Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 30

Enkolagana Yesu gy’Alina ne Kitaawe

Enkolagana Yesu gy’Alina ne Kitaawe

YOKAANA 5:17-47

  • KATONDA YE KITAAWE WA YESU

  • OKUZUUKIRA KUSUUBIZIBWA

Abayudaaya abamu bwe banenya Yesu nga bagamba nti amenye etteeka erikwata ku Ssabiiti, Yesu abaddamu nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola, era nange nkola.”​—Yokaana 5:17.

Ekyo Yesu ky’akola tekimenya tteeka lya Katonda erikwata ku Ssabbiiti. Omulimu gwe ogw’okubuulira n’okuwonya abantu agukola olw’okuba akoppa Katonda. N’olwekyo, buli lunaku Yesu akolera abalala ebintu ebirungi. Kyokka, ekyo ky’abagambye kibanyiiza nnyo era batandika okunoonya engeri y’okumutta. Lwaki baanyiiga okutuuka awo?

Ng’oggyeeko okunyiiga olw’okulowooza nti Yesu amenya etteeka lya Ssabbiiti, basunguwala nnyo Yesu bw’agamba nti Mwana wa Katonda. Bakitwala nti avvoola bw’agamba nti Katonda Kitaawe, nga gy’obeera Yesu ategeeza nti yenkanankana ne Katonda. Kyokka, Yesu tabatidde era yeeyongera okubannyonnyola enkolagana ey’enjawulo gy’alina ne Katonda. Abagamba nti: “Kitaawe w’omwana ayagala Omwana era amulaga ebintu byonna by’akola.”​—Yokaana 5:20.

Kitaawe wa Yesu y’awa abantu obulamu, era kino azze akiraga ng’akozesa abantu abatali bamu okuzuukiza abafu. Yesu ayongera n’agamba nti: “Nga Kitange bw’azuukiza abafu ne baba balamu, n’Omwana buli gw’ayagala amufuula mulamu.” (Yokaana 5:21) Ebigambo ebyo nga bya makulu nnyo! Bituwa essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Olw’okuba Omwana azuukiza abafu mu ngeri ey’eby’omwoyo, agamba nti: “Oyo awulira ekigambo kyange n’akkiriza oyo eyantuma alina obulamu obutaggwaawo, era tasalirwa musango wabula aba avudde mu kufa n’ayingira mu bulamu.”​—Yokaana 5:24.

Kirabika Yesu tannazuukiza muntu yenna, naye ategeeza abamuwakanya nti okuzuukira kujja kubaawo. Abagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.”​—Yokaana 5:28, 29.

Wadde nga Yesu alina ekifo kya waggulu, akiraga bulungi nti teyenkanankana na Katonda ng’agamba nti: “Tewali kintu na kimu kye nnyinza kukola ku bwange. . . . Sinoonya bye njagala wabula eby’oli eyantuma.” (Yokaana 5:30) Wadde kiri kityo, Yesu annyonnyodde ekifo ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda era ng’abadde takinnyonnyolangako mu lujjudde nga bw’akoze. Olw’okuba abo abamuwakanya balina n’omuntu gwe bamanyi eyayogera ku kifo Yesu ky’alina, Yesu abajjukiza nti: “Mwatuma abantu eri Yokaana [Omubatiza] era n’awa obujulirwa ku mazima.”​—Yokaana 5:33.

Emyaka ng’ebiri emabega, abo abawakanya Yesu bayinza okuba nga baawulirako ebyo Yokaana Omubatiza bye yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, ebikwata ku Oyo eyali amuvaako emabega ayitibwa “Nnabbi” era “Kristo.” (Yokaana 1:20-25) Yesu era abajjukiza nti okumala ekiseera baali bassaamu nnyo Yokaana ekitiibwa, kati ali mu kkomera. Abagamba nti: “Mwali beetegefu okusanyukira mu kitangaala kye okumala akaseera.” (Yokaana 5:35) Kyokka ye Yesu abawa obujulirwa obusinga ne ku bwa Yokaana Omubatiza.

Yesu abagamba nti: ‘Emirimu gino gye nkola [nga mw’otwalidde n’ekyamagero kye yaakakola], gye gimpaako obujulirwa nti Kitange ye yantuma.’ Era agattako nti: “Kitange eyantuma ampaddeko obujulirwa.” (Yokaana 5:36, 37) Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali abatizibwa Katonda yamuwaako obujulirwa.​—Matayo 3:17.

Mu butuufu, abo abawakanya Yesu tebalina kya kwekwasa. Ebyawandiikibwa bye bagamba nti basoma, byennyini bye bimuwaako obujulirwa. Yesu awunzika ng’agamba nti: “Singa mwakkiriza Musa, mwandinzikirizza kubanga yawandiika ebinkwatako. Bwe muba nga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya bye njogera?”​—Yokaana 5:46, 47.