Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 20

Leero Akakiiko Akafuzi Katambuza Katya Emirimu Gyako?

Leero Akakiiko Akafuzi Katambuza Katya Emirimu Gyako?

Akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka

Ng’ebbaluwa evudde ku kakiiko akafuzi esomebwa

Mu kyasa ekyasooka, “abatume n’abakadde” abaali e Yerusaalemi be baali ku kakiiko akafuzi. Akakiiko ako ke kaakiikiriranga Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta mu kusalawo ku nsonga enkulu. (Ebikolwa 15:2) Kye baasalangawo ng’akakiiko, baakituukangako nga bamaze okwetegereza Ebyawandiikibwa kye bigamba awamu n’okugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda. (Ebikolwa 15:25) Ne leero akakiiko akafuzi kagoberera enkola y’emu.

Katonda akakozesa okutuukiriza by’ayagala. Ab’oluganda abaafukibwako amafuta abali ku Kakiiko Akafuzi baagala nnyo Ekigambo kya Katonda era balina obumanyirivu bungi mu kukola ku nsonga z’eby’omwoyo ne mu kuddukanya emirimu gy’ekibiina. Akakiiko Akafuzi katuula buli wiiki okwekenneenya ebyetaago by’ab’oluganda mu nsi yonna. Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, akakiiko kano kawa ab’oluganda obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli nga kayitira mu mabaluwa, mu balabirizi abakyalira ebibiina, oba mu b’oluganda abalala. Kino kisobozesa abantu ba Katonda okuba obumu mu ndowooza ne mu bikolwa. (Ebikolwa 16:4, 5) Akakiiko Akafuzi kalabirira omulimu gw’okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo, kakubiriza ab’oluganda bonna okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, era kawa obulagirizi mu kulonda ab’oluganda abaweebwa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina.

Kakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Akakiiko Akafuzi kanoonya obulagirizi okuva eri Yakuwa Omufuzi w’Obutonde Bwonna, n’okuva eri Yesu Omutwe gw’ekibiina. (1 Abakkolinso 11:3; Abeefeso 5:23) Ab’oluganda abo tebeetwala kuba nti be bakulembeze b’abantu ba Katonda. Bo ne bannaabwe abalala bonna abaafukibwako amafuta “bagoberera Omwana gw’Endiga [Yesu] buli gy’alaga.” (Okubikkulirwa 14:4) Ab’oluganda abo basiima nnyo essaala zaffe.

  • Baani abaali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka?

  • Leero Akakiiko Akafuzi kanoonya katya obulagirizi bwa Katonda?