Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 16

Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?

Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?

Myanmar

Ayigiriza

Ekibinja ky’obuweereza

Balongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka

Bayibuli eyogera ku bantu ba biti bibiri abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina​—‘abalabirizi n’abaweereza.’ (Abafiripi 1:1) Okutwalira awamu, mu buli kibiina mulimu abakaddè n’abaweereza. Biki abaweereza bye bakola okutuyamba?

Bayamba ku bakadde. Abaweereza baba basajja abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, abeesigika, era abafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Abamu baba bavubuka, ate abalala baba basajja bakulu. Bakola emirimu egitali gimu mu kibiina ne kisobozesa abakadde okwemalira ku kuyigiriza n’okulunda ekisibo kya Katonda.

Bakola emirimu mingi egy’omugaso mu kibiina. Abaweereza abamu baweebwa obuvunaanyizibwa obw’okwaniriza abo ababa bazze mu nkuŋŋaana. Abalala bakola ku byuma by’amaloboozi, abalala ku bitabo, abalala ku by’embalirira, ate abalala balaga ababuulizi ebitundu eby’okubuuliramu. Bayamba ne mu kulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka, era oluusi abakadde babasaba okuyamba ku bannamukadde. Abaweereza bakola n’omutima gumu emirimu gyonna egibaweebwa, era kino kireetera abalala okubawa ekitiibwa.​—1 Timoseewo 3:13.

Bateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Abaweereza balondebwa olw’okuba batuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. Bwe babaako bye bayigiriza mu nkuŋŋaana, banyweza okukkiriza kwaffe. Ekyokulabirako ekirungi kye bateekawo mu mulimu gw’okubuulira kituleetera naffe okuba abanyiikivu. Olw’okuba bakolagana bulungi n’abakadde, ekibiina kiba kisanyufu era kiba bumu. (Abeefeso 4:16) Abaweereza nabo bayinza okukulaakulana ne bafuuka abakadde.

  • Abaweereza baba ba luganda ba ngeri ki?

  • Mirimu ki abaweereza gye bakola egiyamba ekibiina okutambula obulungi?