Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 21

Beseri Kye Ki?

Beseri Kye Ki?

We bakubira ebifaananyi, Amerika

Bugirimaani

Kenya

Colombia

“Beseri” linnya lya Lwebbulaniya era litegeeza “Ennyumba ya Katonda.” (Olubereberye 28:17, 19) Eyo ye nsonga lwaki n’ebizimbe Abajulirwa ba Yakuwa mwe basinziira okulabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ez’enjawulo babiyita Beseri. Abo abali ku Kakiiko Akafuzi basangibwa ku kitebe kyaffe ekikulu ekiri mu Ssaza lya New York, mu Amerika, era eyo gye basinziira okulabirira ebikolebwa ku ofiisi z’amatabi gaffe ag’enjawulo. Abo abaweerereza ku Beseri bayitibwa Ababeseri. Ng’abantu ab’omu nnyumba emu, Ababeseri babeera wamu, bakolera wamu, baliira wamu, era basomera wamu Bayibuli.​—Zabbuli 133:1.

Kifo ekirimu abantu abalina omwoyo ogw’okwerekereza. Mu buli Beseri eriyo abasajja n’abakazi Abakristaayo abeewaddeyo okukola Katonda by’ayagala n’omutima gwabwe gwonna, era nga baweereza ekiseera kyonna. (Matayo 6:33) Tewali n’omu ku bo asasulwa musaala, naye buli omu aweebwa aw’okusula, emmere, era n’essente entonotono ezimuyamba okukola ku byetaago bye. Buli omu ku Beseri alina omulimu gw’akola; guyinza okuba mu ofiisi, mu ffumbiro, oba awakubirwa ebitabo. Abalala bakola gwa kuyonja, kwoza, kuddaabiriza bintu, n’emirimu emirala.

Kifo awakolerwa emirimu egiwagira omulimu gw’okubuulira. Ekigendererwa ekikulu ekya buli Beseri kwe kulaba nti amazima agali mu Bayibuli gatuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Akatabo kano ke kamu ku ebyo ebiyamba mu kutuukiriza ekigendererwa ekyo. Akakiiko Akafuzi ke kaawa obulagirizi ku mulimu gw’okukawandiika, era oluvannyuma kaaweerezebwa ku matabi ag’enjawulo okuyitira ku Intaneeti ne kavvuunulwa mu nnimi endala. Kaakubirwa ku byuma ebikuba ebitabo ku sipiidi eya waggulu ennyo mu Beseri ez’enjawulo, era ne kaweerezebwa mu bibiina ebisukka mu 110,000. Ababeseri bayamba nnyo mu kufulumya ebitabo ebikozesebwa mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi.​—Makko 13:10.

  • Baani abaweereza ku Beseri era balabirirwa batya?

  • Ebikolebwa ku Beseri zonna biwagira mulimu ki omukulu ennyo?