Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 4

Maliyamu—Ali Lubuto Naye Si Mufumbo

Maliyamu—Ali Lubuto Naye Si Mufumbo

MATAYO 1:18-25 LUKKA 1:56

  • YUSUFU AKIMANYA NTI MALIYAMU ALI LUBUTO

  • MALIYAMU AFUUKA MUKYALA WA YUSUFU

Maliyamu ali lubuto lwa myezi ng’ena. Kijjukire nti emyezi esatu egisoose ng’ali lubuto agimaze ali ne Erizabeesi abeera mu kitundu ekiri mu nsozi za Buyudaaya. Naye kati Maliyamu azzeeyo e Nazaaleesi. Okuva bwe kiri nti ali lubuto, mu kiseera kitono abantu bonna bajja kuba bakimanya. Lowooza ku mbeera enzibu Maliyamu gy’alimu!

Okugatta ku ekyo Maliyamu yalagaana okufumbiriganwa n’omusajja omubazzi ayitibwa Yusufu. Era amanyi nti okusinziira ku Mateeka Katonda ge yawa Isirayiri, omukazi eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja, bwe yeegatta n’omusajja omulala kyeyagalire, omukazi oyo aba alina okuttibwa ng’akubibwa amayinja. (Ekyamateeka 22:23, 24) N’olwekyo, wadde nga Maliyamu akimanyi nti teyamenya tteeka eryo, ateekwa okuba nga yeebuuza engeri gy’anannyonnyolamu Yusufu engeri gye yafunamu olubuto era na kiki ekinaabaawo oluvannyuma.

Maliyamu abadde taliiwo okumala emyezi esatu, bwe kityo bw’akomawo, Yusufu ateekwa okuba nga yeesunga nnyo okumulabako. Bwe basisinkana, Maliyamu ayinza okuba ng’amubuulira nti ali lubuto era n’afuba okumunnyonnyola nti yalufuna ku bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Kyokka, nga naawe bw’omanyi, si kyangu eri Yusufu okutegeera ebyo Maliyamu by’amugamba n’okubikkiriza.

Yusufu akimanyi nti Maliyamu mukazi mwesigwa. Okugatta ku ekyo Yusufu ayagala nnyo Maliyamu. Kyokka, wadde nga Maliyamu afubye okumunnyonnyola, Yusufu asigala alowooza nti waliwo omusajja eyamufunyisa olubuto. Naye Yusufu tayagala Maliyamu attibwe ng’akubibwa amayinja oba aswazibwe. Mu biseera ebyo, abantu bwe baabanga balagaanye okufumbiriganwa, baatwalibwanga ng’abafumbo era bwe baabanga basazizzaamu eby’okufumbiriganwa, baalinanga okugattululwa.

Oluvannyuma, Yusufu bw’aba ekyalowooza ku bintu ebyo, otulo tumutwala. Malayika wa Yakuwa amulabikira mu kirooto n’amugamba nti: “Totya kutwala mukazi wo Maliyamu mu maka go, kubanga ali lubuto ku bw’omwoyo omutukuvu. Ajja kuzaala omwana ow’obulenzi era ojja kumutuuma erinnya Yesu, kubanga alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe.”​—Matayo 1:20, 21.

Yusufu bw’azuukuka, ng’ateekwa okuba nga musanyufu nnyo okuba nti kati ategeera bulungi ensonga ekwata ku lubuto lwa Maliyamu! Amangu ddala akolera ku ekyo malayika ky’amugambye. Atwala Maliyamu ewuwe. Ekikolwa ekyo, gwe gulinga omukolo ogw’okugattibwa, era bwe bukakafu obulaga abantu bonna nti kati Yusufu ne Maliyamu bafumbo. Wadde kiri kityo, Yusufu teyeegatta na Maliyamu ng’akyali lubuto.

Oluvannyuma lw’emyezi, Yusufu ne Maliyamu bajja kuba beetaaga okuva mu maka gaabwe e Nazaaleesi okugenda mu kitundu ekiri ewala. Wa gye banaagenda mu kiseera ekyo nga Maliyamu anaatera okuzaala?