Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda by’Ayagala Bye Biruwa?

Katonda by’Ayagala Bye Biruwa?

Katonda ayagala tubeere mu mirembe era nga tuli basanyufu emirembe gyonna mu nsi erabika obulungi ennyo!

Kyokka oyinza okwebuuza nti, ‘Ekyo kinaasoboka kitya?’ Bayibuli egamba nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa ekyo okubaawo, era Katonda ayagala abantu bonna okuyiga ebikwata ku Bwakabaka obwo n’ebyo by’agenda okutukolera.​—Zabbuli 37:11, 29; Isaaya 9:7.

Katonda ayagala tube bulungi.

Nga taata omulungi bw’ayagaliza abaana be ebirungi, ne Kitaffe ow’omu ggulu ayagala tubeere basanyufu emirembe gyonna. (Isaaya 48:17, 18) Asuubiza nti, “oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”​—1 Yokaana 2:17.

Katonda ayagala tutambulire mu mpenda ze.

Bayibuli egamba nti Omutonzi waffe ayagala ‘okutuyigiriza amakubo ge’ tusobole ‘okutambulira mu mpenda ze.’ (Isaaya 2:2, 3) Alina abantu ‘abayitibwa erinnya lye’ b’ataddewo okumanyisa by’ayagala mu nsi yonna.​—Ebikolwa 15:14.

Katonda ayagala tube bumu nga tumusinza.

Okusinza okw’amazima tekwawulayawula mu bantu, wabula kusobozesa abantu okuba obumu era n’okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. ( Yokaana 13:35) Baani leero abayigiriza abantu buli wamu engeri gye bayinza okuweereza Katonda nga bali bumu? Osabibwa okusoma akatabo kano osobole okubamanya.