Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 24

Ekibiina Kyaffe Kiggya Wa Ssente Ze Kikozesa?

Ekibiina Kyaffe Kiggya Wa Ssente Ze Kikozesa?

Nepal

Togo

Britain

Buli mwaka ekibiina kyaffe kikuba obukadde n’obukadde bwa Bayibuli awamu n’ebitabo ebirala era ne biweebwa abantu ku bwereere. Tuzimba era ne tuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka ne ofiisi z’amatabi. Tulabirira Ababeseri n’abaminsani nkumi na nkumi, era tudduukirira ab’oluganda ababa bakoseddwa nga waguddewo akatyabaga. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Ssente ezikola ebyo byonna ziva wa?’

Tetusolooza ssente era tetusaba kimu kya kkumi. Wadde ng’omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutwala ssente nnyingi, tetusaba bantu ssente. Emyaka nga kikumi emabega, magazini yaffe eya Watchtower yagamba nti “tukimanyi nga Yakuwa atuyamba,” era n’egattako nti “tetulisaba bantu kutuwa buyambi.” Ebigambo ebyo bikyali bituufu kubanga tetukikolangako!​—Matayo 10:8.

Ssente ze tukozesa ziweebwayo kyeyagalire. Bangi basiima omulimu gwe tukola ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli era ne babaako kye bawaayo okuguwagira. Abajulirwa ba Yakuwa nabo bawaayo ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, ssente zaabwe, n’ebintu ebirala okuwagira omulimu gwa Katonda mu nsi yonna. (1 Ebyomumirembe 29:9) Mu Bizimbe by’Obwakabaka mubaamu obusanduuko abantu mwe bateeka ssente ze bawaayo kyeyagalire. Ate era omuntu asobola okuwaayo kyeyagalire ng’akozesa omukutu gwaffe, jw.org/lg. Abasinga obungi ku abo abawaayo si bagagga, okufaananako nnamwandu eyawaayo obusente obubiri kyokka Yesu n’asiima nnyo ekyo kye yakola. (Lukka 21:1-4) N’olwekyo, buli omu ayinza ‘okubangako ky’atereka’ n’asobola okubaako ky’awaayo nga ‘bw’aba amaliridde mu mutima gwe.’​—1 Abakkolinso 16:2; 2 Abakkolinso 9:7.

Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okukwata ku mitima gy’abo abaagala ‘okukozesa ebintu byabwe okumussaamu ekitiibwa’ bawagire omulimu gw’Obwakabaka, by’ayagala bisobole okukolebwa.​—Engero 3:9.

  • Mu ngeri ki gye tuli ab’enjawulo ku madiini amalala?

  • Ssente eziweebwayo kyeyagalire zikozesebwa zitya?