Ennyanjula
Katonda alinga taata ayagala ennyo abaana be. 1 Peetero 5:6, 7
Katonda ye Mutonzi waffe, era atufaako. Nga taata ow’amagezi era alina okwagala bw’awa abaana be obulagirizi, ne Katonda ayigiriza abantu buli wamu engeri gye bayinza okuba mu bulamu obusingayo obulungi.
Katonda atuyigiriza amazima ag’omuwendo agatuleetera essanyu era agatuwa essuubi.
Bw’onoowuliriza Katonda, ajja kukuwa obulagirizi era akukuume. Ate era ajja kukuyamba okwaŋŋanga ebizibu.
Naye waliwo n’omuganyulo omulala—ojja kuba mulamu emirembe gyonna!