Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 3

Oyo Agenda Okuteekateeka Ekkubo Azaalibwa

Oyo Agenda Okuteekateeka Ekkubo Azaalibwa

LUKKA 1:57-79

  • YOKAANA OMUBATIZA AZAALIBWA ERA ATUUMIBWA ERINNYA

  • ZEKKALIYA ALAGA EKYO YOKAANA KY’AJJA OKUKOLA MU BISEERA EBY’OMU MAASO

Erizabeesi anaatera okuzaala omwana. Maliyamu, gw’alinako oluganda amaze emyezi esatu ng’ali naye. Kati ekiseera kituuse Maliyamu okutindigga olugendo oluwanvu okuddayo ewaabwe e Nazaaleesi. Mu myezi nga mukaaga, naye ajja kuba azaala omwana ow’obulenzi.

Oluvannyuma lwa Maliyamu okugenda, wayita ekiseera kitono Erizabeesi n’azaala omwana ow’obulenzi. Nga kisanyusa nnyo okuba nti Erizabeesi azadde bulungi era nga n’omwana gw’azadde ali bulungi! Erizabeesi bw’alaga baliraanwa be omwana gw’azadde, bamusanyukirako.

Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gagamba nti omwana ow’obulenzi bw’aweza ennaku munaana aba alina okukomolebwa. Era ku olwo, omwana oyo atuumibwa erinnya. (Eby’Abaleevi 12:2, 3) Kati abamu balowooza nti omwana wa Zekkaliya asaanidde kutuumibwa linnya lya kitaawe. Kyokka, Erizabeesi abagamba nti: “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.” (Lukka 1:60) Kijjukire nti malayika Gabulyeri yagamba nti omwana alina kutuumibwa Yokaana.

Ekyo baliraanwa n’ab’eŋŋanda bakigaana. Bagamba nti: “Tewali n’omu ku b’eŋŋanda zo ayitibwa linnya eryo.” (Lukka 1:61) Nga bakozesa obubonero, babuuza Zekkaliya linnya ki ly’ayagala okutuuma omwana we. Zekkaliya asaba ekipande n’awandiikako nti: “Yokaana lye linnya lye.”​—Lukka 1:63.

Amangu ago, Zekkaliya addamu okwogera. Kijjukire nti omumwa gwe gwaziba oluvannyuma lw’obutakkiriza ebyo malayika bye yali amugambye. Malayika yali amugambye nti Erizabeesi yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi. Zekkaliya bw’addamu okwogera, baliraanwa be beewuunya nnyo era ne beebuuza: “Ddala omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” (Lukka 1:66) Bakirabye nti Katonda y’awadde obulagirizi ku ngeri Yokaana gy’atuumiddwamu erinnya.

Ng’ajjudde omwoyo omutukuvu, Zekkaliya agamba nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, kubanga asaasidde abantu be n’abanunula. Atuyimusirizza ejjembe ery’obulokozi mu nnyumba ya Dawudi omuweereza we.” (Lukka 1:68, 69) “Ejjembe ery’obulokozi,” Zekkaliya ly’ayogerako ye Mukama waffe Yesu, anaatera okuzaalibwa. Zekkaliya agamba nti “oluvannyuma lw’okutununula mu mikono gy’abalabe baffe,” Katonda ng’ayitira mu Yesu, “ajja kutuwa enkizo ey’okumuweereza awatali kutya, nga tuli beesigwa era batuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna.”​—Lukka 1:74, 75.

Ng’ayogera ku mwana we, Zekkaliya agamba nti: “Ggwe omwana, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu, kubanga olikulemberamu Yakuwa okuteekateeka amakubo ge, okumanyisa abantu be obubaka obw’okulokolebwa nga basonyiyibwa ebibi byabwe, olw’obusaasizi bwa Katonda waffe. Olw’obusaasizi buno ekitangaala eky’oku makya ennyo okuva waggulu kijja kujja gye tuli, okumulisiza abo abatudde mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa, okuluŋŋamya obulungi ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.” (Lukka 1:76-79) Ng’obunnabbi obwo buzzaamu nnyo amaanyi!

Mu kiseera kino, Maliyamu, atannaba kufumbirwa, amaze okutuuka ewaabwe e Nazaaleesi. Kiki ekinaabaawo nga kimanyiddwa nti ali lubuto?