Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 56

Biki Ebyonoona Omuntu?

Biki Ebyonoona Omuntu?

MATAYO 15:1-20 MAKKO 7:1-23 YOKAANA 7:1

  • YESU AYANIKA OBULOMBOLOMBO BW’ABANTU

Ng’embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E. eneetera okutuuka, Yesu ali mu bitundu by’e Ggaliraaya ng’abuulira. Kirabika oluvannyuma ayolekera Yerusaalemi okukwata Okuyitako ng’Amateeka ga Katonda bwe galagira. Kyokka, ekyo Yesu akikola mu ngeri ey’amagezi kubanga Abayudaaya baagala kumutta. (Yokaana 7:1) Oluvannyuma addayo e Ggaliraaya.

Yesu ayinza okuba ng’ali Kaperunawumu, Abafalisaayo n’abawandiisi we bajjira nga bava e Yerusaalemi. Lwaki bajja eri Yesu? Baagala okubaako emisango gye bamusibako. Babuuza Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe? Ng’ekyokulabirako, tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.” (Matayo 15:2) Katonda talagirangako bantu be kukwata kalombolombo ‘ak’okunaaba engalo okutuukira ddala ku nkokola.’ (Makko 7:3) Kyokka bo Abafalisaayo bakitwala nti obutakola ekyo guba musango gwa maanyi.

Mu kifo ky’okubaddamu obutereevu, Yesu abalaga engeri gye bamenyamu Amateeka ga Katonda mu bugenderevu. Abagamba nti: “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda olw’obulombolombo bwammwe? Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti ‘Oyo avuma kitaawe oba nnyina attibwenga.’ Naye mmwe mugamba nti, ‘Oyo agamba kitaawe oba nnyina nti: “Kyonna kye nnandikuwadde okukuyamba nnakiwaayo ng’ekirabo eri Katonda,” aba talina kussaamu kitaawe kitiibwa.’”​—Matayo 15:3-6; Okuva 20:12; 21:17.

Abafalisaayo bagamba nti ssente, eby’obugagga, oba ekintu ekirala kyonna omuntu ky’aba asazeewo okukiwaayo eri Katonda kiba kya yeekaalu, era nti tekirina kukozesebwa mu ngeri ndala yonna. Naye ekituufu kiri nti ekintu ekyo kiba kikyali mu mikono gy’oyo aba asazeewo okukiwaayo. Ng’ekyokulabirako, omwana ayinza okugamba nti ssente ze oba eby’obugagga bye “kolubaani,” kwe kugamba, kirabo ekiweereddwayo eri Katonda oba eri yeekaalu. Ssente ezo oba eby’obugagga ebyo omwana aba akyabikozesa, kyokka ng’agamba nti tasobola kubikozesa kuyamba bazadde be abakaddiye era abali mu bwetaavu. Mu ngeri eyo aba yeewala obuvunaanyizibwa bw’alina okutuukiriza.​—Makko 7:11.

Yesu si musanyufu okuba nti Abafalisaayo banyoolanyoola Amateeka ga Katonda. Abagamba nti: “Mudibizza ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe. Mmwe bannanfuusi, Isaaya bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti: ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’” Abafalisaayo tebalina kye basobola kuddamu Yesu. Bw’atyo Yesu ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti: “Muwulire era mutegeere amakulu g’ebigambo bino: Ekyo ekiyingira mu kamwa k’omuntu si kye kimwonoona, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke.”​—Matayo 15:6-11; Isaaya 29:13.

Oluvannyuma bwe baba bali mu nnyumba, abayigirizwa bagamba Yesu nti: “Okimanyi nti Abafalisaayo banyiize bwe bawulidde by’oyogedde?” Abaddamu nti: “Buli kimera Kitange ow’omu ggulu ky’ataasimba, kijja kusimbulwa. Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.”​—Matayo 15:12-14.

Kirabika Yesu kimwewuunyisa okulaba nga Peetero akiikirira abayigirizwa abalala, n’amusaba abannyonnyole ebikwata ku ekyo ekyonoona omuntu. Yesu agamba nti: “Temumanyi nti buli ekiyingira mu kamwa kiyita mu lubuto ne kifuluma? Naye, ebyo ebifuluma mu kamwa biva mu mutima era bye byonoona omuntu. Ng’ekyokulabirako, mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, ebikolwa eby’obugwenyufu, obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola. Ebyo bye byonoona omuntu, naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo tekimwonoona.”​—Matayo 15:17-20.

Yesu tagezaako kukubiriza bantu butafaayo ku buyonjo, era tagezaako kugamba nti abantu tebalina kunaaba mu ngalo nga bagenda okuteekateeka eby’okulya oba nga bagenda okulya emmere. Mu kifo ky’ekyo, anenya abakulembeze b’eddiini bannanfuusi ababuusa amaaso amateeka ga Katonda ag’obutuukirivu ne bakuliriza obulombolombo bw’abantu. Ekituufu kiri nti, ebikolwa ebibi ebisibuka mu mutima bye byonoona omuntu.