Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 6

Kiki kye Tuyigira ku Mataba?

Kiki kye Tuyigira ku Mataba?

Katonda yazikiriza ababi naye n’awonyaawo Nuuwa n’ab’omu maka ge. Olubereberye 7:11, 12, 23

Enkuba yatonnyera ennaku 40 emisana n’ekiro, era amazzi gaasaanikira ensi yonna. Abantu ababi bonna baafa.

Bamalayika abajeemu beggyako emibiri egy’ennyama ne bafuuka badayimooni.

Abantu abaali mu lyato baawonawo. Wadde nga ekiseera kyatuuka Nuuwa n’ab’omu maka ge ne bafa, Katonda ajja kubazuukiza basobole okuba abalamu emirembe gyonna.

Katonda ajja kuddamu azikirize abantu ababi era awonyeewo abantu abalungi. Matayo 24:37-39

Sitaani ne badayimooni bakyabuzaabuza abantu.

Nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, ne leero abantu bangi bagaana obulagirizi obuva eri Yakuwa. Mu kiseera ekitali kya wala Yakuwa ajja kuzikiriza abo bonna abakola ebintu ebibi.​—2 Peetero 2:5, 6.

Abantu abamu balinga Nuuwa. Bawuliriza Katonda ne bakola ky’agamba. Bano be Bajulirwa ba Yakuwa.