Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 8

Okufa kwa Yesu Kukukwatako Kutya?

Okufa kwa Yesu Kukukwatako Kutya?

Yesu yafa tusobole okuba abalamu. Yokaana 3:16

Nga wayiseewo ennaku ssatu oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, waliwo abakazi abaagenda ku ntaana ye kyokka ne basanga ng’omulambo gwe teguliimu. Yakuwa yali azuukizza Yesu.

Oluvannyuma Yesu yalabikira abatume be.

Yakuwa yali azuukizza Yesu ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekitafa. Abayigirizwa ba Yesu baamulaba ng’agenda mu ggulu.

Katonda yazuukiza Yesu era n’amufuula Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Danyeri 7:13, 14

Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu bonna. (Matayo 20:28) Olw’ekinunulo ekyo, Katonda ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo.

Yakuwa yalonda Yesu nga Kabaka ow’okufuga ensi. Abantu abeesigwa abawerera ddala 144,000 abazuukizibwa ne bagenda mu ggulu be bajja okufuga naye. Yesu awamu n’abo 144,000 be bakola gavumenti ey’omu ggulu ey’obutuukirivu—Obwakabaka bwa Katonda.—Okubikkulirwa 14:1-3.

Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda. Entalo, obumenyi bw’amateeka, obwavu, n’enjala bijja kuggwaawo. Abantu bajja kuba mu ssanyu erya nnamaddala.​—Zabbuli 145:16.