Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 4

Yasanyusa Taata We ne Yakuwa

Yasanyusa Taata We ne Yakuwa

Kiki Yefusa kye yeeyama eri Yakuwa

Wadde nga tekyali kyangu, muwala wa Yefusa yakkiriza okugenda okuweereza ku weema entukuvu

Omuwala oyo ali mu kifaananyi omulaba?— Ye muwala wa Yefusa. Bayibuli tetubuulira linnya lya muwala ono, naye etutegeeza nti yasanyusa taata we ne Yakuwa. Ka tulabe ebimukwatako n’ebikwata ku taata we, Yefusa.

Yefusa yali musajja mulungi era yafuba nnyo okuyigiriza muwala we ebikwata ku Yakuwa. Ate era yali mukulembeze mulungi. Bwe kityo Abayisirayiri baamusaba abakulembere bagende balwanyise abalabe baabwe.

Yefusa yasaba Katonda amuyambe awangule olutalo. Yefusa yeeyama nti omuntu eyandisoose okufuluma mu nnyumba okumukulisaayo ng’akomyewo okuva mu lutalo yandimuwaddeyo eri Yakuwa. Omuntu oyo yali ajja kumala obulamu bwe bwonna ng’aweereza ku weema ya Katonda entukuvu. Ku weema eyo abantu gye baasinzizanga Katonda mu kiseera ekyo. Olutalo Yefusa yaluwangula! Omanyi omuntu eyasooka okufuluma mu nnyumba okwaniriza Yefusa ng’akomyewo?—

Yali muwala wa Yefusa ate nga ye mwana yekka gwe yalina. Kati yali agenda kumuvaako agende aweereze ku weema entukuvu. Kino kyanakuwaza nnyo Yefusa. Naye yali yeeyama eri Yakuwa. Muwala we yamugamba nti: ‘Taata, weeyama eri Yakuwa, era olina okutuukiriza kye weeyama.’

Buli mwaka, mikwano gya muwala wa Yefusa baagendanga okumukyalira

Muwala wa Yefusa naye yanakuwala. Bwe yandigenze ku weema entukuvu yandibadde tasobola kufumbirwa na kuzaala baana. Naye yali ayagala okutuukiriza obweyamo bwa kitaawe era n’okusanyusa Yakuwa. Ebyo byali bikulu nnyo gy’ali okusinga okufumbirwa n’okuzaala abaana. Bwe kityo yava awaka n’agenda ku weema entukuvu n’abeera eyo obulamu bwe bwonna.

Olowooza ekyo kye yakola kyasanyusa taata we ne Yakuwa?— Kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo! Singa oba mwana muwulize era ng’oyagala Yakuwa, osobola okuba nga muwala wa Yefusa. Naawe ojja kusanyusa nnyo bazadde bo ne Yakuwa.

SOMA MU BAYIBULI