Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 26

“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”

“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”

MATAYO 9:1-8 MAKKO 2:1-12 LUKKA 5:17-26

  • YESU ASONYIWA EBIBI BY’OMUSAJJA EYASANNYALALA ERA AMUWONYA

Abantu okuva mu bitundu bingi bawulidde ebikwata ku Yesu. Bangi bava mu bifo eby’ewala ennyo okujja okuwuliriza Yesu ng’ayigiriza, n’okulaba ebyamagero by’akola. Naye oluvannyuma lw’ennaku ntono, akomawo e Kaperunawumu gy’asinga okubeera. Bw’atuuka mu kibuga ekyo ekiri okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya, abantu bangi bakimanya era bajja mu nnyumba Yesu mw’abeera. Abamu ku bo Bafalisaayo n’abasomesa b’Amateeka abavudde mu bitundu ebitali bimu ebya Ggaliraaya ne Buyudaaya, nga mw’otwalidde ne Yerusaalemi.

Abantu “bakuŋŋaana bangi nnyo ne waba nga tewakyali kifo wadde ku mulyango, n’atandika okubabuulira ekigambo kya Katonda.” (Makko 2:2) Yesu agenda kukola ekintu ekyewuunyisa. Ky’agenda okukola kituyamba okuba abakakafu nti alina amaanyi okuggyawo ekyo ekiviirako abantu okubonaabona, era n’okuwonya abo bonna abagwanira.

Yesu aba ali mu nnyumba ayigiriza, abasajja bana baleeta omusajja eyasannyalala nga bamusitulidde ku katanda. Baagala Yesu awonye mukwano gwabwe, naye ‘tebasobola kumutuusa Yesu w’ali’ olw’okuba abantu bangi. (Makko 2:4) Ekyo kiteekwa okuba nga kibamazeemu amaanyi. Basalawo okulinnya ku kasolya k’ennyumba ne bakawummulamu ekituli. Oluvannyuma bayisaamu akatanda okugalamidde omusajja eyasannyalala ne katuuka Yesu w’ali.

Olowooza Yesu abanyiigira olw’ekyo kye bakoze? Nedda. Yeewuunya nnyo olw’okukkiriza kwe boolese era agamba omusajja eyasannyalala nti: “Osonyiyiddwa ebibi byo.” (Matayo 9:2) Naye ddala Yesu asobola okusonyiwa ebibi? Abawandiisi n’Abafalisaayo beemulugunya olw’ekyo Yesu ky’ayogedde nga bagamba nti: “Lwaki omusajja ono ayogera bw’atyo? Avvoola. Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”​—Makko 2:7.

Yesu bw’ategeera kye balowooza, abagamba nti: “Lwaki mulowooza ebintu bino mu mitima gyammwe? Kiki ekisinga obwangu, okugamba omusajja ono eyasannyalala nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti ‘Yimuka ositule akatanda ko otambule’?” (Makko 2:8, 9) Yesu asobola okusonyiwa ebibi by’omusajja oyo, ng’asinziira ku ssaddaaka gy’anaatera okuwaayo.

Yesu alaga abantu abaliwo nga mw’otwalidde n’abo abamuwakanya nti alina obuyinza okusonyiwa ebibi by’abantu ku nsi. Atunuulira omusajja eyasannyalala era amugamba nti: “Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.” Amangu ago omusajja ayimuka n’atambula ng’asitudde akatanda ke era ng’abantu bonna balaba. Abantu beewuunya nnyo era batendereza Katonda nga bagamba nti: “Kino tetukirabangako”!​—Makko 2:11, 12.

Yesu akiraga nti waliwo akakwate wakati w’ebibi n’obulwadde, era nti okusonyiyibwa ebibi kulina akakwate n’embeera y’obulamu bwaffe. Bayibuli ekiraga bulungi nti Adamu, muzadde waffe eyasooka, yayonoona era nti ffenna twasikira ekibi ekituviirako ebizibu gamba ng’okulwala n’okufa. Naye Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, Yesu ajja kusonyiwa ebibi by’abo bonna abaagala Katonda era abamuweereza. Mu kiseera ekyo, obulwadde bujja kuggibwawo emirembe gyonna.​—Abaruumi 5:12, 18, 19.