Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 10

Oyinza Otya Okumanya Eddiini ey’Amazima?

Oyinza Otya Okumanya Eddiini ey’Amazima?

1. Waliwo eddiini emu yokka ey’amazima?

“Mwekuume bannabbi ab’obulimba.”​—MATAYO 7:15.

Yesu yayigiriza abagoberezi be eddiini emu yokka ey’amazima. Eddiini ey’amazima eringa ekkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Yesu yagamba nti: ‘Abalaba ekkubo eryo batono.’ (Matayo 7:14) Eddiini yokka Katonda gy’asiima y’eyo egoberera Ekigambo kye Bayibuli. Abo abali mu ddiini ey’amazima bali bumu mu kukkiriza.​—Soma Yokaana 4:23, 24; 14:6; Abeefeso 4:4, 5.

Laba vidiyo Amadiini Gonna Gasanyusa Katonda?

2. Kiki Yesu kye yayogera ku Bakristaayo ab’obulimba?

“Baatula mu lujjudde nti bamanyi Katonda, naye bamwegaana mu bikolwa byabwe.”​—TITO 1:16.

Yesu yalabula nti bannabbi ab’obulimba bandiyigiriza enjigiriza ez’obulimba. Beefaananyirizaako Abakristaayo ab’amazima, era abagoberezi baabwe beeyita Bakristaayo. Naye osobola okukitegeera nti si Bakristaayo ba mazima. Okitegeera otya? Eddiini ey’amazima ye yokka esobozesa abantu abagirimu okweyisa obulungi.​—Soma Matayo 7:13-23.

3. Oyinza otya okutegeera abo abali mu ddiini ey’amazima?

Weetegereze ebintu bino bitaano ebiyamba omuntu okutegeera abo abali mu ddiini ey’amazima:

  • Abo abali mu ddiini ey’amazima bawa ekitiibwa Ekigambo kya Katonda Bayibuli. Bafuba okugoberera Bayibuli ky’eyigiriza. N’olwekyo eddiini ey’amazima ya njawulo ku ddiini ezigoberera endowooza z’abantu. (Matayo 15:7-9) Abo abali mu ddiini ey’amazima bye bayigiriza abalala nabo bye bakola.​—Soma Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:16, 17.

  • Abagoberezi ba Yesu ab’amazima bawa ekitiibwa erinnya lya Katonda, Yakuwa. Yesu yakiraga nti awa erinnya lya Katonda ekitiibwa ng’alitegeeza abalala. Yayamba abantu okumanya Katonda era yabayigiriza okusaba nti erinnya lya Katonda litukuzibwe. (Matayo 6:9) Mu kitundu gy’obeera, ddiini ki etegeeza abalala erinnya lya Katonda?​—Soma Yokaana 17:26; Abaruumi 10:13, 14.

  • Abakristaayo ab’amazima babuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Katonda yatuma Yesu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuggyawo ebizibu by’abantu. Yesu yabwogerako okutuukira ddala lwe yafa. (Lukka 4:43; 8:1; 23:42, 43) Yagamba nti n’abagoberezi be bandibuulidde ebikwata ku Bwakabaka obwo. Singa omuntu akutuukirira n’ayogera ku Bwakabaka bwa Katonda, olowooza aba wa ddiini ki?​—Soma Matayo 24:14.

  • Abagoberezi ba Yesu si ba nsi. Osobola okubategeera kubanga tebeenyigira mu bya bufuzi na mu bwegugungo obuli mu nsi eno. (Yokaana 17:16; 18:36) Ate era, beewala ebikolwa by’ensi ebibi n’endowooza zaayo.​—Soma Yakobo 4:4.

  • Abakristaayo ab’amazima baagalana nnyo. Ekigambo kya Katonda kibayigiriza okuwa ekitiibwa abantu ab’amawanga gonna. Eddiini ez’obulimba ziwagira entalo, naye abo abali mu ddiini ey’amazima tebakikola. (Mikka 4:1-3) Bakozesa ebiseera byabwe, n’eby’obugagga byabwe okuyamba abantu abalala n’okubazzaamu amaanyi.​—Soma Yokaana 13:34, 35; 1 Yokaana 4:20.

4. Osobola okumanya eddiini ey’amazima?

Ddiini ki eyeesigamya enjigiriza zaayo zonna ku Kigambo kya Katonda, ewa erinnya lya Katonda ekitiibwa, era ebuulira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuggyawo ebizibu by’abantu? Ddiini ki eyoleka okwagala era etawagira ntalo? Olowooza otya?​—Soma 1 Yokaana 3:10-12.