Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 49

Abuulira mu Ggaliraaya era Atendeka Abatume

Abuulira mu Ggaliraaya era Atendeka Abatume

MATAYO 9:35–10:15 MAKKO 6:6-11 LUKKA 9:1-5

  • YESU ADDAMU OKUBUULIRA MU BITUNDU BY’E GGALIRAAYA

  • ATUMA ABATUME OKUGENDA OKUBUULIRA

Yesu amaze emyaka ng’ebiri ng’abuulira n’obunyiikivu. Kati kino kye kiseera Yesu okukendeeza ku buweereza bwe aleme kukoowa nnyo? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, agaziya obuweereza bwe “n’agenda mu bibuga byonna ne mu byalo [by’e Ggaliraaya], ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ng’awonya endwadde eza buli kika.” (Matayo 9:35) Ebyo by’alaba bimuleetera okukiraba nti wakyaliwo omulimu munene ogw’okukola. Naye kiki ky’anaakola okukakasa nti omulimu ogwo gukolebwa?

Yesu bw’aba atambula, alaba abantu bangi abeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo era abeetaaga okubudaabudibwa. Abantu abo babonaabona era basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba. Abakwatirwa ekisa era n’agamba abayigirizwa be nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.”​—Matayo 9:37, 38.

Yesu amanyi ky’ayinza okukola okuyamba abantu abo. Ayita abatume 12 n’abagabanyaamu babiri babiri. Oluvannyuma abawa obulagirizi obutegeerekeka obulungi, ng’agamba nti: “Temugenda eri ab’amawanga era temuyingira mu kibuga kyonna eky’Abasamaliya; naye mugende eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri. Bwe muba mugenda, mubuulire nga mugamba nti: ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’”​—Matayo 10:5-7.

Obwakabaka bwe balina okubuulira bwebwo Yesu bwe yayogerako mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako. ‘Obwakabaka obwo busembedde’ mu ngeri nti Yesu Kristo, oyo Katonda gw’alonze okuba Kabaka waabwo, waali. Naye abantu banaamanyira ku ki nti ddala abayigirizwa ba Yesu be bakiikiridde gavumenti y’Obwakabaka obwo? Yesu abawa amaanyi okuwonya abalwadde n’okuzuukiza abafu, ng’ebyo byonna babikolera ku bwereere. Kati olwo, abatume banaasobola batya okufuna ebyetaago byabwe eby’omubiri, gamba ng’emmere yaabwe eya buli lunaku?

Ku mulundi guno, Yesu agamba abayigirizwa be obutakola nteekateeka za kufuna byetaago byabwe eby’omubiri. Tebalina kutwala zzaabu, ffeeza, oba ekikomo mu nsawo zaabwe. Era tebalina kutwala nsawo za mmere oba ekyambalo eky’omunda eky’okubiri oba engatto endala. Lwaki? Yesu abagamba nti: “Omukozi agwanira okuweebwa emmere ye.” (Matayo 10:10) Abantu be banaasanga era ne basiima obubaka bwabwe bajja kukola ku byetaago by’abayigirizwa eby’omubiri. Yesu agamba nti: “Buli we mutuuka omuntu n’abaaniriza, mubeerenga mu maka ge okutuusa lwe muliva mu kifo ekyo.”​—Makko 6:10.

Yesu era awa abayigirizwa be obulagirizi ku ngeri y’okutuusaamu obubaka bw’Obwakabaka eri abantu. Agamba nti: “Bwe muyingiranga mu nnyumba, mulamusenga ab’omu nnyumba eyo; era bwe babanga bagwanira, emirembe gyammwe gibeerenga nabo; naye bwe babanga tebagwanira, emirembe gyammwe gibaddirenga. Omuntu yenna bw’atabasembezanga oba bw’atawulirizanga bigambo byammwe, bwe mubanga muva mu nnyumba eyo oba mu kibuga ekyo, mwekunkumulangako enfuufu ku bigere byammwe.”​—Matayo 10:12-14.

Kisoboka n’okuba nti ekibuga kyonna oba ekyalo kyonna kigaana okukkiriza obubaka bwabwe. Kiki ekiba kigenda okutuuka ku kibuga ekyo? Yesu akiraga nti kiba kijja kuweebwa ekibonerezo eky’amaanyi. Agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango, ekibonerezo ekiriweebwa ekibuga ekyo kiriba kinene okusinga ekya Sodomu ne Ggomola.”​—Matayo 10:15.