Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 11

Lwaki Tugenda ku Nkuŋŋaana Ennene?

Lwaki Tugenda ku Nkuŋŋaana Ennene?

Mexico

Bugirimaani

Botswana

Nicaragua

Italy

Lwaki abantu bano basanyufu? Bali mu lukuŋŋaana olunene. Okufaananako abantu ba Katonda ab’edda abaalagirwa okukuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, naffe twesunga nnyo okugenda mu nkuŋŋaana ennene. (Ekyamateeka 16:16) Buli mwaka tuba n’enkuŋŋaana ennene ssatu. Tuba n’enkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu bbiri, n’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana zino tuganyulwa tutya?

Zinyweza oluganda lwe tulina ng’Abakristaayo. Ng’Abayisirayiri bwe baasanyukiranga ennyo okutendereza Yakuwa nga bali “mu nkuŋŋaana ennene,” naffe tunyumirwa nnyo okumusinza nga tuli wamu mu nkuŋŋaana ennene. (Zabbuli 26:12, obugambo obuli wansi; Zabbuli 111:1) Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana ezo tufuna akakisa okusisinkana era n’okubeerako awamu n’ab’oluganda ababa bavudde mu bibiina ebirala oba mu nsi endala. Mu ssaawa ez’eky’emisana tubaako kye tulya nga tuli wamu ne baganda baffe awo we tuba tukuŋŋaanidde, era kino kyongera okutuleetera essanyu. (Ebikolwa 2:42) Mu nkuŋŋaana zino tulabira ddala okwagala okwa nnamaddala okutugatta ‘ng’ab’oluganda’ mu nsi yonna.​—1 Peetero 2:17.

Zituyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Abayisirayiri baaganyulwa nnyo bwe bannyonnyolwa Ebyawandiikibwa ne ‘babitegeera.’ (Nekkemiya 8:8, 12) Naffe tuganyulwa nnyo mu ebyo ebituyigirizibwa okuva mu Bayibuli nga tuli mu nkuŋŋaana ezo. Buli lukuŋŋaana luba n’omutwe ogwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Ebyogerwa mu nkuŋŋaana ezo n’ebyokulabirako ebiragibwa bituyamba okweyongera okuyiga okukola Katonda by’ayagala. Tuzzibwamu amaanyi bwe tuwulira engeri baganda baffe gye basobodde okukuuma obwesigwa bwabwe mu biseera bino ebizibu. Emizannyo egibeera ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu gituyamba okutegeera obulungi ebintu bye tusomako mu Bayibuli era ne tuggyamu eby’okuyiga. Ku buli lukuŋŋaana, abo ababa beewaddeyo eri Katonda bakyoleka mu lujjudde nga babatizibwa.

  • Lwaki tunyumirwa nnyo enkuŋŋaana ennene?

  • Oyinza kuganyulwa otya ng’ogenze ku lukuŋŋaana olunene?