Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 27

Matayo Ayitibwa

Matayo Ayitibwa

MATAYO 9:9-13 MAKKO 2:13-17 LUKKA 5:27-32

  • YESU AYITA MATAYO OMUWOOZA W’OMUSOLO

  • KRISTO ABEERA WAMU N’ABOONOONYI ASOBOLE OKUBAYAMBA

Oluvannyuma lw’okuwonya omusajja eyali yasannyalala, Yesu asigala e Kaperunawumu okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya okumala ekiseera kitono. Ekibiina ky’abantu kijja gy’ali era atandika okubayigiriza. Aba atambula, n’alaba Matayo, era ayitibwa Leevi, ng’atudde we basolooleza omusolo. Yesu agamba Matayo nti: “Beera mugoberezi wange.”​—Matayo 9:9.

Okufaananako Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana, Matayo naye alabika amanyi enjigiriza za Yesu n’ebyamagero by’azze akola mu kitundu ekyo. Era Matayo naye akkiririzaawo okugoberera Yesu. Nga Matayo awandiika ku nsonga eno mu kitabo kye eky’Enjiri, agamba nti: ‘Awo [Matayo kennyini] n’ayimuka, n’agoberera’ Yesu. (Matayo 9:9) Bw’atyo Matayo aleka omulimu gwe ogw’okusolooza omusolo n’afuuka omuyigirizwa wa Yesu.

Nga wayiseewo ekiseera, Matayo ategeka ekijjulo ekinene mu maka ge, oboolyawo okwebaza Yesu eyamuyita okuba omugoberezi we. Ng’oggyeeko Yesu n’abayigirizwa be, baani abalala Matayo b’ayita? Ayita abamu ku abo be yasoloozanga nabo omusolo. Abasolooza omusolo bakolera Baruumi ate nga Abayudaaya tebaagalira ddala Baruumi. Basolooza emisolo ku mmeeri eziba zigobye ku myalo, ku basuubuzi abayita ku nguudo ennene, ne ku byamaguzi ebiyingizibwa. Abayudaaya batwala batya abo abasolooza emisolo? Tebabaagala kubanga basasuza abantu emisolo egisukka ku egyo egyagerekebwa. Ate era ku kijjulo kuliko n’abantu abamanyiddwa nti ‘boonoonyi.’​—Lukka 7:37-39.

Bwe balaba Yesu ng’atudde ku kijjulo n’abantu ng’abo, Abafalisaayo abeetwala okuba abatuukirivu babuuza abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki omuyigiriza wammwe alya n’abasolooza omusolo era n’aboonoonyi?” (Matayo 9:11) Yesu abawulira era abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, naye abalwadde be bamwetaaga. Kale nno, mugende mutegeere amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi so si ssaddaaka.’ Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Matayo 9:12, 13; Koseya 6:6) Wadde nga Abafalisaayo bayita Yesu Omuyigiriza, tebakikola mwe bwesimbu. Naye basobola okubaako kye bamuyigirako.

Matayo ayise abasolooza omusolo n’aboonoonyi mu maka ge, oboolyawo bawulirize Yesu by’ayigiriza basobole okuwonyezebwa mu by’omwoyo, ‘kubanga bangi ku bo bamugoberera.’ (Makko 2:15) Yesu ayagala okubayamba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Obutafaananako Bafalisaayo abeetwala okuba abatuukirivu, Yesu tanyooma bantu ng’abo. Olw’okuba wa kisa era musaasizi, asobola okujjanjaba abo bonna abalwadde mu by’omwoyo.

Yesu alaga ekisa abasolooza omusolo n’aboonoonyi, si lwa kuba awagira ebikolwa byabwe, naye olw’okuba abasaasira nga bw’asaasira abalwadde. Ng’ekyokulabirako, jjukira engeri gye yakwata ku mugenge n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.” (Matayo 8:3) Naffe tusaanidde okuba ab’ekisa nga tuyamba abo abali mu bwetaavu, naddala nga tubayamba mu by’omwoyo.