Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 27

Etterekero ly’Ebitabo ery’Ekibiina Lituyamba Litya?

Etterekero ly’Ebitabo ery’Ekibiina Lituyamba Litya?

Israel

Czech Republic

Benin

Cayman Islands

Wandyagadde okweyongera okutegeera Bayibuli? Waliwo ekintu kyonna mu Bayibuli kye wandyagadde okunoonyerezaako, ka kibe kyawandiikibwa, oba muntu, oba kifo, oba ekintu ekirala kyonna? Wali weebuuzizzaako obanga Ekigambo kya Katonda kiyinza okukuyamba mu kizibu ky’oyinza okuba nakyo? Bwe kiba kityo, kozesa Etterekero ly’ebitabo ery’ekibiina.

Mulimu ebintu ebituyamba nga tulina kye tunoonyerezaako. Ebitabo byonna ebinnyonnyola Bayibuli ebiri mu lulimi lwo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa oyinza okuba nga tobirina. Etterekero ly’ebitabo ery’ekibiina lirimu ebitabo ebisinga obungi ebikubiddwa mu myaka egyakayita. Muyinza okuba nga mulimu n’enkyusa za Bayibuli eziwerako, n’enkuluze, era n’ebitabo ebirala eby’omugaso. Ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, osobola okubaako ky’onoonyerezaako mu bitabo ebiririmu. Bwe mubaamu kompyuta, eyinza okuba ng’eriko programu ya Watchtower Library. Programu eyo eriko ebitabo byaffe bingi, era bw’oba olina ekigambo ky’onoonyerezaako oba ekyawandiikibwa, oba ekintu ekirala kyonna, esobola okukuyamba okukizuula mu bwangu.

Liyamba abo ababa balina ebitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Osobola okukozesa ebitabo ebiri mu tterekero eryo ng’otegeka ekitundu kyo. Omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo y’alina obuvunaanyizibwa ku tterekero eryo, era y’alina okulaba nti ebitabo ebipya mwebiri, era nti bitegekeddwa bulungi. Ow’oluganda oyo oba ow’oluganda akuyigiriza Bayibuli asobola okukulaga engeri y’okuzuulamu ekyo ky’oba onoonyerezaako. Kyokka ebitabo ebiri mu tterekero eryo tetukkirizibwa kubifulumya bweru wa Kizimbe kya Bwakabaka. Ate era tusaanidde okubikwata obulungi era n’obutabiwandiikamu.

Bayibuli eraga nti bwe tuba twagala okuvumbula “okumanya okukwata ku Katonda,” tulina okukunoonya ng’abanoonya “eby’obugagga ebyakwekebwa.” (Engero 2:1-5) Etterekero ly’ebitabo ery’ekibiina lijja kukuyamba okukola ekyo.

  • Etterekero ly’ebitabo ery’ekibiina lirimu bintu ki ebituyamba mu kunoonyereza?

  • Baani abasobola okukuyamba okuyiga okukozesa etterekero eryo?