Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 9

Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa

Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa

Lwaki abantu bakambuwalira Yeremiya?

Yakuwa yanunula Yeremiya

Ebiseera ebimu abantu batusekerera oba batukambuwalira bwe tubabuulira ebikwata ku Yakuwa. Kino kiyinza okutuleetera okuwulira nga twagala kulekera awo okwogera ku Katonda. Wali owuliddeko bw’otyo?— Bayibuli etutegeeza ebikwata ku muvubuka omu eyali ayagala ennyo Yakuwa, naye eyabulako akatono okulekera awo okumwogerako. Omuvubuka oyo yali ayitibwa Yeremiya. Ka tulabe ebimukwatako.

Yeremiya bwe yali akyali muvubuka, Yakuwa yamutuma okulabula abantu balekere awo okukola ebintu ebibi. Ekyo kyazibuwalira nnyo Yeremiya okukola, era yatya nnyo. Yagamba Yakuwa nti: ‘Simanyi kya kwogera. Nkyali muto.’ Naye Yakuwa yamugamba nti: ‘Totya. Nja kukuyamba.’

Bwe kityo Yeremiya yatandika okulabula abantu nti bwe batalekera awo kukola bintu bibi bagenda kubonerezebwa. Olowooza abantu baawuliriza Yeremiya ne balekera awo okukola ebintu ebibi?— Nedda. Abamu baamusekerera, abalala ne bamukambuwalira nnyo. Ate abalala baali baagala na kumutta! Olowooza Yeremiya yawulira atya?— Yatya nnyo era n’agamba nti: ‘Sigenda kuddamu kwogera ku Yakuwa.’ Kati olwo yalekera awo okumwogerako?— Yeeyongera okumwogerako. Yali ayagala nnyo Yakuwa era yali tayinza kulekera awo kumwogerako. Era olw’okuba Yeremiya teyalekera awo kwogera ku Yakuwa, Yakuwa yamukuuma abantu ababi ne batamutta.

Ng’ekyokulabirako, lumu abasajja ababi baasuula Yeremiya mu kinnya ekiwanvu ekyalimu ettosi. Teyalina mmere wadde amazzi. Abasajja abo baali baagala Yeremiya afiire mu kinnya ekyo. Naye Yakuwa yamuyamba n’akivaamu!

Kiki ky’oyigira ku Yeremiya?— Wadde ng’oluusi yatyanga, teyalekera awo kwogera ku Yakuwa. Bw’oyogera ku Yakuwa, naawe abantu abamu bayinza okukusekerera oba okukukambuwalira. Oyinza okuwulira ng’oswadde oba oyinza okutya. Naye tolekeranga awo kwogera ku Yakuwa. Ajja kukuyamba nga bwe yayamba Yeremiya.