Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 1

Abajulirwa ba Yakuwa Bantu ba Ngeri Ki?

Abajulirwa ba Yakuwa Bantu ba Ngeri Ki?

Denmark

Taiwan

Venezuela

India

Abajulirwa ba Yakuwa bameka b’omanyi? Abamu ku ffe tuyinza okuba nga tuli baliraanwa bo, nga tukola naawe, oba nga tusoma naawe. Oba tuyinza okuba nga twali tukubaganyizzaako naawe ebirowoozo ku Bayibuli. Naye ddala ffe baani, era lwaki twogerako n’abalala ku nzikiriza zaffe?

Tetwawukana nnyo ku bantu balala. Tuli bantu ab’embeera z’obulamu ez’enjawulo. Abamu ku ffe baali mu ddiini ndala, ate abalala baali tebakkiririza mu Katonda. Naye nga tetunnafuuka Bajulirwa ba Yakuwa, ffenna twasooka kwekenneenya Bayibuli by’eyigiriza. (Ebikolwa 17:11) Twakiraba nti bye twali tuyiga mu Bayibuli byali bituufu, era ne tusalawo ku lwaffe okuweereza Katonda.

Okuyiga Bayibuli kituganyula. Okufaananako abantu abalala naffe tufuna ebizibu era tulina obunafu. Naye obulamu bwaffe bulongoose nnyo olw’okussa mu nkola Bayibuli by’eyigiriza. (Zabbuli 128:1, 2) Eyo y’emu ku nsonga lwaki tubuulirako abalala ebintu ebirungi bye tuyize mu Bayibuli.

Obulamu bwaffe tubutambuliza ku mitindo gya Katonda. Bye tuyiga mu Bayibuli bituyamba okuba n’obulamu obulungi era n’okuwa abalala ekitiibwa. Ate era bitusobozesa okuba abantu abeesigwa era ab’ekisa. Bituyamba okuba abantu ab’omugaso mu bitundu gye tubeera. Biyamba amaka gaffe okuba obumu era bitusobozesa okuba abantu ab’empisa. Olw’okuba tuli bakakafu nti “Katonda tasosola,” ffenna twagalana wadde nga tuva mu nsi za njawulo, era tetukkiriza bya bufuzi oba enjawukana mu mawanga kutwawulayawulamu. Wadde ng’embeera z’obulamu bwaffe ziringa ez’abantu abalala, ng’ekibiina tuli bantu ba njawulo nnyo.​—Ebikolwa 4:13; 10:34, 35.

  • Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye bafaanaganya n’abantu abalala?

  • Abajulirwa ba Yakuwa baganyuddwa batya mu bye bayiga mu Bayibuli?