Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 5

Amataba—Baani Abaawuliriza? Baani Abataawuliriza?

Amataba—Baani Abaawuliriza? Baani Abataawuliriza?

Abantu abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa baali bakola ebintu ebibi. Olubereberye 6:5

Adamu ne Kaawa baazaala abaana, abantu ne beeyongera obungi ku nsi. Ekiseera kyatuuka bamalayika abamu nabo ne bajeemera Katonda.

Bajja ku nsi ne bafuuka ng’abantu, era ne bawasa abakazi. Abakazi be baawasa baazaala abaana abatali ba bulijjo abaali abakambwe era nga ba maanyi nnyo.

Ensi yajjula abantu abaali bakola ebintu ebibi. Bayibuli egamba nti: ‘Ebikolwa by’omuntu ebibi byali biyitiridde mu nsi era nga n’ebirowoozo byonna eby’omu mutima gwe bibi ekiseera kyonna.’

Nuuwa yawuliriza Katonda n’azimba eryato. Olubereberye 6:13, 14, 18, 19, 22

Nuuwa yali musajja mulungi. Yakuwa yagamba Nuuwa nti yali agenda kuzikiriza abantu ababi ng’akozesa amataba.

Katonda era yagamba Nuuwa okuzimba eryato eddene ennyo ayingizeemu ab’omu maka ge n’ebisolo.

Nuuwa yalabula abantu ku Mataba agaali gagenda okujja, naye ne bagaana okumuwuliriza. Abamu baamusekerera, ate abalala ne bamukyawa.

Ng’eryato liwedde okuzimba, Nuuwa yayingizaamu ebisolo.