Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 50

Beetegefu Okubuulira ne Bwe Bandibadde Bayigganyizibwa

Beetegefu Okubuulira ne Bwe Bandibadde Bayigganyizibwa

MATAYO 10:16–11:1 MAKKO 6:12, 13 LUKKA 9:6

  • YESU ATENDEKA ABATUME ERA N’ABATUMA OKUBUULIRA

Yesu abuulira abatume be engeri gye bagenda okukolamu omulimu gw’okubuulira. Kyokka Yesu alina n’ekintu ekirala ky’ababuulira. Abalabula ku balabe be bandisanze. Abagamba nti: “Laba! Mbatuma nga muli ng’endiga wakati mu misege . . . Mwegendereze, kubanga abantu balibawaayo mu mbuga z’amateeka era balibakubira mu makuŋŋaaniro gaabwe. Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange.”​—Matayo 10:16-18.

Mu butuufu, abagoberezi ba Yesu bayinza okwolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, naye Yesu abagamba nti: “Bwe babawangayo temweraliikiriranga bwe mulyogera oba kye mulyogera; mu kiseera ekyo muliweebwa eky’okwogera; kubanga si mmwe muliba mwogera, wabula omwoyo gwa Kitammwe gwe gulyogerera mu mmwe.” Agattako nti: “Ow’oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we, n’abaana balyefuulira bazadde baabwe ne babawaayo okuttibwa. Era mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange; naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”​—Matayo 10:19-22.

Olw’okuba omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo, Yesu akiraga nti abagoberezi be basaanidde okuba abeegendereza basobole okukola obulungi omulimu ogwo. Agamba nti: “Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala; mazima mbagamba nti temulimalako bibuga bya Isirayiri byonna ng’Omwana w’omuntu tannatuuka.”​—Matayo 10:23.

Ng’obulagirizi Yesu bw’awa awamu n’okulabula kw’awa abatume 12 birungi nnyo! Mu butuufu, obulagirizi obwo bwa kuyamba n’abagoberezi be abalala abajja okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’oluvannyuma lw’okufa kwe n’okuzuukira kwe. Kino kyeyolekera mu ky’okuba nti agamba nti abagoberezi be ‘ba kukyayibwa abantu bonna,’ so si abo bokka abatume be bandibadde babuulira. Okugatta ku ekyo, Bayibuli terina w’ekiragira nti abatume baasimbibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka mu kiseera ekitono kye baamala nga Yesu abatumye okubuulira mu Ggaliraaya era Bayibuli teraga nti mu kiseera ekyo ab’eŋŋanda zaabwe baabawaayo okuttibwa.

Kya lwatu nti mu kugamba abatume ebigambo ebyo, Yesu alowooza ku biseera eby’omu maaso. Lowooza ku ky’okuba nti agamba nti abayigirizwa be tebagenda kumalako kitundu kyonna kye balina kubuuliramu “ng’Omwana w’omuntu tannatuuka.” Yesu akiraga nti abayigirizwa be tebajja kumaliriza kubuulira bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda nga Kabaka Yesu Kristo tannajja ng’omulamuzi Katonda gw’alonze.

Abatume bwe bayigganyizibwa olw’okubuulira, ekyo tekisaanidde kubeewuunyisa, kubanga Yesu abagamba nti: “Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, n’omuddu tasinga mukama we.” Ebigambo bya Yesu ebyo bitegeerekeka bulungi. Abantu bamuyigganya olw’okuba abuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era n’abatume be bajja kuyigganyizibwa. Wadde kiri kityo, Yesu abagamba nti: “Temutyanga abo abatta omubiri naye nga tebasobola kuzikiriza bulamu; wabula mutye oyo asobola okuzikiriza byombi obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.”​—Matayo 10:24, 28.

Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Yali mwetegefu okusigala nga mwesigwa okutuusa okufa, mu kifo ky’okujeemera Yakuwa, Oyo alina amaanyi agatenkanika. Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ye yekka asobola okuzikiriza “obulamu” (okumalawo essuubi lyonna ery’omuntu okuddamu okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso) oba asobola okuzuukiza omuntu n’amuwa obulamu obutaggwaawo. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kizzaamu nnyo abatume amaanyi!

Yesu akiraga nti Katonda afaayo nnyo ku baweereza be, ng’agamba nti: “Enkazaluggya ebbiri tezigula ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo? Kyokka tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi. N’olwekyo, temutya: muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.”​—Matayo 10:29, 31.

Obubaka abayigirizwa ba Yesu bwe babuulira bwa kuleetawo enjawukana mu maka, ng’abamu babukkiriza ate ng’abalala tebabukkiriza. Yesu agamba nti: “Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe ku nsi.” Mu butuufu, kyetaagisa obuvumu omuntu okusobola okukkiriza amazima agali mu Bayibuli era n’aganywererako. Yesu agamba nti: “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga nze, tansaanira; n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga nze, tansaanira.”​—Matayo 10:34, 37.

Kyokka, abantu abamu bajja kusembeza abayigirizwa be. Yesu agamba nti: “Buli awa omu ku bato bano ekikopo ky’amazzi agannyogoga okunywa olw’okuba muyigirizwa wange, mazima mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera ye.”​—Matayo 10:42.

Oluvannyuma lwa Yesu okubawa obulagirizi, okubalabula, n’okubagumya, abatume “bagenda mu kitundu kyonna mu buli kabuga nga babuulira amawulire amalungi era nga bawonya abantu buli wamu.”​—Lukka 9:6.