Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 19

Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?

Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?

Ffenna tuganyulwa mu mmere ey’eby’omwoyo gye tufuna

Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yayogerako n’abayigirizwa be bana​—Peetero, Yakobo, Yokaana, ne Andereya. Bwe yali ayogera ku kabonero ak’okubeerawo kwe mu nnaku ezʼenkomerero, yabuuza nti: “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawanga emmere yaabwe mu kiseera ekituufu?” (Matayo 24:3, 45; Makko 13:3, 4) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali alaga abayigirizwa be nti ye nga “mukama” waabwe yali ajja kulonda abo abandiwadde abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera eky’enkomerero. Abo bandibadde baani?

Be bamu ku bagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta. “Omuddu” ono ke Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Omuddu y’agabira abaweereza ba Yakuwa abalala emmere ey’eby’omwoyo. Gwe tutunuulira okutuwa ‘emmere etumala mu kiseera ekituufu.’​—Lukka 12:42.

Be balabirira ennyumba ya Katonda. (1 Timoseewo 3:15) Yesu yakwasa omuddu omwesigwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okulabirira omulimu ogukolebwa ekibiina kya Yakuwa eky’oku nsi. Obuvunaanyizibwa buno buzingiramu okulabirira ebintu by’ekibiina, okutuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira, era n’okutuyigiriza. Bw’atyo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuwa bye twetaaga mu kiseera ekituufu ng’atutuusaako emmere ey’eby’emwoyo okuyitira mu bitabo bye tukozesa mu buweereza bwaffe, era n’okuyitira mu ebyo ebituyigirizibwa mu nkuŋŋaana.

Omuddu ono mwesigwa kubanga anywerera ku mazima g’omu Bayibuli, era atuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa obw’okubuulira amawulire amalungi. Ate era wa magezi kubanga alabirira ebintu bya Kristo eby’oku nsi mu ngeri ey’amagezi. (Ebikolwa 10:42) Yakuwa asobozesezza abantu bangi okufuuka abaweereza be era ayambye omuddu ono okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi.​—Isaaya 60:22; 65:13.

  • Ani Yesu gwe yalonda okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo?

  • Mu ngeri ki omuddu gy’ali omwesigwa era ow’amagezi?