Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 2

Lwaki Tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

Lwaki Tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

Nuuwa

Ibulayimu ne Saala

Musa

Yesu Kristo

Abantu bangi balowooza nti eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa mpya. Kyokka emyaka egisukka mu 2,700 emabega, abaweereza ba Katonda omu ow’amazima baayogerwako nga ‘abajulirwa’ be. (Isaaya 43:10-12) Mu kusooka twali tuyitibwa Bayizi ba Bayibuli, naye okuva mu 1931 twatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Lwaki?

Erinnya eryo liraga Katonda gwe tusinza. Okusinziira ku biwandiiko eby’edda, erinnya lya Katonda, Yakuwa, lisangibwa mu Bayibuli emirundi egisukka mu kasanvu. Mu Bayibuli nnyingi erinnya lino lyaggibwamu, era we lyali ne wateekebwawo ebitiibwa gamba nga Mukama oba Katonda. Kyokka Katonda yagamba Musa nti ye Yakuwa, era n’agattako nti: “Eryo lye linnya lyange emirembe n’emirembe.” (Okuva 3:15) Bw’atyo Katonda ow’amazima yeeyawula ku bakatonda abalala bonna. Twenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Katonda ettukuvu.

Erinnya eryo liraga omulimu gwe tukola. Abantu bangi mu biseera eby’edda, okuviira ddala ku Abbeeri omusajja eyali omutuukirivu, baakyoleka nti baali Bajulirwa ba Yakuwa olw’okukkiriza kwabwe. Mu byasa ebyaddirira, Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Musa, Dawudi, n’abalala, nabo beegatta ku ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa.’ (Abebbulaniya 11:4–12:1) Ng’omuntu bw’awa obujulizi mu kkooti ng’alina gw’awolereza, naffe tuli bamalirivu okutegeeza abantu amazima agakwata ku Katonda waffe.

Tukoppa Yesu. Bayibuli emuyita “omujulirwa omwesigwa era ow’amazima.” (Okubikkulirwa 3:14) Yesu kennyini yagamba nti ‘yamanyisa erinnya lya Katonda,’ era nti ‘yategeezanga amazima agakwata ku Katonda.’ ( Yokaana 17:26; 18:37) N’olwekyo, abagoberezi ba Kristo ab’amazima balina okuyitibwa erinnya lya Yakuwa era balina okulimanyisa abalala. Kino Abajulirwa ba Yakuwa kye bafuba okukola.

  • Lwaki Abayizi ba Bayibuli baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

  • Yakuwa amaze bbanga ki ng’alina abajulirwa ku nsi?

  • Mujulirwa wa Yakuwa ki asinga abalala bonna?