Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 26

Ekizimbe ky’Obwakabaka Tusaanidde Kukirabirira Tutya?

Ekizimbe ky’Obwakabaka Tusaanidde Kukirabirira Tutya?

Estonia

Zimbabwe

Mongolia

Puerto Rico

Buli Kizimbe ky’Obwakabaka kikwataganyizibwa n’erinnya lya Katonda ettukuvu. N’olwekyo tukitwala nti okubikuuma nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi nkizo ya maanyi era nti kitundu kikulu eky’okusinza kwaffe. Ffenna tusobola okwenyigira mu kubirabirira.

Weenyigire mu kuyonja ng’enkuŋŋaana ziwedde. Oluvannyuma lwa buli lukuŋŋaana, ab’oluganda beera Ekizimbe ky’Obwakabaka. Naye tufunayo olunaku lumu mu wiiki ne tukirongooseza ddala. Wabaawo omukadde oba omuweereza awa obulagirizi abo ababa bayonja, era emirundi egisinga wabaawo olukalala olugobererwa okuli ebirina okukolebwa. Kiyinza okwetaagisa okwera, okusiimula, okukuba enfuufu ku bintu, okutereeza entebe, okulongoosa kaabuyonjo, okwoza amadirisa, okusuulayo kasasiro, n’okulongoosa oluggya, era ab’oluganda beenyigira mu kukola ebintu ebyo byonna. Buli luvannyuma lw’ekiseera tufunayo olunaku ne tuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka mu ngeri esingako ku ya bulijjo. Abaana baffe nabo bwe tubawaayo obulimu obutonotono obw’okukola, kibayigiriza okuwa ekifo mwe tusinziza ekitiibwa.​—Omubuulizi 5:1.

Yambako nga waliwo eby’okuddaabiriza. Omulundi gumu mu mwaka, Ekizimbe ky’Obwakabaka kyekenneenyezebwa bulungi munda n’ebweru okulaba embeera gye kirimu. Ebyo ebiba bizuuliddwa bituyamba okumanya ebirina okukolebwa okusobola okukikuuma nga kiri mu mbeera nnungi, ne kituyamba okwewala okusaasaanya ssente ennyingi mu kukiddaabiriza. (2 Ebyomumirembe 24:13; 34:10) Ekizimbe ky’Obwakabaka ekiyonjo era ekirabika obulungi kiba kifo kya kitiibwa mwe tusobola okusinziza Katonda waffe. Bwe twenyigira mu kukirabirira tulaga nti twagala nnyo Yakuwa n’ekifo we tumusinziza. (Zabbuli 122:1) Ekyo kireetera n’abantu okutwogerako obulungi.​—2 Abakkolinso 6:3.

  • Lwaki tetusaanidde kulagajjalira kifo we tusinziza?

  • Nteekateeka ki ezikolebwa okukuuma Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kiyonjo?