Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 45

Ayoleka Obuyinza ku Dayimooni

Ayoleka Obuyinza ku Dayimooni

MATAYO 8:28-34 MAKKO 5:1-20 LUKKA 8:26-39

  • ASINDIKA DAYIMOONI MU MBIZZI

Abayigirizwa bwe batuuka ku lukalu oluvannyuma lw’okuwona omuyaga ku nnyanja, balaba ekintu eky’entiisa. Abasajja babiri, nga bombi baliko dayimooni, bava mu kifo awali entaana, ekiri okumpi awo, ne badduka nga bajja eri Yesu! Omu ku basajja abo ateekebwako nnyo essira, oboolyawo olw’okuba mukambwe okusinga ku munne era nga dayimooni zimumazeeko ebbanga ddene okusinga ku munne.

Omusajja oyo atambula bwereere. ‘Era bulijjo, emisana n’ekiro aleekaanira mu kifo awali entaana ne mu nsozi era yeesalaasala amayinja.’ (Makko 5:5) Omusajja oyo mukambwe nnyo ne kiba nti tewali muntu ayinza kwetantala kuyita mu kkubo eriri okumpi ne w’asula. Emirundi mingi abantu bagezezaako okumusiba naye ng’enjegere ze bamusiba azikutulakutula era nga n’amasamba agamenyaamenya. Tewali muntu yenna amusobola.

Omusajja bw’aba anaatera okutuuka awali Yesu, avunnama era dayimooni ezimuliko zimuleetera okuleekaana ng’agamba nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda Asingayo Okuba Waggulu? Nkulayiza mu linnya lya Katonda obutambonyaabonya.” Yesu akiraga nti alina obuyinza ku dayimooni, ng’aziragira nti: “Ggwe omwoyo omubi, va mu musajja ono.”​—Makko 5:7, 8.

Ekituufu kiri nti dayimooni nnyingi eziri ku musajja oyo. Yesu bw’abuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” zimuddamu nti: “Erinnya lyange nze Liigyoni, kubanga tuli bangi.” (Makko 5:9) Mu ggye ly’Abaruumi liigyoni ebaamu enkumi n’enkumi z’abasirikale; bwe kityo, omusajja oyo aliko dayimooni nnyingi era zisanyuka nnyo okulaba ng’abonaabona. Zeegayirira Yesu “obutaziragira kugenda mu bunnya.” Zimanyi bulungi ekyo ekigenda okuzituukako awamu ne mukama waazo, Sitaani.​—Lukka 8:31.

Okumpi awo waliwo eggana ly’embizzi eziwera nga 2,000 ezirundibwa. Okusinziira ku Mateeka, embizzi si kisolo kirongoofu era tekiba na kituufu Bayudaaya kuzirunda. Dayimooni zigamba nti: “Tukkirize tugende mu mbizzi tuziyingiremu.” (Makko 5:12) Yesu azikkiriza, era ziyingira mu mbizzi. Awo, embizzi zonna 2,000 zifubutuka ne zigenda ku kagulungujjo k’olusozi ne ziwanukayo nga bwe zigwa mu nnyanja, zonna ne zifa.

Ekyo ababadde bazirunda bwe bakiraba, badduka ne babuulira ab’omu kibuga n’ab’omu byalo. Abantu bajja okulaba ekibaddewo. Bwe batuuka, balaba omusajja abaddeko dayimooni nga kati mulamu bulungi era ng’ategeera bulungi. Omusajja oyo ayambadde engoye era atudde okumpi n’ebigere bya Yesu!

Abantu abawulidde ku ekyo ekibaddewo n’abo abalaba ku musajja oyo batya nnyo, nga tebamanyi kiki kiyinza kuddirira. Bwe kityo basaba Yesu okubaviira. Yesu bw’alinnya eryato okugenda, omusajja abaddeko dayimooni atandika okumwegayirira ng’ayagala okugenda naye. Naye Yesu agamba omusajja oyo nti: “Genda eka mu b’eŋŋanda zo obabuulire byonna Yakuwa by’akukoledde n’ekisa ky’akulaze.”​—Makko 5:19.

Yesu atera okugamba abo b’aba awonyezza obutabuulirako muntu yenna olw’okuba aba tayagala bantu kucamuukirira bamugoberere olw’ebyo bye baba bamuwuliddeko obuwulizi. Kyokka omusajja oyo awonyezeddwa bukakafu bwa nkukunala obulaga amaanyi ag’ekitalo Yesu g’alina era omusajja oyo asobola okuwa obujulirwa eri abantu Yesu kennyini b’ayinza obutasobola kutuukako. Ate era obujulizi omusajja oyo bw’agenda okuwa busobola okuyamba mu kuggyawo enziro eyinza okusiigibwa ku Yesu olw’eggana ly’embizzi erisaanyeewo. Bwe kityo, omusajja oyo agenda mu bitundu bya Dekapoli byonna n’atandika okulangirira ebintu Yesu by’amukoledde.