Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 17

Abalabirizi b’Ebitundu Batuyamba Batya?

Abalabirizi b’Ebitundu Batuyamba Batya?

Malawi

Nga bagenda okubuulira

Ng’abuulira

Ng’ali n’abakadde

Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byogera nnyo ku Balunabba n’omutume Pawulo. Abasajja abo baakyaliranga ebibiina mu kyasa ekyasooka. Lwaki baabikyaliranga? Baali bafaayo nnyo ku mbeera y’ab’oluganda. Pawulo yagamba nti yali ayagala ‘kuddayo akyalire ab’oluganda’ alabe bwe baali. Yali mwetegefu okutindigga olugendo oluwanvu ennyo asobole okubazzaamu amaanyi. (Ebikolwa 15:36) Abalabirizi abakyalira ebibiina leero nabo bafuba okukola kye kimu.

Batukyalira okutuzzaamu amaanyi. Buli mulabirizi wa kitundu akyalira ebibiina nga 20. Buli kibiina akikyalira emirundi ebiri buli mwaka era nga buli kibiina ky’akyalira amala nakyo wiiki emu. Ab’oluganda abo ne bakyala baabwe tulina bingi bye tubayigirako. Abalabirizi abo awamu ne bakyala baabwe bafuba nnyo okumanya ab’oluganda abato n’abakulu, era baagala nnyo okubuulirako naffe, n’okutuwerekerako nga tugenda okuyigiriza abayizi baffe. Abalabirizi abo bakyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi nga bali wamu n’abakadde, era bye bayigiriza mu nkuŋŋaana bituzimba.​—Ebikolwa 15:35.

Bafaayo ku bonna. Abalabirizi b’ebitundu bafaayo ku mbeera y’ebibiina ey’eby’omwoyo. Bwe bakyalira ekibiina, batuula n’abakadde awamu n’abaweereza okwogera ku nkulaakulana ebaddewo mu kibiina era n’okubawa amagezi ku ngeri gye bayinza okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe. Bawa bapayoniya amagezi agabayamba okukola obulungi omulimu gwabwe, era baagala nnyo okumanya abo abatandise okujja mu nkuŋŋaana n’okutegeera engeri gye bakulaakulana mu by’omwoyo. Ab’oluganda abo bakola butaweera nga ‘baweerereza wamu naffe ku lw’obulungi bwaffe.’ (2 Abakkolinso 8:23) Tusaanidde okukoppa okukkiriza kwabwe n’okwagala kwe balina eri Katonda.​—Abebbulaniya 13:7.

  • Lwaki abalabirizi b’ebitundu bakyalira ebibiina?

  • Okukyala kwabwe kuyinza kukuganyula kutya?