendamu; baali tebakyaliwo.
Olubereberye 3:19
Ng’enfuufu bw’etalina bulamu, n’abafu tebalina bulamu.Tufa olw’okuba ffenna twava mu Adamu ne Kaawa. Abafu tebasobola kulaba, kuwulira, oba okukola ekintu kyonna.—Omubuulizi 9:5, 10.
Tekyali kigendererwa kya Yakuwa abantu okufa. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuzuukiza abafu. Bwe banaamuwuliriza, bajja kuba balamu emirembe gyonna.