Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 14

Masomero Ki Bapayoniya Ge Basobola Okugendamu?

Masomero Ki Bapayoniya Ge Basobola Okugendamu?

United States

Essomero lya Gireyaadi, Patterson, New York

Panama

Abajulirwa ba Yakuwa bamaze ebbanga ddene nga balina amasomero agabatendeka mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Abo abamala ebiseera ebingi mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka bafuna okutendekebwa okw’enjawulo basobole ‘okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwabwe.’​—2 Timoseewo 4:5.

Essomero lya Bapayoniya. Omubuulizi bw’amala omwaka gumu ng’aweereza nga payoniya, ayitibwa mu ssomero erimala ennaku mukaaga eribeera mu kimu ku Bizimbe by’Obwakabaka ebiri mu kitundu kye. Ekigendererwa ky’essomero lino kwe kuyamba payoniya okweyongera okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa, okulongoosa mu ngeri gy’abuuliramu ne gy’ayigirizaamu, n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Essomero lino limala emyezi ebiri era litendeka bapayoniya ababa abeetegefu okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Bwe beewaayo okukola ekyo baba ng’abagamba nti, “Nzuuno! Ntuma!” era baba bakoppa Yesu Kristo, Omubuulizi w’Amawulire Amalungi asinga bonna abaali babaddewo ku nsi. (Isaaya 6:8; Yokaana 7:29) Omuntu okuva w’abeera n’agenda okubuulira mu bitundu eby’ewala kiyinza okumwetaagisa okubaako enkyukakyuka z’akola. Empisa z’omu kitundu, embeera y’obudde, n’emmere oluusi biba bya njawulo nnyo ku ebyo by’aba amanyidde. Kiyinza n’okumwetaagisa okuyiga olulimi olulala. Essomero lino liyamba baganda baffe ne bannyinnaffe abafumbo n’abatali bafumbo, abali wakati w’emyaka 23 ne 65, okweyongera okukula mu by’omwoyo. Libabangula mu ngeri gye bayinza okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe, bwe batyo ne beeyongera okuba ab’omugaso eri Yakuwa n’eri ekibiina kye.

Essomero lya Gireyaadi. Mu Lwebbulaniya, amakulu g’ekigambo “Gireyaadi” geekuusa ku ‘kuwa obujulirwa.’ Okuva essomero lya Gireyaadi lwe lyatandikibwawo mu 1943, abaminsani abatendekeddwa mu ssomero lino abasukka mu 8,000 basindikiddwa okuwa obujulirwa “okutuuka ensi gy’ekoma,” era ebivuddemu bibadde birungi nnyo. (Ebikolwa 13:47) Ng’ekyokulabirako, abaminsani baffe we baagendera mu nsi ya Peru, tewaaliyo wadde ekibiina kimu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, naye kati eriyo ebibiina ebisukka mu 1,000. Abaminsani baffe we baatandikira okubuulira mu Japan, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi eyo baali tebawera na kkumi, naye kati basukka mu 200,000. Mu ssomero lino erimala emyezi etaano, abayizi beekenneenya bulungi Ekigambo kya Katonda. Abo abaweereza nga bapayoniya ab’enjawulo, oba abaminsani, oba abo abaweereza ku ofiisi y’ettabi, oba abalabirizi b’ebitundu be bayitibwa mu ssomero lino. Okutendekebwa kwe bafuna kukola kinene nnyo mu kutumbula omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna.

  • Lwaki Essomero lya Bapayoniya lyateekebwawo?

  • Baani abasobola okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?