Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 22

Biki Ebikolebwa ku Ofiisi Zaffe ez’Amatabi?

Biki Ebikolebwa ku Ofiisi Zaffe ez’Amatabi?

Solomon Islands

Canada

South Africa

Ku ofiisi zaffe ez’amatabi Ababeseri bakola emirimu egitali gimu okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi emu oba eziwerako. Bakola emirimu gamba ng’okuvvuunula, okukuba ebitabo ne magazini, okuweereza ebitabo mu bibiina, okufulumya entambi z’amaloboozi ne vidiyo, era n’emirimu emirala.

Akakiiko k’Ettabi ke kalabirira emirimu. Obuvunaanyizibwa obw’okuddukanya emirimu egikolebwa ku buli ttabi Akakiiko Akafuzi kabukwasa Akakiiko k’Ettabi. Akakiiko k’Ettabi kabeerako abakadde basatu oba n’okusingawo. Abali ku Kakiiko k’Ettabi bategeeza Akakiiko Akafuzi engeri omulimu mu kitundu kye balabirira gye gutambulamu, ssaako n’ebizibu ebiba biguddewo. Ekyo kiyamba Akakiiko Akafuzi okusalawo ebinaabeera mu programu z’enkuŋŋaana ne mu bitabo ebinaakubibwa. Akakiiko Akafuzi katera okutuma ab’oluganda okukyalira ofiisi z’amatabi n’okuwa abo abali ku Bukiiko bw’Amatabi obulagirizi ku ngeri y’okukolamu emirimu gyabwe. (Engero 11:14) Ow’oluganda oyo aba akiikiridde ekitebe ekikulu abaako by’ayogera eri ab’oluganda okubazzaamu amaanyi mu lukuŋŋaana olw’enjawulo oluba lutegekeddwa.

Ofiisi y’ettabi eyamba ebibiina ebiri mu kitundu ky’erabirira. Ab’oluganda abalina obuvunaanyizibwa ku ofiisi y’ettabi be basalawo obanga ebibiina ebipya bisobola okutandikibwawo. Ab’oluganda abo era balabirira n’omulimu ogukolebwa bapayoniya, abaminsani, n’abalabirizi b’ebitundu mu kitundu kyabwe. Bateekateeka enkuŋŋaana ennene, balabirira omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, era bafuba okulaba nti ebibiina bifuna ebitabo bye byetaaga. Byonna ebikolebwa ku ofiisi z’amatabi bisobozesa omulimu gw’okubuulira okukolebwa obulungi.​—1 Abakkolinso 14:33, 40.

  • Obukiiko bw’Amatabi buyamba butya Akakiiko Akafuzi?

  • Biki ebikolebwa ku ofiisi z’amatabi?